Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusemberera Katonda Kirungi Gye Ndi

Okusemberera Katonda Kirungi Gye Ndi

BWE nnaweza emyaka mwenda, nnalekera awo okukula. Mu kiseera ekyo nnali mbeera mu Côte d’Ivoire, era kati wayise emyaka 34. Mu kiseera kino ndi wa ffuuti ssatu. Bazadde bange bwe baakiraba nti nnali sikyasobola kuwanvuwa, bankubiriza okuba n’eby’okukola bingi nneme kumalira birowoozo byange ku ndabika yange. Nnateekawo akadaala k’ebibala mu maaso g’ennyumba yaffe era ne nfuba okulaba nti kaba kayonjo era nga kategeke bulungi. Ekyo kyasikirizanga nnyo abaguzi.

Kyokka, okukola ennyo tekyamalawo kizibu kyange. Nnali nkyali mumpi nnyo era n’ebintu ebirabika ng’ebyangu ennyo byankaluubiriranga okukola. Nnali ndaba nga kumpi buli kimu baakikolera bantu abankubisaamu obuwanvu emirundi ebiri. Nnawuliranga bubi, naye ekyo kyakyuka bwe nnali wa myaka 14.

Lumu abakyala babiri Abajulirwa ba Yakuwa bajja okugula ebibala, era ne batandika okunjigiriza Bayibuli. Nnakiraba nti okumanya ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye kikulu nnyo okusinga endabika yange. Ekyo kyannyamba nnyo. Nnayagala nnyo ebigambo ebiri mu Zabbuli 73:28. Ekitundu ekisooka eky’olunyiriri olwo kigamba nti: “Kirungi nze nsemberere Katonda.”

Oluvannyuma twasengukira mu Burkina Faso, era obulamu bwange bwakyuka nnyo. Bwe twali tukyabeera mu Côte d’Ivoire, abantu baali bamanyidde okundaba ku kadaala kange ak’ebibala. Naye kati eno gye twali tuzze abantu baali tebammanyidde era bangi bantunuuliranga beewuunya. Ekyo kyanviirako obutava mu nnyumba okumala ekiseera. Kyokka oluvannyuma nnajjukira engeri okusemberera Yakuwa gye kwali okulungi gye ndi. Nnawandiikira ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa era ne bansindikira omuntu okunkyalira. Bansindikira omuminsani ayitibwa Nani eyajjiranga ku kapikipiki okunsomesa Bayibuli.

Enguudo ez’ettaka ez’omu kitundu kyaffe zaali ziseerera, era enkuba bwe yatonnyanga zaabangamu ebisooto. Emirundi mingi kapikipiki ka Nani kaamukubanga ebigwo ng’ajja okusoma nange, naye teyalekulira. Ekiseera kyatuuka n’aŋŋamba nti yali ayagala kuntwalanga mu nkuŋŋaana. Ekyo kyali kitegeeza nti nnalina okutandika okuvanga mu nnyumba n’okugumira eky’abantu okuntunuulira ng’ekyerolerwa. Okugatta ku ekyo, okugenderanga ku kapikipiki ka Nani mu nkuŋŋaana kyandibadde kyongera ku buzito bwe keetikkanga, kyokka ng’ate ne bwe yabanga akatuddeko bw’omu kaabanga kazibu okuvuga. Wadde kyali kityo, nnakiriza okugendanga naye oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku kitundu eky’okubiri eky’ekyawandiikibwa kyange kye njagala ennyo. Kigamba nti: “Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange.”

Oluusi nze ne Nani twagwanga mu bisooto, naye olw’okuba twali twagala nnyo enkuŋŋaana ekyo tetwakifangako. Nga waaliwo enjawulo ya maanyi wakati w’abantu be twasanganga mu Kizimbe ky’Obwakabaka abaatusanyukiranga, n’abo be twayitangako mu kkubo nga batutunuulira ng’ekyerolerwa! Oluvannyuma lw’emyezi mwenda nnabatizibwa.

Ekitundu eky’okusatu eky’ekyawandiikibwa kye njagala ennyo kigamba nti: “Ndyoke njogere ku bikolwa byo byonna.” Nnali nkimanyi nti nnandyolekaganye n’okusoomooza kungi nga mbuulira. Ku mulundi gwe nnasooka okubuulira nnyumba ku nnyumba, abaana n’abantu abakulu bantunuulira nnyo, bangoberera, era ne bageegeenya n’engeri gye nnali ntambulamu. Ekyo kyampisa bubi nnyo, naye saalekulira kubanga nnali nkimanyi nti abantu abo baali beetaaga nnyo ensi empya nga nange bwe njeetaaga.

Okusobola okukendeeza ku buzibu bwe nnali njolekagana nabwo mu kubuulira, nnafuna akagaali ak’emipiira esatu. Oyo gwe nnabanga nkoze naye yansindikangako, era bwe twatuukanga ku kaserengeto ng’abuukira akagaali nga tugenda. Omulimu gw’okubuulira mu kusooka ogwansoomooza kati gwali gundeetera essanyu eritagambika. Bwe kityo mu 1998 nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo.

Nnayigiriza abantu bangi Bayibuli, era bana ku bo baabatizibwa. Ekintu ekirala ekyandeetera essanyu kye ky’okuba nti omu ku baganda bange naye yakkiriza amazima! Okumanya ku ngeri abalala gye baali bakulaakulanamu nakyo kyanzizangamu nnyo amaanyi. Lumu bwe nnali omulwadde, nnafuna ebbaluwa okuva mu Côte d’Ivoire. Waliwo omuvubuka eyali asoma ku yunivasite mu Burkina Faso gwe nnatandika okuyigiriza Bayibuli ku mulundi ogusooka era oluvannyuma ne mmukwasa ow’oluganda omu. Oluvannyuma omuvubuka oyo yagenda mu Côte d’Ivoire. Nga kyandeetera essanyu lingi okukimanya nti yali afuuse omubuulizi atali mubatize!

Kati nneeyimirizaawo ntya? Ekibiina ekimu ekiyamba abantu abaliko obulemu kyasalawo okunjigiriza okutunga. Omu ku basomesa yeetegereza engeri gye nnali nkolamu emirimu gyange n’agamba nti: “Ka tukuyigirize okukola ssabbuuni.” Bwe batyo, banjigiriza okukola ssabbuuni. Kati nkola ssabbuuni era mmukolera waka. Abantu baagala nnyo ssabbuuni wange era bakubiriza n’abalala okumugula. Ssabbuuni oyo mmutuusa ku bantu nga nkozesa kapikipiki kange ak’emipiira esatu.

Eky’ennaku kiri nti, mu 2004 obulumi obwali buva ku nkizi bweyongera nnyo ne kiba nti nnakiraba nti kyali kinneetaagisa okulekera awo okuweereza nga payoniya. Wadde kiri kityo, nkyeyongera okubuulira n’obunyiikivu.

Abantu bangi bammanyi ng’omuntu omusanyufu. Ndi musanyufu nnyo kubanga okusemberera Katonda kirungi gye ndi.—Byayogerwa Sarah Maiga.