Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | ABAVUBUKA

Muzadde Wo bw’Afa

Muzadde Wo bw’Afa

OKUSOOMOOZA

Dami yalina emyaka mukaaga taata we we yafiira oluvannyuma lw’okwabika omusuwa. Derrick yalina emyaka mwenda taata we we yafiira obulwadde bw’omutima. Jeannie yalina emyaka musanvu maama we we yafiira oluvannyuma lwa kookolo okumulumira omwaka gumu. *

Dami, Derrick, ne Jeannie baafiirwa bazadde baabwe nga bakyali bato. Naawe watuukibwako embeera ng’eyo? Bwe kiba kityo, ekitundu kino kijja kukuyamba nnyo. * Kati ka tusooke tulabe engeri abantu gye bakwatibwako nga bafiiriddwa abantu baabwe.

BY’OLINA OKUMANYA

Abantu bakungubaga mu ngeri za njawulo. Engeri gy’okungubagamu eyinza okwawukana ku ngeri abalala gye bakungubagamu. Ekitabo ekiyitibwa Helping Teens Cope With Death kigamba nti: “Abantu bwe bafiirwa, tebakungubaga mu ngeri y’emu.” N’olwekyo, ekikulu kwe kwewala okwegumya ekisukkiridde ng’ogezaako okubikkirira ennaku gy’olina ku mutima. Lwaki? Kubanga . . .

Okwefuula ng’atalina nnaku ku mutima kya kabi. Jeannie, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Olw’okuba nnali njagala okugumya muganda wange omuto, nnalowooza nti nnali sirina kwoleka nnaku eyandi ku mutima. Ekyo oluusi ntera okukikola, naye si kirungi.”

Ekyo abakugu nabo bakiwaako obukakafu. Ekitabo ekiyitibwa The Grieving Teen kigamba nti: “Tosobola kukweka nnaku gy’olina ku mutima bbanga lyonna. Bw’ogezaako okugikweka, oluvannyuma lw’ekiseera kiyinza okukuviirako okunyiiganyiiga oba okulwala.” Omuntu akweka ennaku eba emuli ku mutima ayinza okwesanga ng’atandise okwekamirira omwenge oba okukozesa ebiragalalagala, asobole okwerabira ennaku eyo.

Omuntu akungubaga asobola okufuna ebirowoozo ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu bwe bafiirwa bayinza okunyiigira oyo aba afudde nga bakitwala nti abaabulidde. Abalala bayinza okunyiigira Katonda, nga bagamba nti yandibadde taleka muntu waabwe kufa. Abalala bayinza okwesalira omusango olw’ebintu ebitali birungi bye baakola oba bye baagamba omuntu eyafa bwe yali nga tannafa, kubanga kati baba tebakyalina ngeri gye bayinza kwogera naye kutereeza nsonga.

Biki ebiyinza okukuyamba ng’olina ennaku ey’amaanyi ku mutima?

EBIYINZA OKUKUYAMBA

Yogerako n’omuntu omulala. Bw’oba olina ennaku ey’amaanyi ku mutima oyinza okulowooza ku ky’okweyawula ku balala. Naye bw’oyogerako n’omu ku b’eŋŋanda zo oba mikwano gyo ku ngeri gy’owuliramu, kisobola okukuyamba obutanakuwala kisukkiridde.—Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 18:24.

Baako by’owandiika. Baako ebintu by’owandiika ebikwata ku muzadde wo eyafa. Ng’ekyokulabirako, bintu ki ebikuleetera essanyu by’omujjukirako? Ngeri ki ennungi ze yalina. Ngeri ki ku ezo ze wandyagadde okwoleka mu bulamu bwo?

Bwe kiba nti omutima gukulumiriza, oboolyawo olw’ebigambo ebitali birungi bye wagamba muzadde wo nga tannafa, baako w’owandiika engeri gy’owuliramu n’ensonga lwaki owulira bw’otyo. Ng’ekyokulabirako oyinza okuwandiika nti, “Omutima gunnumiriza olw’okuba nnayomba ne taata wange nga tannafa.”

Oluvannyuma fumiitiriza olabe obanga ddala ensonga eyo gy’owandiise esaanidde okukuleetera okulumizibwa mu mutima. Ekitabo ekiyitibwa The Grieving Teen kigamba nti: “Tekiba kituufu kwesalira musango olw’obutamanya nti tojja kusobola kufuna kakisa kwetondera muntu gw’oba okoze ekintu ekibi. Kiba kikyamu okulowooza nti omuntu asobola okwewalira ddala okwogera oba okukola ekintu ekiyinza okumwetaagisa okwetonda oluvannyuma.”—Amagezi okuva mu Bayibuli: Yobu 10:1.

Weefeeko. Wummulanga ekimala, kolanga dduyiro, era fuba okulya obulungi. Bw’oba owulira nga toyagala kulya, baako obuntu obutonotono obw’omugaso eri omubiri bw’olya buli luvannyuma lw’ekiseera mu kifo ky’okulya emmere ennyingi omulundi ogumu. Kola bw’otyo okutuusa lw’onoddamu okwagala okulya. Weewala okulowooza nti okulya obumpwankimpwanki oba okunywa omwenge binaakuyamba okwaŋŋanga ennaku gy’olina. Mu butuufu ekyo kiyinza kwongera bwongezi kwonoona mbeera.

Saba Katonda omutegeeze ebikuli ku mutima. Bayibuli egamba nti: “Omugugu gwo gutikke Yakuwa, era naye anaakuwaniriranga.” (Zabbuli 55:22) Okusaba tosaanidde kukutwala ng’ekintu ekikuleetera obuleetezi okuwulira obulungi. Wabula osaanidde okukijjukira nti bw’osaba oba oyogera ne Katonda “atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.”—2 Abakkolinso 1:3, 4.

Katonda akozesa Ekigambo kye Bayibuli okubudaabuda abo abalina ennaku ku mutima. Fuba okumanya Bayibuli ky’eyogera ku mbeera y’abafu n’ekyo ky’eyogera ku ssuubi ery’okuzuukira. *Amagezi okuva mu Bayibuli: Zabbuli 94:19.

^ lup. 4 Osobola okusoma ebikwata ku Dami, Derrick, ne Jeannie mu kitundu ekiddako.

^ lup. 5 Wadde ng’ekitundu kino kikwata ku abo ababa bafiiriddwa bazadde baabwe, amagezi agalimu gasobola n’okuyamba abo ababa bafiiriddwa ab’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe.

^ lup. 19 Laba essuula 16 ey’akatabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 1. Osobola okukawanula ku www.isa4310.com ku bwereere. Genda wansi wa PUBLICATIONS.