Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Ddala Yesu yazuukiza abafu?

Yesu yazuukiza Laazaalo, eyali yaakamala ennaku nnya nga mufu

Bayibuli ekiraga bulungi nti Yesu yazuukiza abafu. Okuzuukira okwo si nfumo bufumo kubanga abantu Yesu be yazuukiza baaliyo era ebiseera n’ebifo gye yabazuukiriza bimanyiddwa. Ng’ekyokulabirako, mu mwaka gwa 31 embala eno, ekibiina ky’abantu baali batambula ne Yesu. Baali bava Kaperunawumu nga bagenda e Nayini. Bwe baali banaatera okutuuka mu kibuga ekyo, baasanga ekibinja ekirala eky’abantu abaali basitudde omulambo. Yesu yazuukiza omufu oyo, era tuli bakakafu nti ekyo kyaliwo kubanga kyawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli, era abantu bangi baakiraba.Soma Lukka 7:11-15.

Ate era Yesu yazuukiza mukwano gwe Laazaalo eyali yaakamala ennaku nnya nga mufu. Tusobola okuba abakakafu nti okuzuukira okwo nakwo kwaliyo kubanga waaliwo abantu bangi abaalaba nga Yesu azuukiza Laazaalo.Soma Yokaana 11:39-45.

Lwaki Yesu yazuukiza abafu?

Yesu yazuukiza abafu olw’okuba yasaasiranga abo abaabanga bafiiriddwa. Ate era yakikola okulaga nti Kitaawe, Omutonzi w’ebintu byonna, yamuwa obuyinza ku kufa.Soma Yokaana 5:21, 28, 29.

Eky’okuba nti Yesu yazuukiza abafu kitukakasa nti ajja kutuukiriza ekyo kye yasuubiza. Ajja kuzuukiza abantu bangi, nga mw’otwalidde n’abatali batuukirivu abaafa nga tebamanyi bikwata ku Katonda ow’amazima. Bajja kufuna akakisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda n’okukiraga nti bamwagala.Soma Ebikolwa 24:15.