Okuva 28:1-43

  • Ebyambalo bya bakabona (1-5)

  • Efodi (6-14)

  • Eky’omu kifuba (15-30)

    • Ulimu ne Sumimu (30)

  • Ekizibaawo ekitaliiko mikono (31-35)

  • Ekiremba n’akabaati aka zzaabu (36-39)

  • Ebyambalo bya bakabona ebirala (40-43)

28  “Mu Bayisirayiri, muganda wo Alooni ne batabani be b’oba oyita bampeereze nga bakabona+—Alooni+ ne batabani be+ Nadabu, Abiku,+ Eriyazaali, ne Isamaali.+  Ojja kukolera muganda wo Alooni ebyambalo ebitukuvu ebinaamuweesanga ekitiibwa n’okumulabisa obulungi.+  Era ojja kugamba abakugu* bonna, abo be mpadde omwoyo ogw’amagezi,+ bakolere Alooni ebyambalo okulaga nti atukuziddwa okumpeereza nga kabona.  “Bino bye byambalo bye banaakola: eky’omu kifuba,+ efodi,+ ekizibaawo ekitaliiko mikono,+ ekkanzu ey’ebyeso, ekiremba,+ n’eky’okwesiba mu kiwato.+ Ebyambalo bino ebitukuvu bajja kubikolera Alooni muganda wo ne batabani be, bampeereze nga bakabona.  Abakozi abakugu bajja kukozesa wuzi eza zzaabu, wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani.  “Bajja kukola efodi mu wuzi eza zzaabu, wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, era ya kutungibwako amasiira.+  Ejja kubeerako eby’oku bibegaabega bibiri ebigatta enjuyi zaayo zombi.  Omusipi omuluke*+ ogw’oku efodi ogw’okugisibisa gujja kukolebwa mu bintu bino bye bimu: wuzi eza zzaabu, wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa.  “Ojja kufuna amayinja abiri aga sokamu+ ogooleko amannya g’abaana ba Isirayiri.+ 10  Amannya mukaaga gajja kuba ku jjinja erimu, n’amalala omukaaga gabe ku jjinja eddala, nga gooleddwako nga bwe baddiriŋŋana mu kuzaalibwa kwabwe. 11  Omuntu akola omulimu gw’okwola ku mayinja ajja kwola amannya g’abaana ba Isirayiri ku mayinja ago abiri nga bwe bayola akabonero ku kintu.*+ Oluvannyuma ajja kugawanga mu bufuleemu obwa zzaabu. 12  Amayinja ago abiri ojja kugateeka ku by’oku bibegaabega ebya efodi gabe amayinja ag’ekijjukizo eri abaana ba Isirayiri,+ era Alooni anaasitulanga amannya gaabwe ku bibegaabega bye mu maaso ga Yakuwa ng’ekijjukizo. 13  Ojja kukola bufuleemu obwa zzaabu, 14  n’obujegere bubiri obwa zzaabu omulongoofu obulangiddwa ng’omuyondo,+ era obujegere obwo obulangiddwa ojja kubuyunga ku bufuleemu.+ 15  “Ojja kufuna omulusi akole eky’omu kifuba eky’okulamuzisa.+ Kijja kukolebwa mu ngeri y’emu nga efodi. Kijja kukolebwa mu wuzi eza zzaabu, wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa.+ 16  Kijja kuba nga bwe kizingibwamu kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya, ng’obuwanvu bwakyo buli oluta lw’engalo lumu,* n’obugazi bwakyo oluta lw’engalo lumu. 17  Ojja kukiteekako amayinja amawange nga gali mu nnyiriri nnya. Olunyiriri olusooka lujja kubaako yodemu, topazi, ne zumaliidi. 18  Olunyiriri olw’okubiri lujja kubaako nofeki, safiro, ne yasepi. 19  Olunyiriri olw’okusatu lujja kubaako lesemi, sevo, ne amesusito. 20  Olunyiriri olw’okuna lujja kubaako kirisoliti, sokamu, ne yasipero. Amayinja ago gajja kuteekebwa mu bufuleemu obwa zzaabu. 21  Amayinja gajja kuba 12 ng’amannya g’abaana ba Isirayiri bwe gali. Buli jjinja lijja kwolebwako nga bwe bayola akabonero ku kintu,* nga buli linnya likiikirira ekimu ku bika 12. 22  “Ojja kuteeka ku ky’omu kifuba obujegere obwa zzaabu omulongoofu obulangiddwa ng’omuyondo.+ 23  Eky’omu kifuba ojja kukikolera empeta bbiri eza zzaabu oziteeke ku nsonda zaakyo ebbiri. 24  Ojja kuyisa obuyondo obubiri obwa zzaabu mu mpeta ezo ebbiri eziri ku nsonda z’eky’omu kifuba. 25  Obusongezo bw’obuyondo obubiri ojja kubuyisa mu bufuleemu obubiri obuli ku by’oku bibegaabega bya efodi ku luuyi lwayo olw’omu maaso. 26  Era ojja kukola empeta bbiri eza zzaabu oziteeke ku nsonda ebbiri ku ludda olw’omunda olw’eky’omu kifuba olutunuuliganye ne efodi.+ 27  Ojja kukola empeta endala bbiri eza zzaabu oziteeke mu maaso ga efodi, wansi w’eby’oku bibegaabega ebibiri, okumpi ne we yeegattira, waggulu w’omusipi ogwa efodi+ omuluke.* 28  Akaguwa aka bbulu kajja kuyisibwa mu mpeta z’eky’omu kifuba ne mu mpeta za efodi, kasibe eky’omu kifuba. Kino kijja kusobozesa eky’omu kifuba okubeera mu kifo kyakyo ku efodi, waggulu w’omusipi omuluke.* 29  “Alooni anaasituliranga amannya g’abaana ba Isirayiri ku ky’omu kifuba eky’okulamuzisa ekiri ku kifuba kye, kibeerenga ekijjukizo mu maaso ga Yakuwa bw’anaayingiranga Awatukuvu. 30  Ojja kussa Ulimu ne Sumimu*+ mu ky’omu kifuba eky’okulamuzisa, era bijja kubeeranga ku kifuba kya Alooni bw’anajjanga mu maaso ga Yakuwa; ebintu bino eby’okukozesanga mu kulamula Abayisirayiri Alooni ajja kubisituliranga ku kifuba kye mu maaso ga Yakuwa bulijjo. 31  “Ojja kukola ekizibaawo ekitaliiko mikono ekyambalirwa munda mu efodi nga kyonna kya wuzi za bbulu.+ 32  Kijja kubaako awayita omutwe. Awayita omutwe wajja kubaako olukugiro olulukiddwa omulusi w’engoye. Wajja kuba nga wafaananako aw’ekyambalo eky’olutalo, waleme okuyulika. 33  Wansi ku ddinda lyakyo lyonna ojja kuteekako enkomamawanga ezikoleddwa mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, ne wuzi emmyufu, era ojja kuteeka obude obwa zzaabu wakati w’enkomamawanga. 34  Ku ddinda ly’ekizibaawo ekitaliiko mikono ojja kuteekako akade aka zzaabu n’enkomamawanga, akade aka zzaabu n’enkomamawanga, ng’ogenda obiddiriŋŋanya bw’otyo ku ddinda lyonna. 35  Alooni ajja kukyambalanga asobole okuweereza; obude bujja kuwulirwanga nga buvuga bw’anaabanga ayingira mu kifo ekitukuvu mu maaso ga Yakuwa era ne bw’anaabanga afuluma, aleme okufa.+ 36  “Ojja kukola akabaati akamasamasa aka zzaabu omulongoofu oyoleko ebigambo bino: ‘Obutukuvu bwa Yakuwa.’+ Ojja kukayolako nga bwe bayola akabonero ku kintu.* 37  Ojja kukasiba ku kiremba+ ng’okozesa akaguwa aka bbulu, era kajja kubeeranga ku luuyi olw’omu maaso olw’ekiremba. 38  Kajja kubeeranga ku kyenyi kya Alooni, era Alooni ajja kuvunaanibwanga bwe wanaabangawo atakutte bulungi bintu bitukuvu,+ Abayisirayiri bye batukuza nga babiwaayo ng’ebirabo ebitukuvu eri Katonda. Kajja kubeeranga ku kyenyi kye basobole okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. 39  “Ojja kuluka ekkanzu ey’ebyeso mu wuzi ennungi eza kitaani, era ojja kukola ekiremba mu kitaani omulungi, n’eky’okwesiba mu kiwato+ nga kirukiddwa bulukibwa. 40  “Batabani ba Alooni ojja kubakolera amakanzu n’eby’okwesiba mu kiwato, era n’eby’okwesiba ku mutwe,+ okubaweesa ekitiibwa n’okubalabisa obulungi.+ 41  Ojja kubyambaza Alooni muganda wo ne batabani be, era ojja kubafukako amafuta+ obatongoze*+ era obatukuze bampeereze nga bakabona. 42  Era ojja kubakolera empale ennyimpi* eza kitaani omulungi babikke ku bwereere bwabwe.+ Zijja kuba nga ziva mu kiwato okutuuka mu bisambi. 43  Alooni ne batabani be bajja kuzambalanga nga bazze mu weema ey’okusisinkaniramu, oba nga bagenda okumpi n’ekyoto okuweereza mu kifo ekitukuvu, baleme okubaako omusango ne bafa. Eryo tteeka lya lubeerera eriweereddwa Alooni n’ezzadde lye eririddawo.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ab’omutima ogw’amagezi.”
Oba, “Ekyesibwa mu kiwato.”
Mu biseera eby’edda obubonero bwayolwanga ku mpeta, ku mayinja, ne ku bintu ebirala okukiikirira omuntu oba okulaga obuyinza bwe, era bwakozesebwanga okukuba sitampu ku biwandiiko ne ku bintu ebirala.
Sentimita nga 22.2 (inci 8.75). Laba Ebyong. B14.
Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 28:11.
Oba, “ekyesibwa mu kiwato.”
Oba, “ekyesibwa mu kiwato.”
Laba Awanny.
Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 28:11.
Obut., “ojjuze omukono gwabwe.”
Oba, “ebyambalo eby’omunda.”