Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Twetaaga Ensi Empya!

Twetaaga Ensi Empya!

António Guterres, ssaabawandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte yagamba nti: “Tuli mu nsi ejjudde ebizibu.” Ndowooza naawe okkiriziganya naye.

Ebifulumira mu mawulire ennaku zino byeraliikiriza

  • Endwadde

  • Obutyabaga

  • Obwavu n’enjala

  • Okwonoonebwa kw’obutonde n’ebbugumu okweyongera

  • Obumenyi bw’amateeka, ebikolwa eby’obukambwe, n’obulyi bw’enguzi

  • Entalo

Awatali kubuusabuusa, twetaaga ensi empya. Ensi ejja okubaamu

  • Abantu abalamu obulungi

  • Obukuumi eri buli omu

  • Emmere mu bungi

  • Embeera y’obudde ennungi

  • Obwenkanya

  • Emirembe

Naye bwe twogera ku nsi empya, tuba tutegeeza ki?

Kiki ekinaatuuka ku nsi gye tulimu kati?

Biki bye tusaanidde okukola okusobola okubeera mu nsi empya?

Mu katabo kano, tugenda kulaba engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo n’ebirala, era engeri gy’ebiddamu ezzaamu amaanyi.