Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Surasak Suwanmake/Moment via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Ebbugumu Eryeyongedde Ennyo mu Nsi Yonna mu 2023—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Ebbugumu Eryeyongedde Ennyo mu Nsi Yonna mu 2023—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Ebbugumu lyeyongedde nnyo mu nsi ku kigero ekitabangawo, ekiviiriddeko n’embeera y’obudde okweyongera okwonooneka. Weetegereze lipoota zino:

  •   “Omwezi gwa Jjuuni 2023 gwe mwezi ogukyasinze okubaamu ebbugumu eringi ennyo, bukya abantu batandika okuwandiika ebikwata ku mbeera y’obudde mu myaka 174 egiyise.”—National Oceanic and Atmospheric Administration, U.S. Department of Commerce, Jjulaayi 13, 2023.

  •   “Yitale, Sipeyini, Bufalansa, Bugirimaani ne Poland, zonna zirimu ebbugumu lingi nnyo era lisuubirwa n’okutuuka ku ddigiri 48°C [118°F] ku kizinga Sicily ne Sardinia. Wabadde tewabangawo bbugumu lingi bwe lityo mu Bulaaya.”—European Space Agency, Jjulaayi 13, 2023.

  •   “Ng’ebbugumu bwe lyeyongera obungi, kisuubirwa nti n’enkuba ejja kweyongera nnyo, kiviireko n’amataba okweyongera.”—By’ayogerwa Stefan Uhlenbrook, akulira abo abeekenneenya entambula n’obungi bw’amazzi mu World Meteorological Organization, Jjulaayi 17, 2023.

 Lipoota ng’ezo ezikwata ku mbeera y’obudde okweyongera okwonooneka zikweraliikiriza? Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eno enkulu.

Enkyukakyuka mu mbeera y’obudde etuukiriza obunnabbi bwa Bayibuli?

 Yee. Ebbugumu eringi ennyo eririwo mu nsi n’enkyukakyuka endala eziriwo mu mbeera y’obudde, bikwatagana n’ebyo Bayibuli bye yayogera ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti wandibaddewo “ebintu ebitiisa.” (Lukka 21:11) Olw’ebbugumu eryeyongedde ennyo mu nsi, bangi beeraliikirivu nti ensi eyinza okusaanawo.

Ekiseera kinaatuuka ensi ebe nga tekyabeerekako?

 Nedda. Katonda yatonda ensi ng’ayagala abantu bagibeereko ebbanga lyonna. Tajja kukkiriza bantu kugisaanyaawo. (Zabbuli 115:16; Omubuulizi 1:4) Mu butuufu, asuubiza “okuzikiriza abo aboonoona ensi.”—Okubikkulirwa 11:18.

 Bayibuli eraga nti Katonda ajja kukuuma ensi ereme kwonoonebwa olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde.

  •   “[Katonda] akkakkanya omuyaga; amayengo g’ennyanja ne gateeka.” (Zabbuli 107:29) Katonda alina obuyinza ku maanyi g’obutonde. Asobola okutereeza ensi era n’aggyawo ebizibu abantu bye bafuna olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde.

  •   “Olabirira ensi, ogisobozesa okubala ennyo era n’okubaamu eby’obugagga bingi nnyo.” (Zabbuli 65:9) Katonda asuubiza nti ensi yonna ejja kulongoosebwa efuuke ekifo ekirabika obulungi ennyo.

 Okumanya ebisingawo ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri Katonda gy’anaatereezaamu embeera y’obudde, soma ekitundu ekirina omutwe, Who Will Save the Earth?