Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Russia Erumba Ukraine

Russia Erumba Ukraine

 Nga Febwali 24, 2022, Russia yalumba Ukraine, wadde ng’abakulembeze b’ensi bangi baafuba okulaba nti tewabaawo lutalo. Olutalo luno luyinza kukosa lutya ensi yonna? Omuwandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, António Guterres, ennaku ntono emabega yagamba nti: “Olutalo luno lujja kuleeta okubonaabona kwa maanyi nnyo era ekyo kijja kuteeka obutebenkevu bwa Bulaaya n’ensi yonna mu lusuubo.”

Okusinziira ku Bayibuli ebintu bino birina makulu ki?

  •   Yesu Kristo yalagula ku kiseera ‘eggwanga lwe lyandirumbye eggwanga n’obwakabaka lwe bwandirumbye obwakabaka.’ (Matayo 24:7) Soma ekitundu ekirina omutwe “What Is the Sign of ‘the Last Days,’ or ‘End Times’?” (Kabonero Ki Akalaga nti Tuli mu Nnaku ez’Enkomerero?) okulaba engeri entalo gye zituukirizaamu obunnabbi bwa Yesu leero.

  •   Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, entalo zikiikirirwa omwebagazi w’embalaasi “emmyufu” amalawo “emirembe ku nsi.” (Okubikkulirwa 6:4) Soma ekitundu ekirina omutwe “Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?” okulaba engeri entalo gye zituukirizaamu obunnabbi leero.

  •   Ekitabo kya Danyeri ky’alagula ku mbiranye wakati wa “kabaka ow’ebukiikakkono” ne “kabaka ow’ebukiikaddyo.” (Danyeri 11:25-45) Laba vidiyo Obunnabbi Obutuukiriziddwa—Danyeri Essuula 11 okulaba lwaki Russia n’ensi ezigiwagira batwalibwa okuba kabaka ow’ebukiikakkono. a

  •   Ekitabo ky’Okubikkulirwa era kyogera “ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Okubikkulirwa 16:14, 16) Kyokka olutalo luno teruli ng’entalo ze tulaba leero. Soma ekitundu “Olutalo Amagedoni Kye Ki?” okumanya ebikwata ku lutalo luno olunaabaawo mu biseera eby’omu maaso.

Kiki ky’oyinza okusuubira mu biseera eby’omu maaso?

  •   Bayibuli egamba nti Katonda ajja ‘kumalawo entalo mu nsi yonna.’ (Zabbuli 46:9) Soma ekitundu “A Real Hope for a Better Tomorrow” (Essuubi erya Nnamaddala mu Biseera eby’omu Maaso) okumanya ebisingawo ku bisuubizo bya Katonda eby’omu maaso.

  •   Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka bwa Katonda okujja. (Matayo 6:9, 10) Obwakabaka obwo ye gavumenti ey’omu ggulu ejja okutuukiriza Katonda by’ayagala ku nsi, era ekyo kizingiramu n’okuleeta emirembe mu nsi yonna. Okumanya engeri Obwakabaka gye buyinza okukuganyulamu, laba vidiyo Obwakabaka bwa Katonda kye Ki?

 Ukraine erimu Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 129,000. Okufaananako Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi endala bakoppa Yesu nga tebenyigira mu bya bufuzi ne mu ntalo. (Yokaana 18:36) Okwetooloola ensi yonna, Abajulirwa ba Yakuwa babuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka” era balaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okugonjoola ebizibu by’abantu nga mw’otwalidde n’entalo. (Matayo 24:14) Tukusaba otutuukirire oyige ebisingawo ebikwata ku bubaka obuli mu Bayibuli obuwa essubi.

a Okumanya ebirala ebikwata ku bunnabbi buno, laba ebitundu “Kababa ow’Ebukiikakkono” mu Kiseera eky’Enkomerero” ne “Kabaka ow’Ebukiikakkono” y’Ani Leero?