Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIFA MU NSI

Ebikwata ku Nkolagana

Ebikwata ku Nkolagana

Bw’oba onoonya amagezi agakwata ku ngeri y’okukolaganamu n’abalala, Bayibuli gy’osooka okulowoozaako oba ogirowoozaako luvannyuma nnyo? Geraageranya amagezi agali mu Bayibuli n’ebyo ebizuuliddwa ennaku zino.

Buyindi

Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu 2014, abavubuka 61 ku buli kikumi abali wakati w’emyaka 18-25 balowooza nti okwegatta n’omuntu nga temuli bafumbo “tekikyatwalibwa ng’ekikulu mu Buyindi.” Omusawo omu ow’omu Mumbai yagamba abawandiisi b’olupapula lw’amawulire oluyitibwa Hindustan Times nti okusinziira ku ngeri gy’alabamu ebintu, “abavubuka bwe batandika ebikolwa eby’omukwano, tekitegeeza nti balina ekiruubirirwa eky’okufumbiriganwa. Ka babe nga baagalanyeeko ekiro kimu, oba nga ba mukwano bukwano, oba nga babeera bombi, tebeetaaga kuba na kiruubirirwa kya buli omu okunywerera ku munne.”

EKY’OKULOWOOZAAKO: Endwadde ez’obukaba n’okumenyeka omutima bitera kubeera mu abo abeegatta nga tebannafumbiriganwa oba mu abo abeegatta nga bamaze okufumbiriganwa?1 Abakkolinso 6:18.

Denmark

Omuntu okuyombayomba n’ab’omu maka ge buli kiseera kiyinza okumuviirako okufa amangu. Abakugu mu yunivasite y’e Copenhagen baanoonyereza ku bantu nga 10,000 abali wakati w’emyaka 35 ne 50 okumala ebbanga lya myaka 11 ne bakizuula nti mu bantu abo, abo abaali bayombayomba n’ab’omu maka gaabwe baali boolekedde okufa amangu okusinga abo abaali batatera kuyomba. Omu ku abo abaakola okunoonyereza okwo yagamba nti engeri emu abantu gye bayinza okwewala okufa amangu kwe kumanya engeri gye bayinza okwaŋŋangamu ebibeeraliikiriza n’ebizibu ebirala.

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Omuntu ow’amagezi yeefuga mu by’ayogera, n’omutegeevu asigala mukkakkamu.”Engero 17:27.

Amerika

Okunoonyereza okwakolebwa mu Louisiana gye buvuddeko awo ku bantu 564 abaafumbiriganwa emyaka mitono emabega, kwalaga nti abantu abeekyawa ate omukwano gwabwe ne guddamu nga boogerezeganya, batera okwagala okwawukana mu myaka etaano egisooka oluvannyuma lw’okufumbiriganwa. Batera okuba n’obukuubagano era tebatera kuba basanyufu mu bufumbo bwabwe.

BAYIBULI EGAMBA: “Katonda ky’agasse awamu [mu bufumbo], omuntu yenna takyawulangamu.”Matayo 19:6.