Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebintu Musanvu Ebinaakuyamba Okuganyulwa mu Kusoma Baibuli

Ebintu Musanvu Ebinaakuyamba Okuganyulwa mu Kusoma Baibuli

Ebintu Musanvu Ebinaakuyamba Okuganyulwa mu Kusoma Baibuli

“Ng’oggyeko okuba nti kye kitabo ekikyasinzeeyo okutundibwa mu byafaayo byonna, Baibuli kye kitabo ekisinga okutundibwa buli mwaka.”​—MAGAZINI EYITIBWA TIME.

“Emirundi egimu nsoma Baibuli, naye tennyumira.”​—KEITH, OMUYIMBI OMWATIIKIRIVU OW’E BUNGEREZA.

KYEWUUNYISA okuba nti abantu bangi basoma Baibuli naye nga tebaganyulwa nnyo mu kugisoma. Ku luuyi olulala, abamu bakizudde nti ebyo bye basoma mu Baibuli bya muganyulo nnyo. Ng’ekyokulabirako, omukazi ayitibwa Nancy agamba nti: “Okuva lwe nnatandika okusoma Baibuli n’okufumiitiriza ku ebyo bye nsoma buli ku makya, mpulira nga nsobola okwaŋŋanga ebizibu byonna bye nsanga buli lunaku. Kino kinnyambye nnyo okukendeeza ku bwennyamivu bwe mbadde nabwo okusinga ekintu ekirala kyonna kye ngezezaako mu myaka 35 egiyise.”

Wadde nga tosomangako ku Baibuli, tokwatibwako nnyo okuwulira nti waliwo abantu abaganyuddwa mu kugisoma? Bwe kiba nti obadde osoma Baibuli, tewandyagadde okwongera okuganyulwa mu ebyo by’osoma? Bwe kiba kityo, gezaako ebintu bino omusanvu.

1​​—Gisome ng’olina ekigendererwa ekirungi

◼ Baibuli oyinza okuba ng’ogitwala ng’ekitabo ekinyuma obunyumi okusoma oba ng’ogisoma kutuusa butuusa mukolo oba ng’ogisoma osobole okufunamu bulagirizi obunaakuyamba mu nsi eno ejjudde ebizibu. Naye ojja kuganyulwa nnyo singa ogisoma ng’olina ekigendererwa eky’okumanya amazima agakwata ku Katonda. Era ojja kuganyulwa nnyo singa ofuba okulaba engeri obubaka bwa Baibuli gye busobola okukuganyula mu bulamu bwo.

Ebyawandiikibwa biraga obukulu bw’okusoma Baibuli ng’olina ekigendererwa ekirungi nga bigigeraageranya ku ndabirwamu: “Omuntu yenna bw’awulira ekigambo naye n’atakikolerako, aba ng’omuntu atunula mu ndabirwamu okweraba mu maaso. Kubanga yeeraba, n’agenda, era amangu ago ne yeerabira bw’afaanana. Naye oyo eyeetegereza amateeka agaatuukirira, ag’eddembe era n’aganyiikiriramu, omuntu oyo olw’okuba taba muwulizi eyeerabira wabula agondera ekigambo, ajja kuba musanyufu mu kukola bw’atyo.”​—Yakobo 1:23-25.

Omuntu ayogerwako mu kyokulabirako kino yeeraba mu ndabirwamu naye n’atabaako ky’akolawo kwetereeza. Oboolyawo yeerabamu okumala akaseera katono, oba tayagala bwagazi kwetereeza. Mu ngeri y’emu, naffe tetujja kuganyulwa nnyo mu Baibuli singa tugisoma lumu na lumu oba singa tetukolera ku bye tusoma. Ku luuyi olulala, tujja kufuna essanyu lingi singa tusoma Baibuli nga tuli beetegefu okukkiriza endowooza ya Katonda okufuga ebirowoozo byaffe n’ebikolwa byaffe.

2​​—Kozesa enzivuunula ya Baibuli eyeesigika

◼ Wayinza okubaawo enzivuunula za Baibuli nnyingi eziri mu lulimi lwo. Wadde nga buli nzivuunula esobola okukuganyula, ezimu ku zo zikozesa olulimi oluzibu okutegeera. (Ebikolwa 4:13) Enzivuunula ezimu zaakyusa obubaka obw’amazima obuli mu Baibuli olw’okuba abo abaazivvuunula baagoberera obulombolombo bw’abantu. Nga bwe kiragibwa mu bitundu ebisooka mu magazini eno, abamu erinnya lya Katonda, Yakuwa, baaliggya mu nzivuunula zaabwe ne bateekamu ebitiibwa gamba nga “Katonda” oba “Mukama.” N’olwekyo, bw’oba olonda enzivuunula ya Baibuli gy’onoosoma, noonya eyo eri mu lulimi olwangu okutegeera.

Abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi bakizudde nti enkyusa ya New World Translation nnungi nnyo. * Lowooza ku kyokulabirako ky’omusajja omukadde abeera mu Bulgaria. Yagenda mu lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa era ne bamuwa Baibuli ey’enkyusa ya New World Translation. Oluvannyuma yagamba nti, “Mmaze emyaka mingi nga nsoma Baibuli, naye sifunangako Baibuli nnyangu kutegeera era entuuka ku mutima ng’eno.”

3​​—Saba Katonda

◼ Osobola okweyongera okutegeera Baibuli singa osaba Oyo eyagiwandiisa okukuyamba. Naawe osobola okusaba ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Onzibule amaaso gange, ndabe eby’ekitalo ebiva mu mateeka go.” (Zabbuli 119:18) Buli lw’oba ogenda okusoma Ebyawandiikibwa, saba Katonda akuyambe okutegeera Ekigambo kye. Era osobola okumwebaza olw’okutuwa Baibuli, kubanga weetali tetwandisobodde kutegeera Katonda.​— Zabbuli 119:62.

Katonda awulira okusaba ng’okwo? Lowooza ku bawala abatiini ababiri ababeera mu Uruguay. Baali balemereddwa okutegeera ebyo bye baali basomye mu Danyeri 2:44 bwe batyo ne basaba Katonda abasindikire omuntu abayambe okubitegeera. Baali tebannaba na kubikkako Baibuli, Abajulirwa ba Yakuwa babiri ne bakonkona ku luggi lwabwe. Baasoma olunyiriri lwennyini abawala abo lwe baali balemereddwa okutegeera era ne babannyonnyola nti gavumenti z’abantu zijja kuggibwawo, Obwakabaka bwa Katonda budde mu kifo kyazo. * Abawala bano baakiraba nti Katonda yali azzeemu okusaba kwabwe.

4​​—Gisome buli lunaku

◼ Omuwandiisi w’ebitabo omu yagamba nti “abantu abagula Baibuli beeyongera obungi” oluvannyuma lw’obulumbaganyi bwa bannalukalala obwakolebwa ku Amerika nga Ssebutemba 11, 2001. Bangi Ekigambo kya Katonda bakisoma bali mu biseera bizibu byokka. Kyokka Baibuli etukubiriza okukisoma buli lunaku, kubanga egamba nti: “Ekitabo kino eky’amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoozangamu emisana n’ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebiwandiikiddwamu: kubanga bw’onootere[e]zanga bw’otyo ekkubo lyo, era bw’onooweebwanga omukisa bw’otyo.”​—Yoswa 1:8.

Okusobola okulaba obukulu bw’okusoma Baibuli buli lunaku, lowooza ku muntu alina obulwadde bw’omutima asalawo okulya emmere erimu ekiriisa. Emmere eyo eyinza okumuyamba singa agirya olwo lwokka lw’aba awulira obulimi? Nedda. Emmere eyo okusobola okumuganyula alina okugirya buli lunaku. Mu ngeri y’emu, okusoma Baibuli buli lunaku kijja kukuyamba ‘okutereeza ekkubo lyo.’

5​​—Gisome mu ngeri ez’enjawulo

◼ Kiyinza okuba ekirungi okusoma Baibuli okuva ku Olubereberye okutuuka ku Okubikkulirwa, naye waliwo n’engeri endala gy’oyinza okugisomamu. Ezimu ku ngeri ezo ze zino.

Funayo omuntu gw’oba osomako. Soma essuula zonna oba ebitabo byonna ebyogera ku muweereza wa Katonda omu, gamba nga:

Yusufu: Olubereberye 37-50.

Luusi: Luusi 1-3.

Yesu: Matayo 1-28; Makko 1-16; Lukka 1-24; Yokaana 1-21. *

Funayo ekintu ky’oba osomako. Soma ebyawandiikibwa ebikwata ku kintu ekyo. Ng’ekyokulabirako, oyinza okunoonyereza ku kusaba, n’osoma ku ebyo Baibuli by’eyogera ku kusaba awamu n’ezimu ku ssaala ezisangibwa mu Baibuli. *

Gisome mu ddoboozi eriwulikika. Oyinza okuganyulwa singa osoma Baibuli mu ddoboozi eriwulikika. (Okubikkulirwa 1:3) Muyinza n’okusalawo okugisoma ng’amaka, nga buli omu abaako ekitundu ky’asoma oba omuntu ayogerwako mu Baibuli gw’akiikirira. Abamu basalawo okuwuliriza Baibuli ng’esomebwa ku butambi. Omukazi omu agamba nti, “Mu kusooka kyanzibuwaliranga okusoma Baibuli, bwe kityo nnasalawo okutandika okugiwuliriza ng’esomebwa ku butambi. Kati nnyumirwa nnyo okusoma Baibuli okusinga okusoma ekitabo ekirala kyonna.”

6​​—Fumiitiriza ku bintu by’osoma

◼ Mu nsi ya kakyo kano, waliwo ebintu bingi ebiyinza okutulemesa okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma. Naye nga bwe twetaaga okugaaya emmere gye tulya okusobola okugifunamu ekiriisa, kitwetaagisa okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Baibuli okusobola okubiganyulwamu. Kino tuyinza okukikola nga twejjukanya ebyo bye tuba tusomye era nga twebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ebintu bino binjigirizza ki ku Yakuwa Katonda? Binkwatako bitya? Nnyinza ntya okubikozesa okuyamba abalala?’

Bwe tufumiitiriza mu ngeri eyo, kisobozesa obubaka bwa Baibuli okutuuka ku mitima gyaffe era ekyo kyongera ku ssanyu lye tufuna mu kusoma Ekigambo kya Katonda. Zabbuli 119:97 wagamba nti: “Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza[ako] okuzibya obudde.” Okufumiitiriza kwayamba omuwandiisi wa Zabbuli okweyongera okwagala ebyo bye yali asoma mu Byawandiikibwa.

7​​—Saba abalala bakuyambe okugitegeera

◼ Katonda akimanyi nti tetusobola kutegeera bulungi Baibuli ku lwaffe. Era ne Baibuli yennyini ekiraga nti erimu “ebintu ebimu ebizibu okutegeera.” (2 Peetero 3:16) Ekitabo ky’Ebikolwa kyogera ku mukungu w’Esiyopiya eyali alemereddwa okutegeera ebyo bye yali asoma mu Baibuli. Katonda yamusindikira omu ku baweereza be amuyambe, n’ekyavaamu omusajja oyo Omwesiyopiya “[y]agenda nga musanyufu.”​—Ebikolwa 8:26-39.

Naawe osobola okuganyulwa mu kusoma Baibuli singa oyambibwa okutegeera ebyo by’osoma. Bw’oba wandyagadde okufuna omuntu akuyigirize Baibuli ku bwereere, tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo oba bawandiikire ng’okozesa emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 4 mu magazini eno.

[Obugambo obuli wansi]

^ Baibuli ya New World Translation ekubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, era efulumiziddwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi 83 era esangibwa ne ku mukutu gwa internet oguyitibwa www.watchtower.org. mu nnimi 17.

^ Okumanya ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’ebyo bye bunaakola, laba essuula 8 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ Bw’oba otandika butandisi okusoma Baibuli, gezaako okutandikira ku kitabo kya Makko ekyogera ku buweereza bwa Yesu mu bumpimpi.

^ Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? kayambye bangi okufuna ebintu bye basobola okusomako mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, essuula 17 eraga ekyo Ebyawandiikibwa kye byogera ku kusaba.