Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Comstock Images/Stockbyte via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Ani gw’Onoolonda Okubeera Omukulembeze Wo?—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Ani gw’Onoolonda Okubeera Omukulembeze Wo?—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Mu kiseera ekitali kya wala, wajja kubaawo okulonda mu mawanga agatali gamu mu nsi yonna. Abantu bagenda kulonda abakulembeze baabwe.

 Bayibuli Ekyogerako Ki?

Waliwo ebintu abakulembeze b’abantu bye batalinaako buyinza

 Bayibuli eraga ekintu abakulembeze b’abantu bonna kye batalinaako buyinza.

  •   “Temwesiganga bafuzi, oba omuntu omulala yenna atasobola kulokola. Omukka gwe gumuvaamu, n’addayo mu ttaka; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bisaanawo.”—Zabbuli 146:3, 4.

 N’abafuzi abalungi ekiseera kituuka ne bafa. Ate era, tebayinza kukakasa nti ebirungi bye baba bakoze, abo abanaabaddira mu bigere bajja kubitwala mu maaso.—Omubuulizi 2:18, 19.

 Bayibuli ekiraga bulungi nti abantu tebaatondebwa nga balina obusobozi bw’okufuga bantu bannaabwe.

  •   “Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.”—Yeremiya 10:23.

 Waliwo ayinza okukulembera abantu obulungi mu kiseera kyaffe?

Omukulembeze eyalondebwa Katonda

 Bayibuli eraga nti Katonda alonze omukulembeze alina obusobozi bw’okufuga obulungi abantu: Yesu Kristo. (Zabbuli 2:6) Yesu ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, gavumenti efuga ng’esinziira mu ggulu.—Matayo 6:10.

 Onoolonda Yesu okuba omukulembeze wo? Bayibuli eraga lwaki ky’osalawo ku nsonga eyo kikulu nnyo:

  •   “Muwe omwana [Yesu Kristo] ekitiibwa; bwe mutakola mutyo, Katonda ajja kusunguwala muzikirire muve mu kkubo, kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Balina essanyu abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.”—Zabbuli 2:12.

 Kati kye kiseera gwe okubaako ky’osalawo. Obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti Yesu yatandika okufuga mu 1914 era mangu ddala Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo gavumenti z’abantu zonna.—Danyeri 2:44.

 Okumanya ebisingawo ku ngeri gy’oyinza okuwagiramu obukulembeze bwa Yesu, soma ekitundu ekirina omutwe “Salawo Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda Kati!