Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Butyabaga?

Bayibuli Eyogera Ki ku Butyabaga?

Bayibuli ky’egamba

 Katonda si y’aleeta obutyabaga obubaawo leero, naye afaayo ku bantu be bukosa. Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona nga mw’otwalidde n’obutyabaga. Naye mu kiseera kino, Katonda abudaabuda abo ababa bakoseddwa obutyabaga.​—2 Abakkolinso 1:3.

 Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Katonda takozesa butyabaga kubonereza bantu?

 Nga bwe kiragibwa mu Bayibuli, engeri obutyabaga gye bugwaawo eyawukana ku ngeri Katonda gye yakozesaamu amaanyi g’obutonde.

  •   Obutyabaga butta era bukosa buli omu awatali kusosola. Okwawukana ku ekyo, Katonda bwe yakozesa amaanyi g’obutonde okuzikiriza abantu, yakakasa nti ababi bokka be bazikirizibwa. Ng’ekyokulabirako, Katonda bwe yazikiriza ebibuga Sodomu ne Ggomola ebyaliwo edda, yakakasa nti awonyawo omusajja omulungi ayitibwa Lutti ne bawala be ababiri. (Olubereberye 19:29, 30) Katonda yakebera omutima gwa buli muntu kinnoomu mu kiseera ekyo era n’azikiriza abo bokka abaali ababi.​—Olubereberye 18:23-32; 1 Samwiri 16:7.

  •   Ebiseera ebisinga obutyabaga bugwawo bugwi nga tetutegedde. Ku luuyi olulala, Katonda yasookanga kulabula bantu babi nga tannaba kukozesa maanyi ga butonde kubazikiriza. Abantu abaakoleranga ku kulabula okwo baawonangawo.​—Olubereberye 7:1-5; Matayo 24:38, 39.

  •   Abantu balina bye bakoze ebireetedde obutyabaga obumu okubaawo. Mu ngeri ki? Nga boonoona obutonde era nga bazimba mu bifo omutera okuyita musisi, okubeeramu amataba, oba embeera y’obudde embi. (Okubikkulirwa 11:18) Tetusaanidde kunnenya Katonda olw’ebyo abantu bye bakola.​—Engero 19:3.

 Obutyabaga kabonero akalaga nti tuli mu nnaku ez’enkomerero?

 Yee, obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti wandibaddewo obutyabaga mu kiseera ‘ky’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu,’ oba mu “nnaku ez’enkomerero.” (Matayo 24:3; 2 Timoseewo 3:1) Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali ayogera ku biseera byaffe yagamba nti: “Walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu.” (Matayo 24:7) Katonda anaatera okuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona nga mw’otwalidde n’obutyabaga.​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

 Katonda ayamba atya abo ababa bakoseddwa obutyabaga?

  •   Katonda akozesa Ekigambo kye, Bayibuli, okubudaabuda abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Bayibuli etukakasa nti Katonda atufaako era nti atulumirirwa bwe tuba tubonaabona. (Isaaya 63:9; 1 Peetero 5:6, 7) Ate era Bayibuli eraga nti Katonda asuubiza okuggyawo obutyabaga.​—Laba, “ Ebyawandiikibwa ebisobola okubudaabuda abo abakoseddwa obutyabaga.”

  •   Katonda akozesa abaweereza be okuyamba abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Katonda akozesa abaweereza be wano ku nsi abakoppa ekyokulabirako kya Yesu, okubudaabuda abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Obunnabbi bwa Bayibuli bwali bwalaga nti Yesu yandibadde abudaabuda “abo abalina emitima egimenyese” era ‘n’abo bonna abakungubaga.’ (Isaaya 61:1, 2) Abaweereza ba Katonda bafuba okukola kye kimu.​—Yokaana 13:15.

     Ate era Katonda akozesa abaweereza be okuwa abo ababa bakoseddwa obutyabaga bye beetaaga.​—Ebikolwa 11:28-30; Abaggalatiya 6:10.

Abajulirwa ba Yakuwa nga bayamba abo abakoseddwa omuyaga mu Puerto Rico

 Bayibuli esobola okutuyamba okwetegekera obutyabaga?

 Yee. Wadde nga Bayibuli si kitabo ekyogera ku kwetegekera obutyabaga, erimu emisingi egisobola okutuyamba. Ng’ekyokulabirako:

  •   Teekateeka by’onookola nga waguddewo akatyabaga. Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka.” (Engero 22:3) Ng’akatyabaga tekannaba kugwaawo, kiba kya magezi okukeeteekerateekera nga bukyali. Ebimu ku ebyo by’osobola okuteekateeka muzingiramu okuteekateeka ebyo bye munaakozesa nga waguddewo akatyabaga, era n’okuteesa n’ab’omu maka go wa gye munaasisinkana ng’akatyabaga kaguddewo.

  •   Obulamu butwale nga bwa muwendo nnyo okusinga ebintu. Bayibuli egamba nti: “Tetwaleeta kintu kyonna mu nsi era tetulina kye tuyinza kuggyamu.” (1 Timoseewo 6:7, 8) Tulina okuba abeetegefu okuleka amaka gaffe n’ebintu byaffe okusobola okuwonyaawo obulamu bwaffe nga waguddewo akatyabaga. Tulina okukijjukira nti obulamu bwaffe bwa muwendo nnyo okusinga ebintu.​—Matayo 6:25.