Okuva 38:1-31

  • Ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa (1-7)

  • Ebbenseni ey’ekikomo (8)

  • Oluggya (9-20)

  • Olukalala lw’ebintu bya weema entukuvu (21-31)

38  Yakola ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa mu mbaawo z’omuti gwa sita. Enjuyi zaakyo ennya zaali zenkanankana; obuwanvu kyali emikono* etaano, obugazi emikono etaano, ate obugulumivu emikono esatu.+  Oluvannyuma yakola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya. Amayembe gaakyo gaali ga muti gumu nakyo, era yakibikkako ekikomo.+  Bwe yamala, n’akola ebintu byonna eby’ekyoto: obulobo, ebitiiyo, ebbakuli, amakabi n’eby’okuyooleramu olunyata. Ebintu byakyo byonna yabikola mu kikomo.  Ate era ekyoto yakikolera ekitindiro eky’ekikomo; kyali mu makkati g’ekyoto wansi w’omugo gwakyo.  Awo n’akola empeta nnya ku nsonda ennya okumpi n’ekitindiro eky’ekikomo, nga za kuwaniriranga emisituliro.  Oluvannyuma yakola emisituliro mu mbaawo z’omuti gwa sita n’agibikkako ekikomo.  Yateeka emisituliro mu mpeta ezaali ku njuyi z’ekyoto, nga gya kusituzanga ekyoto. Ekyoto yakikola ng’essanduuko ey’embaawo etalina ntobo na kisaanikira.  Ate era yakola ebbenseni+ n’ekintu kw’etuula nga bya kikomo; yakozesa endabirwamu* z’abakazi abaali bategekeddwa okuweereza ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.  Awo n’akola oluggya.+ Oluuyi olw’ebukiikaddyo olw’oluggya, yalukolera entimbe mu wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, era obuwanvu bwazo bwali emikono 100.+ 10  Empagi zaali 20 n’obutoffaali obw’ekikomo obulimu ebituli bwali 20. Amalobo g’empagi n’ebiyunga* byazo byali bya ffeeza. 11  Entimbe ez’oku luuyi olw’ebukiikakkono zaali emikono 100. Empagi zaazo 20 n’obutoffaali bwazo 20 obulimu ebituli byali bya kikomo. Amalobo g’empagi n’ebiyunga* byazo byali bya ffeeza. 12  Naye ku luuyi olw’ebugwanjuba entimbe zaali emikono 50 obugazi. Empagi zaali kkumi n’obutoffaali obulimu ebituli bwali kkumi. Amalobo g’empagi n’ebiyunga* byazo byali bya ffeeza. 13  Obugazi bw’entimbe ez’oku luuyi olw’ebuvanjuba bwali emikono 50. 14  Entimbe ez’oku luuyi olwa ddyo olw’omulyango zaali emikono 15, n’empagi ssatu, n’obutoffaali obulimu ebituli busatu. 15  Ate entimbe ez’oku luuyi olwa kkono olw’omulyango zaali emikono 15 obuwanvu, n’empagi ssatu, n’obutoffaali obulimu ebituli busatu. 16  Entimbe zonna okwetooloola oluggya zaakolebwa mu wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa. 17  Obutoffaali bw’empagi obulimu ebituli bwali bwa kikomo. Amalobo g’empagi n’ebiyunga* byazo byali bya ffeeza; emitwe gy’empagi gyali gibikkiddwako ffeeza, era empagi zonna ez’oluggya+ zaalina ebiyunga ebya ffeeza. 18  Olutimbe lw’omu mulyango gw’oluggya lwali lulukiddwa mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa. Lwali emikono 20 obuwanvu, ate obugulumivu lwali emikono 5, nga lwenkana n’entimbe z’oluggya+ obugulumivu. 19  Empagi zaalwo ennya n’obutoffaali bwazo obuna obulimu ebituli byali bya kikomo. Amalobo gaazo n’ebiyunga* byali bya ffeeza, era emitwe gyazo gyali gibikkiddwako ffeeza. 20  Enninga za weema entukuvu zonna n’ez’oluggya zaali za kikomo.+ 21  Bino ebiddirira lwe lukalala lw’ebintu ebyakozesebwa okuzimba weema entukuvu, weema entukuvu ey’Obujulirwa,+ Musa lwe yalagira lukolebwe, era nga bwali buvunaanyizibwa bw’Abaleevi+ nga bagoberera obulagirizi bwa Isamaali+ mutabani wa Alooni kabona. 22  Bezaleeri+ mutabani wa Wuli, mutabani wa Kuli ow’omu kika kya Yuda yakola byonna Yakuwa bye yalagira Musa. 23  Yali wamu ne Okoliyaabu+ mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, eyali omukugu mu by’emikono, omutunzi w’amasiira, era omulusi akozesa wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani. 24  Zzaabu yenna eyakozesebwa ku mulimu gwonna ogw’ekifo ekitukuvu yali yenkana zzaabu eyaweebwayo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa,+ nga ze ttalanta* 29 ne sekeri* 730, okusinziira ku sekeri ey’omu kifo ekitukuvu.* 25  Era ffeeza eyaweebwayo ab’omu kibiina abaawandiikibwa yali ttalanta 100 ne sekeri 1,775 okusinziira ku sekeri ey’omu kifo ekitukuvu.* 26  Abasajja abaawandiikibwa, okuva ku b’emyaka abiri n’okudda waggulu+ baali 603,550.+ Buli omu yaleeta kitundu kimu kya kubiri ekya sekeri, okusinziira ku sekeri ey’omu kifo ekitukuvu.* 27  Ttalanta 100 eza ffeeza ze zaakozesebwa okukola obutoffaali obulimu ebituli obw’ekifo ekitukuvu n’obw’olutimbe. Obutoffaali 100 bwali ttalanta 100, buli katoffaali ttalanta emu.+ 28  Mu sekeri 1,775 yakolamu amalobo g’empagi, n’abikka ku mitwe gyazo era n’azigatta wamu. 29  Ekikomo eky’ekiweebwayo* kyali ttalanta 70 ne sekeri 2,400. 30  Mu kikomo kino mwe yakola obutoffaali obulimu ebituli obw’omulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu, n’ekyoto eky’ekikomo, n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, n’ebintu byonna eby’ekyoto, 31  n’obutoffaali bw’oluggya lwonna, n’obutoffaali bw’omulyango gw’oluggya, n’enninga zonna eza weema entukuvu, n’enninga zonna+ ez’oluggya.

Obugambo Obuli Wansi

Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5). Laba Ebyong. B14.
Zino zaali ndabirwamu ezaakolebwa mu kikomo ekizigule ennyo.
Oba, “empeta” ez’okuyungisa.
Oba, “empeta” ez’okuyungisa.
Oba, “empeta” ez’okuyungisa.
Oba, “empeta” ez’okuyungisa.
Oba, “empeta” ez’okuyungisa.
Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
Oba, “sekeri entukuvu.”
Oba, “sekeri entukuvu.”
Oba, “sekeri entukuvu.”
Oba, “eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa.”