Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Ensi Okwonoonebwa—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Ensi Okwonoonebwa—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 “Ebintu abantu bye bakola kati bijja kuviirako enkyukakyuka mu mbeera y’obudde n’okwonoonebwa kw’obutonde. Ebibuga ebinene bijja kubuutikirwa amazzi. Ebuggumu lijja kweyongera nnyo. Wajja kubaawo embuyaga ez’amaanyi, ebbula ly’amazzi mu bifo bingi, n’okusaanawo kw’ebika by’ebimera n’ebisolo akakadde kamu. Mu kwogera bwe tutyo tuba tetuteebereza buteebereza oba okusavuwaza. Bannassaayansi bagamba nti ekyo kye kijja okubaawo singa gavumenti tezikyusa mu nkola yaazo.”—Ebigambo ebyayogerwa António Guterres, omuwandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, lwe baafulumya lipoota ekwata ku nkyukakyuka y’obudde nga 4 Apuli, 2022.

 “Bannasayansi balabula nti kumpi paaka zonna 423 mu Amerika zijja kukosebwa olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde kubanga paaka ezo ziyisibwa bubi singa ebbugumu lyeyongera. Ebintu ebibi ebiyinza okubaawo bifaananako obutyabaga bw’oyinza okusomako mu Bayibuli: omuliro n’amataba, okusaanuuka kwa bbalaafu, ennyanja okwanjaala n’ebuggumu okweyongera.”—Byaggibwa mu kitundu ekirina omutwe, “Flooding Chaos in Yellowstone, a Sign of Crises to Come,” ekyali mu lupapula The New York Times, olwafuluma nga 15 Jjuuni, 2022.

 Obutonde n’embeera y’obudde ebyonoonese bisobola okutereera? Bwe kiba kityo ani anaabitereeza? Lowooza ku bino Bayibuli by’egamba.

Okwonoonebwa kw’obutonde kwalagulwa

 Bayibuli egamba nti Katonda ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’ (Okubikkulirwa 11:18) Olunyiriri luno lutuyigiriza ebintu bisatu:

  1.  1. Ebikolwa by’abantu bijja kuviirako ensi okwonoonebwa.

  2.  2. Okwonoonebwa kw’ensi kujja kukoma.

  3.  3. Katonda, so si bantu, y’ajja okutereeza ensi eyonooneddwa.

Ensi yaffe tejja kusaanawo

 Bayibuli egamba nti “ensi ebeerawo emirembe n’emirembe.” (Omubuulizi 1:4) Ejja kubangako abantu ebbanga lyonna.

  •   “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.

 Ensi yaffe ejja kuzzibwa buggya.

  •   “Olukoola n’ensi enkalu birijaganya, n’eddungu lirisanyuka era lirimulisa ng’amalanga.”—Isaaya 35:1.