Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekintu eky’Omuwendo Ekyazuulibwa mu Kasasiro

Ekintu eky’Omuwendo Ekyazuulibwa mu Kasasiro

KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’olaba entuumu ya kasasiro? Oboolyawo olowooza ku bintu ebikyafu era ebiwunya obubi. Toyinza kulowooza nti mu kasasiro oyo oyinza okusangamu ekintu eky’omuwendo.

Kyokka, ekyasa nga kimu emabega waliwo ekintu eky’omuwendo ennyo ekyazuulibwa mu kasasiro. Kintu ki eky’omuwendo ekyazuulibwa? Lwaki kya mugaso nnyo gye tuli leero?

BAALI TEBAKISUUBIRA

Ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, Bernard P. Grenfell ne Arthur S. Hunt, nga bombi baali bakakensa mu ttendekero eriyitibwa Oxford University, baakyalako e Misiri. Nga bali eyo, baazuula ebiwandiiko eby’edda eby’ebitoogo mu ntuumu za kasasiro okumpi n’ekitundu ekiyitibwa Nile Valley. Oluvannyuma, mu 1920, bombi bwe baali basengeka ebiwandiiko ebyo, Grenfell yafuna ebiwandiiko ebirala ebyaggibwa e Misiri. Ebiwandiiko ebyo byatwalibwa mu tterekero ly’ebitabo eriyitibwa The John Rylands Library eriri mu kibuga Manchester, ekya Bungereza. Kyokka, abasajja bombi baafa nga tabannamaliriza kusengeka biwandiiko ebyo.

Kakensa omulala ayitibwa Colin H. Roberts, ow’omu Oxford University, ye yamaliriza okusengeka ebiwandiiko ebyo. Bwe yali abisengeka, yalaba ekiwandiiko eky’ekitoogo kya buwanvu bwa inci 3.5 n’obugazi bwa inci 2.4. Kyamwewuunyisa nnyo okuba nti ebigambo by’Oluyonaani ebyaliko yali abimanyi. Ku ludda olumu kwaliko ebigambo ebiri mu Yokaana 18:31-33, ate ku ludda olulala kwaliko ebimu ku bigambo ebiri mu lunyiriri 37 ne 38. Roberts yamanya nti ekiwandiiko ekyo kya muwendo nnyo.

KYAWANDIIKIBWA DDI?

Roberts yali ateebereza nti ekiwandiiko ekyo kya dda nnyo, naye nga tamanyi lwe kyawandiikibwa. Okusobola okumanya, yageraageranya empandiika eri ku kiwandiiko ekyo n’eyo eri ku biwandiiko eby’edda ebimanyiddwa lwe byawandiikibwa. Enkola eyo yamusobozesa okuteebereza ekiseera ekiwandiiko ekyo lwe kyawandiikibwa. Naye olw’okuba yali ayagala okukakasa nti ekyo kye kiseera ekituufu, ekiwandiiko ekyo yakikuba ebifaananyi n’abiweereza abakugu basatu abanoonyereza ku biwandiiko eby’ebitoogo, n’abasaba banoonyereze ekiseera lwe kyawandiikibwa. Biki ebyava mu kunoonyereza okwo?

Abakugu abo abasatu bwe beekenneenya empandiika eri ku kiwandiiko ekyo, bakkiriziganya nti ekiwandiiko ekyo kyawandiikibwa awo nga mu 125 E.E., nga wayiseewo emyaka mitono oluvannyuma lw’okufa kw’omutume Yokaana. Naye enkola ey’okugeraageranya empandiika ku bwayo si y’ekakasiza ddala ekiseera kyennyini ebiwandiiko lwe biba byawandiikibwa, era omukugu omulala agamba nti ekiwandiiko ekyo kiyinza n’okuba nga kyawandiikibwa mu kiseera ekirala mu kyasa eky’okubiri. Wadde kiri kityo, ekiwandiiko ekyo eky’ekitoogo kye kisingayo obukadde mu biwandiiko bya Bayibuli eby’Oluyonaani [abamu gye bayita Endagaano Empya] ebyazuulibwa.

EKIWANDIIKO EKIYITIBWA RYLANDS KIRAGA KI?

Lwaki ekiwandiiko kino ekirimu ezimu ku nnyiriri eziri mu Njiri ya Yokaana kya mugaso nnyo eri abasomi ba Bayibuli? Lwa nsonga bbiri. Esooka, engeri ekiwandiiko ekyo gye kyakolebwamu etuyamba okumanya engeri Abakristaayo ab’edda gye baatwalangamu Ekigambo kya Katonda.

Lwaki ekiwandiiko kino ekirimu ezimu ku nnyiriri eziri mu Njiri ya Yokaana kya mugaso nnyo eri abasomi ba Bayibuli?

Mu kyasa eky’okubiri embala eno, ebiwandiiko byabanga bya bika bibiri, waabangawo emizingo ne codex. Okusobola okukola omuzingo, baagattanga wamu ebitundutundu by’amaliba oba ebitoogo ne kifuuka kimu naye nga kiwanvu. Babanga basobola okuguzinga n’okuguzingulula ekiseera kyonna. Emirundi egisinga obungi baawandiikanga ku ludda lumu lwokka olw’omuzingo.

Kyokka, ekiwandiiko Roberts kye yazuula kyali kyawandiikibwako ku njuyi zombi. Ekyo kiraga nti kiyinza okuba nga kyali kyakolebwa nga codex so si ng’omuzingo. Okusobola okukola codex, baddiranga ebitundutundu by’amaliba oba eby’ebitoogo ne babitunga wamu ne bifaanana ng’ekitabo.

Lwaki ebiwandiiko ebyakolebwanga ng’ekitabo byali bya mugaso okusinga emizingo? Abakristaayo abasooka baali babuulizi ba njiri. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Baabuliranga amawulire amalungi yonna gye baasanganga abantu, gamba nga nnyumba ku nnyumba, mu butale, ne ku nguudo. (Ebikolwa 5:42; 17:17; 20:20) N’olwekyo, kyabanga kyangu okukozesa ebiwandiiko bya Bayibuli ebyakolebwa ng’ekitabo.

Ate era kyabanga kyangu Ekibiina oba Abakristaayo kinnoomu okukoppolola Ebyawandiikibwa ebitukuvu. Bwe kityo, ebitabo by’Enjiri byakoppololwa emirundi mingi, era ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyasobozesa Obukristaayo okubuna amangu mu bitundu ebirala.

kiwandiiko ekiyitibwa Rylands mu maaso n’emabega

Ensonga ey’okubiri lwaki ekiwandiiko kya Bayibuli ekiyitibwa Rylands kya mugaso gye tuli eri nti kikakasa nti Bayibuli gye tulina ntuufu. Wadde ng’ekiwandiiko ekyo kirimu ennyiriri ntono nnyo eziri Njiri ya Yokaana, ennyiriri ezo kumpi zifaananira ddala ezo eziri mu Bayibuli gye tulina leero. Ekyo kiraga nti Bayibuli teyakyusibwakyusibwa wadde ng’ezze ekoppololwa emirundi mingi.

Naye ng’oggyeeko ekiwandiiko ekiyitibwa Rylands eky’Enjiri ya Yokaana, waliwo ebiwandiiko ebirala nkumi na nkumi ebikakasa nti Bayibuli yakoppololwa bulungi. Mu kitabo kye ekiyitibwa The Bible as History, Werner Keller yagamba nti: “[Ebiwandiiko] bino ebikadde bye bisinga okukakasa nti Bayibuli ze tulina leero ntuufu era nti zeesigika.”

Kyo kituufu nti ebyo ebiba bizuuliddwa si bye bireetera Abakristaayo okuba n’okukkiriza okunywevu. Bakkiriza nti “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Wadde kiri kityo, kitusanyusa nnyo ebiwandiiko eby’edda bwe bikakasa ekyo Bayibuli ky’egamba: “Ekigambo kya Yakuwa kibeerawo emirembe n’emirembe”!—1 Peetero 1:25.