OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 2 2016 | Lwaki Yesu Yabonaabona era n’Afa?

Okubonaabona kwa Yesu n’okufa kwe ebyaliwo emyaka 2,000 emabega bituganyula bitya leero?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Naye Ddala Byaliyo?

Biki ebikakasa nti ebyo ebikwata ku Yesu ebiri mu bitabo by’enjiri ebina bituufu?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Lwaki Yesu Yabonaabona era n’Afa?

Okufa kwe kukuganyula kutya?

Omukristaayo Asaanidde Okusinziza mu Kiggwa?

Amadiini mangi mu nsi yonna galina ebiggwa. Okusinziza mu bifo ng’ebyo kirimu omugaso gwonna?

Okufulumizibwa kwa Bayibuli ey’Oluganda Eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya

Enkyusa ey’Ensi Empya eteeka erinnya lya Katonda wonna we lirina okubeera era evvuunula bulungi Ekigambo kya Katonda mu lulimi lwo.

Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa

Ddala Yesu Yafiira ku Musaalaba?

Abantu bangi omusaalaba bagutwala ng’akabonero ‘k’Abakristaayo.’ Ddala tusaanidde okugukozesa mu kusinza?