Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ddala Kisoboka Okutegeera Katonda?

Ddala Kisoboka Okutegeera Katonda?

“Tekisoboka kutegeera Katonda.”—Byayogerwa Philo ow’e Alexandria, omufirosoofo eyaliwo mu kyasa ekyasooka.

“[Katonda] tali wala wa buli omu ku ffe.”—Byayogerwa Sawulo ow’e Taluso mu kyasa ekyasooka, ng’ayogera eri abafirosoofo ab’omu Asene.

KU NDOWOOZA ezo ebbiri, eriwa gy’okkiriziganya nayo? Abantu bangi bazzibwamu amaanyi bwe basoma ebigambo bya Sawulo ow’e Taluso, era ayitibwa omutume Pawulo. (Ebikolwa 17:26, 27) Ate era Bayibuli erimu ebyawandiikibwa ebirala ng’ebyo ebizzaamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali asaba Katonda yakiraga nti abagoberezi be basobola okumanya Katonda era n’abawa emikisa.Yokaana 17:3.

Kyokka, abafirosoofo gamba nga Philo baalina endowooza ya njawulo. Baali bagamba nti tekisobokera ddala kutegeera Katonda. Kati olwo ekituufu kye kiruwa?

Kyo kituufu Bayibuli eraga nti waliwo ebintu ebikwata ku Katonda abantu bye batasobola kutegeera. Ng’ekyokulabirako, abantu tebasobola kutegeera bbanga Katonda ly’amaze nga waali, era tebasobola kupima amagezi ge amangi wadde okumanya ensibuko yaago. Naye, ebyo tebisobola kutulemesa kumanya Katonda. Mu butuufu bwe tufumiitiriza ku bintu ng’ebyo, bituyamba ‘okusemberera Katonda.’ (Yakobo 4:8) Ka tusooke tulabe ebimu ku bintu ebikwata ku Katonda bye tutasobola kutegeera. Oluvannyuma tujja kulaba ebintu ebikwata ku Katonda bye tusobola okutegeera obulungi.

Bintu Ki Ebikwata ku Katonda Bye Tutasobola Kutegeera?

OKUBA NTI KATONDA ABEERAWO EMIREMBE GYONNA: Bayibuli egamba nti Katonda abeerawo “okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna.” (Zabbbuli 90:2) Kwe kugamba, Katonda talina ntandikwa wadde enkomerero. Abantu tebayinza kumanya “omuwendo gw’emyaka gye.”Yobu 36:26.

Engeri gy’oganyulwa: Katonda akusuubiza nti bw’onoomanya amazima agamukwatako ajja kukuwa obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 17:3) Ekisuubizo ekyo kyandibadde kyesigika singa Katonda tabeerawo mirembe gyonna? “Kabaka ow’emirembe n’emirembe” ye yekka asobola okutuukiriza ekisuubizo ekyo.1 Timoseewo 1:17.

AMAGEZI GA KATONDA: Bayibuli egamba nti “amagezi ge teganoonyezeka” kubanga ebirowoozo bye bya waggulu nnyo okusinga ebyaffe. (Isaaya 40:28; 55:9) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli ebuuza ekibuuzo kino: “Ani ategedde endowooza ya Yakuwa alyoke amuyigirize?”1 Abakkolinso 2:16.

Engeri gy’oganyulwa: Katonda asobola okuwuliriza essaala z’abantu bukadde na bukadde abamusaba mu kiseera kye kimu. (Zabbuli 65:2) Asobola n’okulaba enkazaluggya eba egudde ku ttaka. Ekiseera kirituuka amagezi ga Katonda ne gakoma n’aba nga takyakumanyi era nga takyasobola kuwuliriza ssaala zo? Nedda, kubanga amagezi ge tagaliiko kkomo. N’ekisiga obukulu, oli wa “muwendo nnyo [gy’ali] okusinga enkazaluggya ennyingi.”Matayo 10:29, 31.

AMAKUBO GA KATONDA: Bayibuli egamba nti omuntu ‘tayinza kutegeera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero.’ (Omubuulizi 3:11) N’olwekyo, tetuyinza kutegeera buli kimu ekikwata ku Katonda. Olw’okuba Katonda alina amagezi mangi, amakubo ge gonna tetusobola kugategeera. (Abaruumi 11:33) Wadde kiri kityo, Katonda mwetegefu okuyamba abo abaagala okumanya ebimukwatako.Amosi 3:7.

Abantu tebasobola kutegeera bbanga Katonda ly’amaze nga waali, era tebasobola kupima amagezi ge amangi wadde okumanya ensibuko yaago

Engeri gy’oganyulwa: Gy’onookoma okusoma Bayibuli, gy’ojja okukoma okuyiga ebintu ebipya ebikwata ku Katonda n’amakubo ge. Kino kitegeeza nti tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu emirembe gyonna.

Ebintu Ebikwata ku Katonda Bye Tusobola Okutegeera

Okuba nti tetusobola kutegeera buli kimu ekikwata ku Katonda, tekitegeeza nti tetusobola kubaako bye tutegeera ebimukwatako. Bayibuli eyogera ku bintu bingi ebikwata ku Katonda, bye tusobola okutegeera. Ka tulabe ebimu ku byo:

ERINNYA LYA KATONDA: Mu Bayibuli, Katonda atubuulira erinnya lye. Agamba nti: “Balimanya ng’erinnya lyange [nze] Yakuwa.” Bayibuli erimu erinnya lya Katonda emirundi egisukka mu 7,000, era tewali linnya ddala eriri mu Bayibuli emirundi emingi bwe gityo. *Yeremiya 16:21.

Engeri gy’oganyulwa: Mu ssaala Yesu gye yayigiriza abagoberezi be, yagamba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Naawe osobola okukozesa erinnya lya Katonda ng’osaba. Yakuwa ajja kulokola abo abakowoola erinnya lye.Abaruumi 10:13.

EKIFO KATONDA GY’ABEERA: Bayibuli eyigiriza nti waliwo ebifo bibiri eby’okubeeramu. Waliwo eggulu, ebitonde eby’omwoyo gye bibeera, n’ensi kwe tuli. (Yokaana 8:23; 1 Abakkolinso 15:44) Katonda abeera “mu ggulu.”1 Bassekabaka 8:43.

Engeri gy’oganyulwa: Kikuyamba okutegeera obulungi Katonda. Katonda si maanyi bwanyi agabeera buli wamu oba mu buli kintu. Yakuwa wa ddala era n’ekifo gy’abeera kya ddala. Wadde kiri kityo, “tewali kitonde kyonna ekitalabika mu maaso ge.”Abebbulaniya 4:13.

ENGERI ZA KATONDA: Bayibuli eyigiriza nti Katonda alina engeri ennungi. “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Tayinza kulimba. (Tito 1:2) Tasosola, wa kisa, musaasizi, era alwawo okusunguwala. (Okuva 34:6; Ebikolwa 10:34) Ate era Katonda takoma ku kuba na ngeri ezo kyokka, naye era ayagala ‘okuba mukwano’ gw’abo abamussaamu ekitiibwa.Zabbuli 25:14, NW.

Engeri gy’oganyulwa: Osobola okufuuka mukwano gwa Yakuwa. (Yakobo 2:23) Bwe weeyongera okumanya Katonda, osobola okutegeera obulungi ebyo ebiri mu Bayibuli.

‘MUNOONYE’

Bayibuli etubuulira amazima agakwata ku Yakuwa Katonda. Kisoboka okutegeera Katonda era ayagala omutegeere. Mu Kigambo kye Bayibuli, asuubiza nti: “Bw’onoomunoonyanga anaalabikanga gy’oli.” (1 Ebyomumirembe 28:9) Ekyo osobola okukikola ng’osoma Bayibuli era ng’ogifumiitirizaako. Bw’onookola bw’otyo, Katonda ajja kufuuka mukwano gwo.Yakobo 4:8.

Gy’onookoma okusoma Bayibuli, gy’ojja okukoma okuyiga ebintu ebipya ebikwata ku Katonda n’amakubo ge

Naye oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Bwe kiba nti sisobola kutegeera buli kimu ekikwata ku Katonda, nnyinza ntya okubeera mukwano gwe?’ Lowooza ku kino: Omuntu okubeera mukwano gw’omusawo omukugu naye kimwetaagisa okuba nga yasoma obusawo? Nedda! Mukwano gw’omusawo ayinza okuba ng’akola mulimu mulala nnyo. Kyokka basobola okuba ab’omukwano nfiirabulago. Ekikulu kwe kuba nti amanyi ebikwata ku musawo oyo, ebimusanyusa, n’ebitamusanyusa. Mu ngeri y’emu, bw’osoma Bayibuli osobola okuyiga ebikwata ku Katonda—era ng’ekyo kyennyini kye weetaaga okukola okusobola okubeera mukwano gwe.

Bayibuli erimu byonna bye twetaaga okusobola okutegeera Katonda. Wandyagadde okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa Katonda? Abajulirwa ba Yakuwa balina enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere. Tukusaba otuukirire Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo oba genda ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, www.isa4310.com/lg.

^ lup. 16 Bayibuli ezimu zikozesa ekitiibwa “Mukama” mu kifo ky’erinnya lya Katonda, Yakuwa. Okumanya ensonga lwaki kiri bwe kityo, soma ebyo ebiri ku lupapula 195 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukafuna ku mukutu jw.org/lg.