Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Kkumi Ebikwata ku by’Okwetaba Biddibwamu

Ebibuuzo Kkumi Ebikwata ku by’Okwetaba Biddibwamu

Ebibuuzo Kkumi Ebikwata ku by’Okwetaba Biddibwamu

1 Okwetaba kye kibi Adamu ne Kaawa kye baakola mu lusuku Adeni?

▪ Eky’Okuddamu: Abantu bangi balowooza nti ekibala ekyagaanibwa ekyali mu lusuku Adeni kyali kikiikirira kwetaba. Kyokka, ekyo Bayibuli si ky’eyigiriza.

Lowooza ku kino: Kaawa ne bwe yali nga tannatondebwa, Katonda yalagira Adamu obutalya ku bibala eby’oku ‘muti ogw’okumanya obulungi n’obubi.’ (Olubereberye 2:15-18) Olw’okuba Adamu yali yekka, ekiragiro kino tekisobola kuba nga kyali kikwata ku kwetaba. Okugatta ku ekyo, Katonda yawa Adamu ne Kaawa ekiragiro ekitegeerekeka obulungi ‘eky’okuzaala baale bajjuze ensi.’ (Olubereberye 1:28, NW) Katonda ow’okwagala yandiwadde abafumbo abaasooka ekiragiro ‘eky’okujjuza ensi’ ekyali kizingiramu okwetaba, ate oluvannyuma n’abasalira ogw’okufa olw’okukigondera?​—1 Yokaana 4:8.

Okwongereza ku ekyo, Kaawa ‘yanoga ku bibala byagwo [ebyagaanibwa] n’alya’ nga bbaawe taliiwo. “Oluvannyuma bwe yali n’omwami we n’amuwaako naye n’alya.”​—Olubereberye 3:6, NW.

N’ekisembayo, Adamu ne Kaawa tebaanenyezebwa bwe beetaba ne bazaala abaana. (Olubereberye 4:1, 2) Kyeyoleka kaati nti, ekibala Adamu ne Kaawa kye baalya kyali tekikiikirira kwetaba naye kyali kibala kya ddala ekyali ku muti.

2 Bayibuli egaana abantu okwetaba?

▪ Eky’Okuddamu: Ekitabo ekisooka mu Bayibuli kiraga nti Katonda ye yatonda ‘omusajja n’omukazi.’ Katonda yalaba nti buli kye yali atonze kyali “kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:27, 31) Oluvannyuma, Katonda yaluŋŋamya omu ku bawandiisi ba Bayibuli okuwa abaami ebiragiro bino: “Sanyukiranga omukazi ow’omu buvubuka bwo. . . . Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna.” (Engero 5:18, 19) Ebigambo bino biraga nti Bayibuli egaana abantu okwetaba?

Obukakafu obuliwo bulaga nti ng’oggyeko Katonda okutonda abantu nga balina obusobozi obw’okuzaala, yatonda ebitundu eby’ekyama mu ngeri esobozesa abafumbo bombi okulagaŋŋana okwagala n’okwesanyusa. Engeri eyo ey’okulagaŋŋana omukwano esobozesa abafumbo okukola ku bwetaavu bwabwe obw’omubiri n’obw’enneewulira.

3 Bayibuli ekkiriza omusajja n’omukazi okwetaba nga tebannafumbiriganwa mu mateeka?

▪ Eky’Okuddamu: Bayibuli ekyoleka kaati nti ‘abakaba Katonda ajja kubasalira omusango.’ (Abebbulaniya 13:4) Ekigambo ky’Oluyonaani por·neiʹa, ekivvuunulwa obukaba, kirina amakulu magazi. Kizingiramu okwetaba okw’engeri yonna wakati w’abantu abatali bafumbo. * N’olwekyo, mu maaso ga Katonda kiba kikyamu abantu abatali bafumbo okubeera awamu n’okwetaba wadde nga balina ekiruubirirwa eky’okufumbiriganwa mu biseera eby’omu maaso.

Wadde ng’omusajja n’omukazi baba baagalana nnyo, Katonda aba abeetaagisa kusooka kufumbiriganwa nga tebannatandika kwetaba. Katonda ye yatutonda nga tulina obusobozi obw’okwoleka okwagala. Engeri ya Katonda esinga obukulu kwe kwagala. N’olwekyo, alina ensonga ennungi lwaki agamba nti okwetaba kulina kubaawo wakati w’abafumbo bokka, ng’ekitundu ekinaddako bwe kijja okunnyonnyola.

4 Okuwasa abakazi abasukka mu omu kikkirizibwa?

▪ Eky’Okuddamu: Okumala ekiseera, Katonda yakkirizanga abasajja okuba n’abakazi abasukka mu omu. (Olubereberye 4:19; 16:1-4; 29:18–30:24) Naye Katonda si ye yatandikawo enkola ey’abasajja okuwasa abakazi abasukka mu omu. Yawa Adamu omukazi omu yekka.

Katonda yawa Yesu Kristo obuyinza obw’okuzzaawo omutindo Katonda gwe yateekawo ogw’omusajja okuwasa omukazi omu yekka. (Yokaana 8:28) Bwe yabuuzibwa ebikwata ku bufumbo, Yesu yagamba nti: “Eyabatonda okuva ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi n’agamba nti, ‘Olw’ensonga eno omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’abeera ne mukazi we era bombi banaabanga omubiri gumu.’”​—Matayo 19:4, 5.

Oluvannyuma, omu ku bayigirizwa ba Yesu yaluŋŋamizibwa Katonda okuwandiika nti: “Buli musajja abeere ne mukyala we, n’omukyala abeere n’omwami we.” (1 Abakkolinso 7:2) Ate era, Bayibuli egamba nti omusajja yenna omufumbo ali mu kibiina Ekikristaayo ow’okuweebwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo alina okuba “ng’alina omukazi omu.”​—1 Timoseewo 3:2, 12.

5 Kikyamu abafumbo okukozesa enkola ez’okweziyiza okuzaala?

▪ Eky’Okuddamu: Yesu teyalagira bagoberezi be okuzaala oba obutazaala. Ate era n’abayigirizwa ba Yesu ab’edda tebaawa kiragiro ng’ekyo. Tewali kyawandiikibwa kiraga nti Bayibuli evumirira enkola ez’okweziyiza okuzaala.

N’olwekyo abafumbo balina eddembe okwesalirawo okuzaala oba obutazaala. Ate era bayinza okusalawo omuwendo gw’abaana be banaazaala ne ddi lwe banaabazaala. Omwami ne mukyala we bwe basalawo okukozesa enkola ey’okweziyiza okuzaala nga teggyamu lubuto, okwo kuba kusalawo kwabwe era obwo buvunaanyizibwa bwabwe. * Tewali asaanidde kubasalira musango.​—Abaruumi 14:4, 10-13.

6 Kikyamu okuggyamu olubuto?

▪ Eky’Okuddamu: Katonda atwala obulamu nga butukuvu, era n’omwana eyaakatondebwa mu lubuto lwa nnyina amutwala nga muntu wa njawulo ku maama we. (Zabbuli 139:16) Katonda yagamba nti omuntu eyandituusizza obulabe ku mwana atannazaalibwa yandibadde avunaanibwa. N’olwekyo, mu maaso ga Katonda okutta omwana atannazaalibwa liba ttemu.​—Okuva 20:13; 21:22, 23.

Ate kiri kitya singa mu kiseera eky’okuzaala embeera ewaliriza abafumbo okusalawo okuleka omwana okufa basobole okutaasa obulamu bwa maama oba okuleka maama okufa basobole okutaasa obulamu bw’omwana? Mu mbeera ng’eyo, abafumbo baba balina okwesalirawo obulamu bwe banaagezaako okutaasa. *

7 Bayibuli ekkiriza abafumbo okugattululwa?

▪ Eky’Okuddamu: Bayibuli ekkiriza okugattululwa. Kyokka, Yesu yayogera ku nsonga emu yokka eyinza okusinziirwako okugattululwa, ng’agamba nti: “Buli agattulula mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi [okwetaba n’omuntu atali munno mu bufumbo], n’awasa omulala, aba ayenze.”​—Matayo 19:9.

Katonda akyawa abo abalimbalimba era abakuusakuusa ne bagattululwa ne bannaabwe mu bufumbo. Katonda kennyini ajja kuvunaana abo abaleka bannaabwe awatali nsonga ya mu Byawandiikibwa, naddala nga balina ekiruubirirwa eky’okufumbiriganwa n’omuntu omulala.​—Malaki 2:13-16; Makko 10:9.

8 Katonda akkiriza obulyi bw’ebisiyaga?

▪ Eky’Okuddamu: Bayibuli evumirira obwenzi era nga buzingiramu n’obulyi bw’ebisiyaga. (Abaruumi 1:26, 27; Abaggalatiya 5:19-21) Wadde nga Bayibuli ekiraga kaati nti Katonda akyawa obulyi bw’ebisiyaga, tukimanyi bulungi nti “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.”​—Yokaana 3:16.

Wadde ng’Abakristaayo ab’amazima tebawagira bulyi bwa bisiyaga, balaga abantu bonna ekisa. (Matayo 7:12) Katonda ayagala ‘tuwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa.’ N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima tebakyawa balyi ba bisiyaga.​—1 Peetero 2:17.

9 Kikyamu okukozesa amasimu oba Intaneeti mu bikolwa eby’obugwenyufu?

▪ Eky’Okuddamu: Okukozesa amasimu oba Intaneeti mu bikolwa eby’obugwenyufu kizingiramu okwogera n’omuntu ku bikolwa ng’ebyo oba okumuweereza obubaka oba ebifaananyi eby’obugwenyufu.

Bayibuli teyogera butereevu ku nkola nga zino eziriwo leero. Naye egamba nti: “Obwenzi n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri n’omululu tebirina na kwogerwako mu mmwe, nga bwe kigwanira abantu abatukuvu; newakubadde empisa eziswaza, oba okwogera eby’ekisirusiru, oba okusaaga okw’obuwemu, ebintu ebitasaana.” (Abeefeso 5:3, 4) Ebintu ng’okukozesa amasimu ne Intaneeti mu by’obugwenyufu bireetera abantu okuba n’endowooza enkyamu ku by’okwetaba era bibakubiriza okwenyigira mu bikolwa eby’okwetaba wabweru w’enteekateeka y’obufumbo. Mu kifo ky’okuyamba abantu okufuga okwegomba kwabwe, ebintu ebyo bibaleetera okwagala okwenyigira mu bikolwa eby’okwetaba.

10 Bayibuli eyogera ki ku kutigaatiga ebitundu eby’ekyama?

▪ Eky’Okuddamu: Bayibuli teyogera butereevu ku kutigaatiga ebitundu eby’ekyama, nga kino omuntu akikola asobole okufuna essanyu eriva mu kwetaba. Kyokka, Ekigambo kya Katonda kiragira Abakristaayo nti: “Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bwenzi, obutali bulongoofu, okwegomba okw’ensonyi, okuyaayaanira ebintu ebibi, n’okwegomba okubi.”​—Abakkolosaayi 3:5.

Okutigaatiga ebitundu eby’ekyama kireetera omuntu okuba n’endowooza enkyamu era ey’okwefaako ku bikwata ku by’okwetaba. Bayibuli etukakasa nti abo abafuba okwekutula ku muze guno, Katonda asobola okubawa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.”​—2 Abakkolinso 4:7; Abafiripi 4:13.

[Obugambo obuli wansi]

^ Ekigambo Por·neiʹa era kizingiramu: obwenzi, obulyi bw’ebisiyaga, n’okwetaba n’ensolo ebikontana n’ekigendererwa Katonda kye yalina ng’atonda ebitundu by’omuntu eby’ekyama.

^ Okumanya ebisingawo ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nkola ey’okulongoosebwa nga weeziyiza okuzaala eyitibwa sterilization, laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu Watchtower eya Jjuuni 15, 1999, olupapula 27-28.

^ Okumanya obanga omuntu aba akwatiddwa obukwatibwa aba mutuufu okuggyamu olubuto, laba Awake! eya Maayi 22, 1993, olupapula 10-11, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.