Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBISOBOLA OKUYAMBA ABO ABAFIIRIDDWA ABANTU BAABWE

Obuyambi Obusingayo Obulungi eri Abo Abafiiriddwa

Obuyambi Obusingayo Obulungi eri Abo Abafiiriddwa

ABANTU BANGI LEERO BANOONYEREZZA KU BULUMI OMUNTU BW’AFUNA NG’AFIIRIDDWA. Naye nga bwe tulabye, amagezi agasingayo obulungi abanoonyereza ge bawa ku nsonga eno gakwatagana n’amagezi agasangibwa mu Bayibuli. Ekyo kiraga nti amagezi agali mu Bayibuli gatuyamba ne leero. Ng’oggyeeko okuba nti amagezi Bayibuli g’ewa geesigika, erimu ebintu bye tutasobola kusanga walala wonna ebisobola okubudaabuda ennyo abo abafiiriddwako abantu baabwe.

  • Etukakasa nti abantu baffe abaafa tebabonaabona

    Mu Omubuulizi 9:5, Bayibuli egamba nti: “Abafu tebaliiko kye bamanyi.” Era egamba nti omuntu bw’afa ‘ebirowoozo bye bisaanawo.’ (Zabbuli 146:4) Bayibuli era egeraageranya okufa ku kwebaka.—Yokaana 11:11.

  • Okukkiririza mu Katonda waffe atwagala ennyo kitubudaabuda

    Mu Zabbuli 34:15, Bayibuli egamba nti: “Amaaso ga Yakuwa a gali ku batuukirivu, n’amatu ge gabawuliriza bwe bamukoowoola abayambe.” Ng’oggyeeko okuba nti okusaba kutuyamba okubudaabudibwa n’okukkakkanya ebirowoozo byaffe, era kutuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi waffe, asobola okukozesa amaanyi ge okutubudaabuda.

  • Ebiseera eby’omu maaso ebirungi

    Enfunda n’enfunda Bayibuli etugamba nti mu kiseera eky’omu maaso abantu baffe abaafa bajja kuddamu babe balamu. Ng’eyogera ku ngeri obulamu gye buliba ku nsi mu kiseera ekyo, Bayibuli egamba nti Katonda “alisangula buli zziga mu maaso [gaffe], era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Bangi ku abo abakkiririza mu Yakuwa, Katonda ayawandiisa Bayibuli, babudaabudibwa nnyo ne basobola okugumira ennaku gye bafuna olw’okufiirwa abantu baabwe. Balina essuubi nti bajja kuddamu okulaba abantu baabwe abaafa. Ng’ekyokulabirako, Ann, eyafiirwa omwami we gwe yali amaze naye emyaka 65, agamba nti: “Bayibuli ekiraga bulungi nti abantu baffe abaafa tebabonaabona era nti Katonda ajja ­kubazuukiza. Ebintu ebyo mbirowoozaako buli lwe nzijukira omwami wange eyafa, era ekyo kinnyamba okwaŋŋanga ennaku eyo gye nkyasinzeeyo okufuna!”

Tiina, eyayogeddwako mu magazini eno, agamba nti: “Okuva Timo lwe yafa, ndabye engeri Katonda gy’annyambyemu. Ndabye omukono gwa Yakuwa mu mbeera eno enzibu eyantuukako. Era essuubi Bayibuli ly’ewa ery’okuzuukira lya ddala gye ndi. Essuubi eryo linnyamba okugumiikiriza okutuusa lwe ndiddamu okulaba Timo.”

Ebigambo ebyo biraga endowooza abantu bukadde na bukadde abakkiririza mu Bayibuli gye balina. Ne bwe kiba nti olowooza nti ebyo Bayibuli by’eyogera si bituufu oba nti tebisoboka, osaanidde okunoonyereza olabe obanga ddala amagezi agali mu Bayibuli ga muganyulo era nti by’esuubiza byesigika. Bw’okola bw’otyo, ojja kukiraba nti amagezi agali mu Bayibuli ge gasingayo okuyamba abo abafiiriddwa abantu baabwe.

MANYA EBISINGAWO EBIKWATA KU SSUUBI ERY’OKUZUUKIRA

Laba vidiyo ezikwata ku nsonga eyo eziri ku mukutu gwaffe ogwa, jw.org

Bayibuli eyogera ku kiseera lwe tulyaniriza abantu baffe abaafa

ABAFU BALI MU MBEERA KI?

Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde? Bayibuli ky’egamba kitegeerekeka bulungi, kibudaabuda, era kizzaamu amaanyi

Genda wansi wa EBITABO > VIDIYO (Vidiyo: Bayibuli)

WANDYAGADDE OKUFUNA AMAWULIRE AMALUNGI?

Mu kiseera kino ng’amawulire agasinga obungi mabi, wa we tuyinza okufuna amawulire amalungi? Vidiyo eno eyanjula akatabo Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!

Genda wansi wa EBITABO > VIDIYO (Vidiyo: Enkuŋŋaana Zaffe n’Omulimu gw’Okubuulira)

a Bayibuli egamba nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa.