Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?
Bayibuli ky’egamba
Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo gavumenti z’abantu zonna bufuge ensi yonna. (Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 16:14) Ekyo bwe kinaabaawo, Obwakabaka bwa Katonda . . .
Bujja kuggyawo abantu ababi, abeerowoozaako bokka, era abaleetera abalala okubonaabona. “Ababi balimalibwawo mu nsi.”—Engero 2:22.
Bujja kumalawo entalo zonna. “[Katonda] amalawo entalo mu nsi yonna.”—Zabbuli 46:9.
Bujja kuleetera abantu okubeera obulungi n’okubeera mu mirembe. “Buli muntu alituula wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe, era tewalibaawo n’omu abatiisa.”—Mikka 4:4.
Bujja kufuula ensi olusuku lwa Katonda. “Olukoola n’ensi enkalu birijaganya, n’eddungu lirisanyuka era lirimulisa ng’amalanga.”—Isaaya 35:1.
Bujja kusobozesa buli omu okufuna omulimi ogumuleetera essanyu. “Abalonde [ba Katonda] balyeyagalira mu mirimu gy’emikono gyabwe. Tebaliteganira bwereere.”—Isaaya 65:21-23.
Bujja kumalirawo ddala endwadde. “Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’”—Isaaya 33:24.
Bujja kuggyawo okukaddiwa. “Omubiri ggwe ka gudde buggya okusinga bwe gwali ng’akyali muvubuka; era k’abe n’amaanyi nga bwe yali mu buvubuka.”—Yobu 33:25.
Bujja kuzuukiza abantu abaafa. ‘Bonna abali mu ntaana baliwulira eddoboozi lya Yesu ne bavaamu.’—Yokaana 5:28, 29.