Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olaba Omukono gwa Katonda mu Bulamu Bwo?

Olaba Omukono gwa Katonda mu Bulamu Bwo?

“Omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be.”—IS. 66:14.

ENNYIMBA: 65, 26

1, 2. Ndowooza ki abantu abamu gye balina ku Katonda?

ABANTU bangi balowooza nti Katonda tafaayo ku ebyo bye bakola. Ate abamu balowooza nti Katonda tafaayo ku ebyo ebituuka ku bantu. Oluvannyuma lw’omuyaga ogw’amaanyi okukuba ekitundu ekimu eky’omu Philippines mu Noovemba 2013, meeya w’ekibuga ekimu yagamba nti: “Katonda ateekwa okuba ng’aliko gye yali alaze.”

2 Ate engeri abantu abamu gye beeyisaamu baba ng’abagamba nti Katonda talaba bye bakola. (Is. 26:10, 11; 3 Yok. 11) Balinga abantu omutume Pawulo be yayogerako bwe yagamba nti: “[Tebaali] beetegefu kutegeerera ddala Katonda.” Abantu ng’abo baali ‘bajjudde obutali butuukirivu, okwonoona, okwegomba, n’ebintu ebibi.’—Bar. 1:28, 29.

3. (a) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza? (b) Emirundi mingi Bayibuli bw’eyogera ku ‘mukono’ gwa Yakuwa eba etegeeza ki?

3 Ate ffe? Obutafaananako abantu aboogeddwako waggulu, tukimanyi nti Yakuwa alaba buli kye tukola. Naye ddala tukiraba nti Yakuwa atufaako, era tulaba omukono gwe mu bulamu bwaffe? Tuli bamu ku abo Yesu be yagamba nti “baliraba Katonda”? (Mat. 5:8) Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka tulabe abamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaalaba omukono gwa Katonda n’abo abaagaana okugulaba. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulabamu omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwaffe nga tukozesa amaaso gaffe ag’okukkiriza. Nga twetegereza ensonga ezo, kikulu okukijjukira nti emirundi mingi Bayibuli bw’eyogera ku ‘mukono’ gwa Katonda eba etegeeza amaanyi Katonda g’akozesa okuyamba abaweereza be n’okuwangula abalabe be.—Soma Ekyamateeka 26:8.

BAALEMERERWA OKULABA OMUKONO GWA KATONDA

4. Lwaki abalabe ba Isiraeri baalemererwa okulaba omukono gwa Katonda?

4 Mu biseera by’edda, abantu bangi baafuna akakisa okulaba n’okuwulira engeri Katonda gye yayambamu Abaisiraeri. Mu ngeri ey’ekyamagero, Yakuwa yanunula abantu be okuva mu Misiri, era n’abasobozesa okuwangula bakabaka bangi. (Yos. 9:3, 9, 10) Wadde nga bakabaka abaali ebugwanjuba wa Yoludaani baalaba era ne bawulira ku bintu ebyo, ‘baakuŋŋaana wamu okulwanyisa Yoswa n’Abaisiraeri.’ (Yos. 9:1, 2) Bakabaka abo ne bwe baatandika okulwanyisa Abaisiraeri, baali basobola bulungi okulaba omukono gwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yalagira “enjuba n’eyimirira, omwezi ne gulinda, okutuusa eggwanga bwe lyamala okuwalana eggwanga ku balabe baabwe.” (Yos. 10:13) Yakuwa ‘yaleka emitima gy’abalabe okukakanyala ne balwanyisa Isiraeri.’ (Yos. 11:20) Abalabe ba Isiraeri baagaana okukikkiriza nti Katonda ye yali alwanirira abantu be, era ekyo kyabaviirako okuwangulwa.

5. Kiki Kabaka Akabu eyali omubi kye yagaana okukkiriza?

5 Omuntu omulala eyafuna akakisa okulaba omukono gwa Katonda yali Kabaka Akabu. Eriya yamugamba nti: “Tewajja kubaawo musulo wadde enkuba mu myaka gino, okuggyako nga ŋŋambye nti bibeewo!” (1 Bassek. 17:1, NW) Kya lwatu nti Yakuwa ye yali asuubizza ekintu ekyo naye Akabu yagaana okukikkiriza. Nga wayise ekiseera, Akabu yalaba omuliro nga gukka okuva mu ggulu, Eriya bwe yasaba ekiweebwayo kye okwokebwa. Oluvannyuma, Eriya yakiraga nti Yakuwa yali wa kukomya ekyeya, era n’agamba Akabu nti: ‘Serengeta, enkuba ereme okukuziyiza.’ (1 Bassek. 18:22-45) Ebyo byonna Akabu yabiraba naye era n’agaana okukikkiriza nti Yakuwa ye yali ayolesezza amaanyi ge. Ebyokulabirako ebyo birina ekintu ekikulu kye bituyigiriza. Tulina okufuba okulaba omukono gwa Yakuwa.

BAALABA OMUKONO GWA YAKUWA

6, 7. Kiki abantu abamu abaaliwo mu kiseera kya Yoswa kye baasobola okulaba?

6 Obutafaananako bakabaka abo ababi, abantu abalala baalaba omukono gwa Katonda, wadde nga baali mu mbeera y’emu n’eya bakabaka abo. Ng’ekyokulabirako, okwawukana ku mawanga agatali gamu agaalwanyisa Abaisiraeri mu kiseera kya Yoswa, Abagibiyoni baasalawo okukola endagaano ey’emirembe n’Abaisiraeri. Lwaki? Baagamba nti: “Abaddu bo bavudde . . . wala nnyo okujja wano olw’erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga twawulira okwatiikirira kwe, ne byonna bye yakola.” (Yos. 9:3, 9, 10) Baakiraba nti Katonda ow’amazima ye yali ayamba Isiraeri.

7 Lakabu naye yalaba omukono gwa Katonda. Oluvannyuma lw’okuwulira ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu abantu be, Lakabu yagamba abakessi ba Isiraeri ababiri nti: “Mmanyi nga mukama abawadde ensi.” Wadde ng’ekyo kyali kiteeka obulamu bwe mu kabi, yeesiga Yakuwa nti yali asobola okumuwonyaawo awamu n’ab’omu maka ge.—Yos. 2:9-13; 4:23, 24.

8. Abaisiraeri abamu baalaba batya omukono gwa Katonda?

8 Obutafaananako Kabaka Akabu omubi, Abaisiraeri abamu abaalaba omuliro ogwakka okuva mu ggulu oluvannyuma lwa Eriya okusaba, baakitegeera nti omukono gwa Katonda gwe gwali gukikoze. Bwe baalaba omuliro ogwo ogwava eri Yakuwa nga gwokya ekiweebwayo, baagamba nti: “Yakuwa ye Katonda ow’amazima!” (1 Bassek. 18:39, NW) Abaisiraeri abo baakirabirawo nti ogwo gwali mukono gwa Katonda!

9. Tuyinza tutya okulaba Yakuwa n’omukono gwe leero?

9 Ebyokulabirako ebibi n’ebirungi bye tulabye bituyamba okutegeera kye kitegeeza okulaba Katonda oba omukono gwa Katonda. Bwe tweyongera okumanya Katonda era ne tutegeera engeri ze, naffe tusobola okulaba omukono gwe nga tukozesa “amaaso g’emitima [gyaffe].” (Bef. 1:18) Mu butuufu, twagala okubeera ng’abantu ab’edda n’ab’omu kiseera kyaffe abaasobola okukiraba nti Yakuwa ayamba abantu be. Kati ekyebuuzibwa kiri nti, waliwo obukakafu bwonna obulaga nti Yakuwa ayamba abantu be leero?

OBUKAKAFU OBULAGA NTI KATONDA AYAMBA ABANTU LEERO

10. Bukakafu ki obulaga nti Yakuwa ayamba abantu leero? (Laba ekifaananyi ku lupapula 4.)

10 Waliwo obukakafu bungi obulaga nti ne leero Yakuwa ayamba abantu. Emirundi mingi waliwo abantu abasabye Katonda okubayamba era n’abayamba. (Zab. 53:2) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu ayitibwa Allan bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba ku kizinga ekimu mu Philippines, yasisinkana omukazi omu eyatandika okukaaba. Allan agamba nti: “Ku olwo lwennyini ku makya, omukazi oyo yali asabye Yakuwa asindike Abajulirwa be gy’ali. Omukyala oyo bwe yali akyali muvubuka, yayigako Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa naye n’alekera awo olw’okuba yali afumbiddwa era n’asengukira ku kizinga ekyo. Kyamwewuunyisa nnyo okuba nti Katonda yali azzeemu essaala ye amangu ddala.” Waali tewannayita na mwaka gumu ne yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa.

Okiraba nti Yakuwa ayamba abantu be leero? (Laba akatundu 11-13)

11, 12. (a) Yakuwa ayamba atya abantu be leero? (b) Yakuwa yayamba atya mwannyinaffe omu?

11 Abaweereza ba Katonda bangi bakirabye nti Katonda ayamba abantu be, bwe basobodde okweggyako emize emibi, gamba ng’okunywa ssigala, okukozesa ebiragalalagala, oba okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Abamu ku bo bagamba nti baagezaako enfunda n’enfunda okulwanyisa emize egyo mu maanyi gaabwe, naye ne balemererwa okugivvuunuka. Kyokka bwe baasaba Yakuwa abayambe, yabawa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo,” ne basobola okugivvuunuka.—2 Kol. 4:7; Zab. 37:23, 24.

12 Ate era Yakuwa ayambye abaweereza be nga boolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Ng’ekyokulabirako, Amy yayolekagana n’okusoomooza okutali kumu bwe yali ng’asindikiddwa okuyambako mu kuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka n’amaka g’abaminsani ku kizinga ekimu eky’omu Pacific. Agamba nti: “Twasulanga mu wooteeri emu, era buli lunaku twayitanga mu nguudo ezaabanga zanjadde amazzi nga tugenda okukola.” Ate era Amy yalina okumanyiira empisa z’omu kitundu, era emirundi mingi tebaabanga na masannyalaze oba amazzi. Amy agattako nti: “Ekintu ekirala ekyammalako essanyu kwe kuba nti lumu nnaboggolera omu ku baganda bange be twali tukola nabo. Ekyo kyampisa bubi nnyo. Bwe nnaddayo eka, nnayingira mu kisenge kyange ekyali kikutte enzikiza ne nsaba Yakuwa annyambe.” Amasannyalaze bwe gaakomawo, Amy yasoma Omunaala gw’Omukuumi ogwalimu ekitundu ekikwata ku matikkira ga Gireyaadi ekyali kyogera ku kusoomooza okutali kumu naye kennyini kwe yali ayolekagana nakwo, gamba nga, ekiwuubaalo, empisa z’omu kitundu, n’okukolagana n’abantu ab’omu kitundu. Agamba nti: “Mu kiro ekyo nnawulira nga ddala Yakuwa yali ayogera nange. Ekyo kyankubiriza okugenda mu maaso n’obuweereza bwange obwo.”—Zab. 44:25, 26; Is. 41:10, 13.

13. Bukakafu ki obulaga nti Yakuwa ayamba abantu be ‘okulwanirira amawulire amalungi n’okuganyweza okuyitira mu mateeka’?

13 Okuba nti Abajulirwa ba Yakuwa basobodde ‘okulwanirira amawulire amalungi n’okuganyweza okuyitira mu mateeka,’ bukakafu bwa maanyi obulaga nti Yakuwa abayamba. (Baf. 1:7) Gavumenti ezimu zigezezzaako okuziyiza omulimu gw’abantu ba Katonda, naye okuba nti Abajulirwa ba Yakuwa basobodde okuwangula emisango nga 268 mu kooti enkulu, nga 24 ku ggyo baagiwangula mu European Court of Human Rights mu myaka 15 egiyise, bukakafu bwa maanyi obulaga nti tewali asobola kuziyiza mukono gwa Katonda.—Is. 54:17; soma Isaaya 59:1.

14. Bukakafu ki obulala obulaga nti Yakuwa ayamba abantu be?

14 Tewali kubuusabuusa nti Katonda y’atusobozesa okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. (Mat. 24:14; Bik. 1:8) Ate era Yakuwa y’asobozesezza abantu be okuva mu mawanga gonna okubeera obumu. Obumu obwo bwewuunyisa nnyo ne kiba nti n’abantu abatasinza Yakuwa batuuse n’okugamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.” (1 Kol. 14:25) Mu butuufu, waliwo obukakafu bungi obulaga nti Katonda ayamba abantu be ng’ekibiina. (Soma Isaaya 66:14.) Ate ggwe? Olaba omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwo?

OLABA OMUKONO GWA YAKUWA MU BULAMU BWO?

15. Kiki ekiyinza okutulemesa okulaba omukono gwa Katonda mu bulamu bwaffe?

15 Kiki ekiyinza okutulemesa okulaba omukono gwa Katonda mu bulamu bwaffe? Ebizibu bye tufuna oluusi biyinza okutuyitirirako. Mu mbeera ng’eyo, tuyinza okwerabira engeri Yakuwa gy’azze atuyambamu. Nnaabakyala Yezebeeri bwe yali ayagala okutta Eriya, ne Eriya kennyini okumala akaseera yeerabira engeri Katonda gye yali amuyambyemu. Bayibuli egamba nti Eriya ‘yasaba afe.’ (1 Bassek. 19:1-4) Kiki ekyali kiyinza okuyamba Eriya mu mbeera eyo? Yali yeetaaga okwesiga Yakuwa okumuyamba.—1 Bassek. 19:14-18.

16. Okufaananako Yobu, kiki ekiyinza okutuyamba okulaba Katonda?

16 Yobu naye lumu ebizibu bye yafuna byamuleetera obutatunuulira bintu nga Katonda bw’abitunuulira. (Yob. 42:3-6) Okufaananako Yobu, naffe oluusi kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okusobola okulaba Katonda. Kiki ekiyinza okutuyamba okulaba Katonda? Tusaanidde okufumiitiriza ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku bizibu bye tufuna. Ekyo kiyinza okutuyamba okulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu, bw’atyo n’aba wa ddala gye tuli. Okufaananako Yobu, naffe tuyinza okugamba nti: “Nnali nkuwuliddeko n’okuwulira kw’okutu; naye kaakano eriiso lyange likulaba.”

Yakuwa akukozesa okuyamba abalala okumulaba? (Laba akatundu 17, 18)

17, 18. (a) Tuyinza tutya okulaba omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwaffe? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa atuyamba leero.

17 Tuyinza tutya okulaba omukono gwa Yakuwa? Lowooza ku byokulabirako bino: Oyinza okuba ng’okiraba nti Yakuwa ye yakusobozesa okuzuula amazima. Ate oyinza okuba nga lumu bwe wali mu lukuŋŋaana, wawulira nti ensonga emu eyayogerwako ddala yali ekwata ku ggwe. Oyinza okuba ng’olina kye wasaba, essaala yo n’eddibwamu. Oyinza okuba nga wagaziya ku buweereza bwo era n’olaba engeri Yakuwa gye yakuwaamu emikisa. Oba oyinza okuba ng’olina omulimu gwe waleka olw’okukulembeza Obwakabaka era n’okiraba nti Katonda ‘teyakwabulira.’ (Beb. 13:5) Bwe tufumiitiriza ennyo, tusobola okulaba engeri ezitali zimu Yakuwa gy’atuyambyemu.

18 Mwannyinaffe Sarah abeera mu Kenya agamba nti: “Lumu nnasaba Yakuwa nga mmutegeeza ku muyizi wange owa Bayibuli gwe nnali ndowooza nti yali tayagala by’asoma. Nnasaba Yakuwa annyambe okumanya obanga nnali nneetaaga okulekera awo okusoma n’omuyizi oyo. Olwali okugamba nti ‘Amiina,’ essimu yange n’evuga. Omuyizi wange oyo owa Bayibuli ye yali akubye ng’ambuuza obanga tusobola okugenda ffembi mu nkuŋŋaana! Ekyo kyanneewuunyisa nnyo!” Naawe bw’oba obulindaala, osobola okulaba engeri Katonda gy’akuyambamu mu bulamu bwo. Rhonna, mwannyinaffe abeera mu Asiya, agamba nti: “Tulina okufuba okulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu. Ekyo kisobola okutuyamba okukiraba nti Yakuwa atufaako nnyo!”

19. Kiki ekirala kye twetaaga okukola okusobola okulaba Katonda?

19 Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abalongoofu mu mutima, kubanga baliraba Katonda.” (Mat. 5:8) Tuyinza tutya okuba “abalongoofu mu mutima”? Tulina okukuuma ebirowoozo byaffe nga birongoofu era ne twewala okukola ebintu ebibi. (Soma 2 Abakkolinso 4:2.) Bwe tweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda era ne tweyisa bulungi, tubeera mu abo abalaba Katonda. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri okukkiriza gye kusobola okutuyamba okwongera okulaba omukono gwa Yakuwa mu bulamu bwaffe.