Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

 EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA SITAANI GYALI?

Sitaani Ye Ndowooza Embi Eba mu Bantu?

Sitaani Ye Ndowooza Embi Eba mu Bantu?

Abantu abamu balowooza nti Sitaani ayogerwako mu Bayibuli ye ndowooza embi eba mu bantu. Naye ddala ekyo Bayibuli ky’eyigiriza? Bwe kiba kityo, lwaki Bayibuli eraga nti Sitaani yayogera ne Yesu Kristo era ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna? Ka twetegereze ebyaliwo.

SITAANI YAYOGERA NE YESU

Yesu bwe yatandika obuweereza bwe wano ku nsi, Sitaani yamukema emirundi esatu. Mu kikemo ekyasooka, Sitaani yali ayagala Yesu akozese amaanyi Katonda ge yamuwa mu ngeri eyandiraze nti yeefaako yekka. Mu ky’okubiri, Sitaani yali ayagala Yesu ateeke obulamu bwe mu kabi ekyandiraze nti wa malala. Mu ky’okusatu, Sitaani yasuubiza Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi singa Yesu yavunnama n’amusinza. Yesu yaziyiza ebikemo ebyo byonna ng’ajuliza Ebyawandiikibwa.Matayo 4:1-11; Lukka 4:1-13.

Yesu yali ayogera n’ani? Yali ayogera na ndowooza mbi eyali mu mutima gwe? Bayibuli egamba nti Yesu ‘yagezesebwa mu byonna nga ffe, naye nga ye teyalina kibi.’ (Abebbulaniya 4:15) Ate era egamba nti: “Talina kibi kye yakola, era obulimba tebwalabika mu kamwa ke.” (1 Peetero 2:22) Yesu yali atuukiridde era yasigala mwesigwa. Teyalina ndowooza yonna mbi mu mutima gwe. N’olwekyo, Yesu yali ayogera ne Sitaani, ekitonde eky’omwoyo.

Okukemebwa kwa Yesu kwongera okutukakasa nti ddala Sitaani gyali. Mu ngeri ki?

  • Kijjukire nti Sitaani yasuubiza Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi singa Yesu yavunnama n’amusinza. (Matayo 4:8, 9) Singa Sitaani taliiyo ekyo tekyandibadde kikemo. Ate era, Yesu teyagamba nti Sitaani talina buyinza ku bwakabaka obw’omu nsi.

  • Yesu bwe yaziyiza ebikemo ebyo, Sitaani ‘yamuleka okutuusa lwe yandifunye akakisa omulundi omulala.’ (Lukka 4:13) Ekyo kiraga nti Sitaani si ye ndowooza embi eba mu bantu, wabula mulabe owa ddala.

  • Weetegereze nti ‘bamalayika bajja ne batandika okuweereza’ Yesu. (Matayo 4:11) Olowooza bamalayika abo abajja okubudaabuda Yesu byali bitonde bya mwoyo era nga ba ddala? Awatali kubuusabuusa. Ekyo kitegeeza nti ne Sitaani kitonde kya mwoyo era gyali.

SITAANI YAYOGERA NE KATONDA

Emirundi ebiri, Sitaani yayogera ne Katonda. Ebyo bye baayogera byali bikwata ku Yobu, omusajja eyali atya ennyo Katonda. Ku mirundi egyo  gyombi, Katonda yayogera ku bwesigwa bwa Yobu. Sitaani yagamba nti Yobu yali aweereza Katonda olw’okuba Katonda yali alina by’amuwa. Sitaani yali ng’agamba nti Katonda yali agulirira Yobu. Ate era, Sitaani yali ng’agamba nti yali amanyi Yobu okusinga Katonda. Yakuwa yaleka Sitaani okusaanyaawo eby’obugagga bya Yobu, okutta abaana be, era n’okumulwaza obulwadde obw’amaanyi. * Oluvannyuma lw’ekiseera, kyeyoleka bulungi nti ebyo Yakuwa bye yayogera ku Yobu byali bituufu, era nti Sitaani mulimba. Katonda yawa Yobu emikisa mingi olw’okusigala nga mwesigwa.Yobu 1:6-12; 2:1-7.

Olowooza Yakuwa yali ayogera na ndowooza mbi eyali mu ye? Nedda. Bayibuli egamba nti: “Ekkubo lya Katonda lyatuukirira.” (2 Samwiri 22:31) Ate era egamba nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Okubikkulirwa 4:8) Ekigambo “mutukuvu” kitegeeza nti, muyonjo era tasobola kukola kibi kyonna. Yakuwa mutuukirivu era tasobola kubeera na ndowooza yonna embi.

Sitaani yayogera ne Katonda era yaleetera Yobu ebizibu eby’amaanyi

Abamu bagamba nti Yobu teyaliiyo, era nti byonna ebimwogerwako lugero bugero. Naye ddala ekyo kituufu? Ebyawandiikibwa ebirala bingi biraga nti Yobu yaliyo. Ng’ekyokulabirako, mu Yakobo 5:7-11, omutume Yakobo bwe yali akubiriza Abakristaayo okugumiikiriza nga bali mu mbeera enzibu yawa ekyokulabirako kya Yobu, era n’abajjukiza nti abo abagumiikiriza Yakuwa abawa emikisa mingi. Bwe kiba nti Yobu teyaliiyo, era nga n’ebizibu Sitaani bye yamuleetera tebyaliyo, olowooza ekyokulabirako ekyo kyandikutte ku Bakristaayo abo? Ate era, Ezeekyeri 14:14, 20, woogera ku basajja abatuukirivu basatu; Nuuwa, Danyeri, ne Yobu. Okufaananako Nuuwa ne Danyeri, Yobu naye yaliyo era yalina okukkiriza okw’amaanyi. Bwe kiba nti Yobu yaliyo, ne Sitaani eyamuleetera ebizibu ateekwa okuba nga gyali.

Mu butuufu, Bayibuli eraga nti Sitaani kitonde kya mwoyo era gyali. Naye oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Ne leero Sitaani wa bulabe gye ndi?’

ATE MU KISEERA KINO?

Kuba akafaananyi ng’abamenyi b’amateeka bangi bazze okubeera mu kitundu kyammwe. Kya lwatu nti ekitundu ekyo tekijja kubaamu butebenkevu era n’empisa z’abantu zijja kwonooneka. Ekintu ekifaananako bwe kityo kye kyatuuka ku nsi. Sitaani ne badayimooni, nga nabo bitonde bya mwoyo ebyajeemera Katonda, baasuulibwa wano ku nsi. Biki ebivuddemu? Lowooza ku ebyo ebiba mu mawulire okwetooloola ensi yonna:

  • Okiraba nti obumenyi bw’amateeka bweyongedde nnyo, wadde nga gavumenti zikola kyonna ekisoboka okubukomya?

  • Okiraba nti leero eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi birimu eby’obusamize, wadde ng’abazadde bangi tebaagala baana baabwe kubiraba?

  • Okiraba nti obutonde bw’ensi bweyongera kwonoonebwa, wadde nga waliwo abafuba okubulwanirira?

  • Kyandiba nti waliwo aleetera abantu okukola ebintu ebibi bye tulaba leero?

Bayibuli etuyamba okumanya ensibuko y’ebizibu byonna ebiriwo leero. Egamba nti: “Ogusota ogunene, omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani, ogubuzaabuza ensi yonna, ne gusuulibwa ku nsi era ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo. . . . Zisanze ensi n’ennyanja, kubanga Omulyolyomi asse gye muli, ng’alina obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:9, 12) Bangi bwe beetegerezza obukakafu obuliwo, bakakasizza nti Sitaani gyali era nti y’aleetera abantu okukola ebintu ebibi.

Naye oyinza okuba nga weebuuza nti, nnyinza ntya okwekuuma Sitaani Omulyolyomi? Mu kitundu ekiddako tugenda kulaba ebisobola okutuyamba.

^ par. 12 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.