Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OKUKUZA ABAANA

Kikulu Okuyigiriza Abaana Emirimu gy’Awaka

Kikulu Okuyigiriza Abaana Emirimu gy’Awaka

OKUSOOMOOZA

Mu maka agamu abazadde bafuba okulaba nti abaana baabwe beenyigira mu mirimu gy’awaka, era abaana baabwe bakola emirimu egyo n’essanyu. Naye ate mu maka amalala abazadde tebawa baana baabwe mirimu gya waka, era abaana bakiraba nti tekibakakatako kwenyigira mu mirimu egyo.

Okunoonyereza kulaga nti okusingira ddala mu nsi za Bulaaya abaana tebeenyigira mu mirimu gy’awaka. Omuzadde ayitibwa Steven agamba nti: “Leero, abaana abasinga obungi basiiba bazannya mizannyo gya kompyuta, bali ku Intaneeti, oba nga balaba ttivi. Abazadde tebabasuubira kukola mirimu gy’awaka.”

Olowooza otya? Abaana okwenyigira mu mirimu gy’awaka kirina engeri gye kiganyula amaka n’abaana kinnoomu?

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

Abazadde abamu tebaagala kuwa baana baabwe mirimu gy’awaka naddala bwe kiba nti abaana baabwe balina eby’okukola bingi ebiba bibaweereddwa ku ssomero oba balina emizannyo egimu gye beenyigiramu olweggulo. Naye lowooza ku miganyulo abaana gye bafuna bwe beenyigira mu mirimu gy’awaka.

Okukola emirimu kiyamba omwana okukula mu birowoozo. Abaana abeenyigira mu mirimu gy’awaka batera okukola obulungi ku ssomero. Okwenyigira mu mirimu egyo kiyamba omwana okuba nga teyeetya, okuba ow’obuvunaanyizibwa, n’okuba omumalirivu, era ebintu ebyo bimuyamba ku ssomero.

Emirimu giyamba abaana okuyiga okuweereza abalala. Abaana abeenyigira mu mirimu gy’awaka bwe bakula baba beetegefu okukola emirimu egiyamba abantu bonna okutwalira awamu. Ekyo tekyewuunyisa kubanga okwenyigira mu mirimu gy’awaka kibayamba obutakulembeza byabwe, wabula eby’abalala. Steven ayogeddwako waggulu yagamba nti: “Abaana bwe bateenyigira mu mirimu gy’awaka, bakitwala nti bo balina kuweerezebwa buweerezebwa. Bakula nga si ba buvunaanyizibwa era obulamu tebubabeerera bwangu.”

Okukola emirimu kireetawo obumu mu maka. Abaana bwe beenyigira mu mirimu gy’awaka kibayamba okukiraba nti ba mugaso mu maka era nti nabo balina obuvunaanyizibwa bwe balina okutuukiriza mu maka. Naye ekyo abaana tebasobola kukiraba singa abazadde, eky’abaana okwenyigira mu mizannyo egy’olweggulo kye batwala ng’ekikulu okusinga abaana okwenyigira mu mirimu gy’awaka. Weebuuze, ‘Kigasa ki okuba nti omwana alina omukwano ogw’oku lusegere n’abo b’azannya nabo omupiira kyokka ng’ate talina mukwano gwa ku lusegere na ba mu maka?’

KY’OYINZA OKUKOLA

Tandika okubawa emirimu nga bakyali bato. Abantu abamu bagamba nti kirungi okutandika okuwa omwana emirimu gy’awaka nga wa myaka esatu. Ate abalala bagamba nti kirungi okutandika okugimuwa nga wa myaka ebiri oba nga muto n’okusingawo. Abazadde basaanidde okukijjukira nti abaana abakyali abato baagala nnyo okukolera awamu ne bazadde baabwe era n’okubakoppa.Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 22:6.

Bawe emirimu okusinziira ku myaka gyabwe. Ng’ekyokulabirako, omwana ow’emyaka esatu oyinza okumugamba okukuŋŋaanya ebintu by’aba azannyisizza, okusiimuula ebintu ebiba biyiise, oba okutegeka engoye ze. Abaana abakuluko bayinza okwera ennyumba, okwoza emmotoka, oba okufumba. Abaana bo bawe emirimu okusinziira ku busobozi bwabwe. Bw’obawa emirimu, kiyinza okubasanyusa ennyo n’okusinga bw’obadde osuubira.

Okuwa abaana emirimu gy’awaka kitwale nga kikulu. Ekyo kiyinza okuba ekizibu, naddala singa omwana wo aba n’eby’okukola bingi by’aweereddwa ku ssomero. Naye ekitabo ekiyitibwa The Price of Privilege kigamba nti singa omwana wo omuggyako emirimu gy’awaka asobole okukola obulungi ku ssomero, “oba tomanyi kisinga bukulu.” Nga bwe kiragiddwa waggulu, abaana bwe beenyigira mu mirimu gy’awaka kibayamba okukola obulungi ku ssomero. Ate era bwe bayiga okukola emirimu kiba kijja kubayamba mu biseera eby’omu maaso nga bafunye amaka agaabwe ku bwabwe.Amagezi okuva mu Bayibuli: Abafiripi 1:10.

Essira lisse ku kigendererwa, so si ku ngeri omulimu gye gukolebwamu. Omwana wo kiyinza okumutwalira ekiseera kiwanvu, n’okusinga ekyo ky’obadde osuubira, okumaliriza omulimu gw’oba omuwadde. Oyinza n’okukiraba nti omulimu tagukola bulungi nga bw’oyagala. Ekyo bwe kibaawo, toyanguyiriza kumuggyako mulimu ogwo n’osalawo okugwekolera. Ekigendererwa kyo ekikulu si kulaba nti omwana wo omulimu gw’oba omuwadde agukola ng’omuntu omukulu, wabula kwe kumuyamba okuba ow’obuvunaanyizibwa n’okufuna essanyu eriva mu kukola emirimu.Amagezi okuva mu Bayibuli: Omubuulizi 3:22.

Weewale okubasasula ssente. Abamu bagamba nti okuwa omwana ssente asobole okukola emirimu kimuyamba okuba ow’obuvunaanyizibwa. Ate abalala bagamba nti ekyo kireetera omwana okussa essira ku ekyo ky’ayinza okufuna mu b’awaka mu kifo ky’okulissa ku ebyo by’ayinza okukola okuganyula ab’awaka. Ate era omwana bw’aba alina ssente ezimumala, ayinza okugaana okukola emirimu gy’awaka, olwo nno ekigendererwa ky’okumuwa emirimu awaka ne kigwa butaka. Ekyo kituyigiriza? Kiba kya magezi abazadde okwewala okuwa abaana ssente basobole okukola emirimu.