Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 1 2022 | Ebisobola Okutuyamba Okweggyamu Obukyayi

Ensi gye tulimu ejjudde obukyayi. Obukyayi bweyolekera mu ngeri nnyingi, gamba ng’okusosola abalala, okubatulugunya, oba okubavuma. Ddala kisoboka okweggyamu obukyayi? Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’esobola okutuyamba okweggyamu obukyayi. Ate era kalaga nti mu biseera eby’omu maaso Katonda ajja kuggirawo ddala obukyayi.

 

Tusobola Okweggyamu Obukyayi!

Biki ebiviirako obukyayi? Biki abantu bye batera okukola ebyoleka obukyayi?

Lwaki Waliwo Obukyayi Bungi?

Bayibuli eraga engeri obukyayi gye bwatandikawo, ensonga lwaki abantu bakyawa abalala, n’ensonga lwaki waliwo obukyayi bungi.

Engeri Gye Tuyinza Okweggyamu Obukyayi

Bayibuli eyambye abantu okweggyamu obukyayi.

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

1 | Weewale Okusosola Abalala

Katonda tasosola, mukoppe weggyemu obusosoze.

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

2 | Weewale Okwesasuza

Bwe weesiga Katonda nti ajja kumalawo obutali bwenkanya bwonna, kikuyamba obuteesasuza.

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

3 | Ggya Obukyayi mu Birowoozo Byo

Ekigambo kya Katonda kisobola okukuyamba okuggya obukyayi mu birowoozo byo.

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

4 | Katonda Asobola Okukuyamba Okweggyamu Obukyayi

Omwoyo gwa Katonda gusobola okukuyamba okukulaakulanya engeri ezisobola okukuyamba okweggyamu obukyayi.

Ekiseera Lwe Watalibaawo Bukyayi!

Kiki ekijja okumalirawo ddala obukyayi?

Ebikolwa Ebyoleka Obukyayi Bikosa Abantu Buli Wamu

Tuyinza tutya okweggyamu obukyayi? Abantu bangi okwetooloola ensi basobodde okweggyamu obukyayi.