‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’

Ekitabo kino kiraga engeri ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka gye kyatandikibwawo era kiraga n’engeri gye tuyinza okuyigira ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka.

Mmaapu

Mmaapu eziraga ekitundu abantu kye batera okuyita Ensi Entukuvu leero, n’eŋŋendo z’obuminsani omutume Pawulo ze yatambula.

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atuyamba nga tweyongera ‘okuwa obujulirwa mu bujjuvu’ obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda?

ESSUULA 1

‘Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa’

Yesu yagamba nti amawulire g’Obwakabaka gandibuuliddwa mu mawanga gonna. Ekyo kikolebwa kitya?

ESSUULA 2

“Mujja Kuba Bajulirwa Bange”

Yesu yateekateeka atya abatume be okuwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira?

ESSUULA 3

“Bajjula Omwoyo Omutukuvu”

Omwoyo omutukuvu gwayamba gutya mu kutandikawo ekibiina Ekikristaayo?

ESSUULA 4

‘Tebaali Bayigirize era Baali Bantu ba Bulijjo’

Abatume baayoleka obuvumu era Yakuwa yabawa emikisa.

ESSUULA 5

“Tuteekwa Kugondera Katonda”

Abatume Bateerawo Abakristaayo Bonna ab’Amazima Ekyokulabirako.

ESSUULA 6

Siteefano—‘Yali Ajjudde Ekisa n’Amaanyi’

Kiki kye tuyigira ku ngeri Siteefano gye yawaamu obujulirwa ng’ali mu maaso g’abalamuzi b’ekkooti y’Abayudaaya enkulu?

ESSUULA 7

Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”

Firipo assaawo ekyokulabirako ekirungi mu kubuulira amawulire amalungi.

ESSUULA 8

Ekibiina “ne Kibeera mu Mirembe”

Sawulo eyali ayigganya ennyo Abakristaayo, yafuuka omugoberezi wa Yesu Kristo omunyiikivu.

ESSULA 9

“Katonda Tasosola”

Ab’amawanga abatali bakomole nabo babuulirwa amawulire amalungi.

ESSUULA 10

“Ekigambo kya Yakuwa ne Kyeyongera Okubuna”

Peetero anunulibwa, era okuyigganyizibwa tekusaanyaawo mulimu gwa kubuulira mawulire malungi.

ESSUULA 11

“Beeyongera Okusanyuka n’Okujjula Omwoyo Omutukuvu”

Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi ng’asisikanye abantu abaali bamuwakanya era abaali bataagala kuwuliriza.

ESSUULA 12

“Baayogera n’Obuvumu olw’Okuba Baafuna Obuyinza Okuva eri Yakuwa”

Pawulo ne Balunabba baayoleka obwetoowaze, obugumiikiriza, era baatuukana n’embeera.

ESSUULA 13

‘Bwe Waabaawo Obutakkaanya Obw’amaanyi’

Ensonga ey’okukomolebwa etwalibwa eri akakiiko akafuzi.

ESSUULA 14

“Tukkiriziganyizza Ffenna”

Laba engeri akakiiko akafuzi gye kaatuuka okusalawo ku nsonga ekwata ku kukomolebwa era n’engeri ekyo ekyasalibwawo gye kyayamba ebibiina okuba obumu.

ESSUULA 15

“Bazzaamu Ebibiina Amaanyi”

Pawulo ne banne bakyalira ebibiina ne babiyamba okweyongera okunywera mu kukkiriza.

ESSUULA 16

“Jjangu e Masedoniya”

Emikisa egiva mu kukkiriza obuvaananyizibwa n’okugumiikiriza n’essanyu okuyigganyizibwa.

ESSUULA 17

“Yakubaganya Nabo Ebirowoozo ku Byawandiikibwa”

Pawulo yabuulira Abayudaaya ab’omu Ssessalonika n’ab’omu Beroya.

ESSUULA 18

“Basobole Okunoonya Katonda, . . . era Bamuzuule”

Okuba nti Pawulo yayogera ku ebyo bye yali akkiriziganyako n’abaali bamuwuliriza, kyamusobozesa kitya okubabuulira?

ESSUULA 19

“Weeyongere Okwogera, Tosirika”

Ebyo Pawulo bye yakola mu Kkolinso biyinza bitya okutuyamba nga tukola omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Bwakabaka bwa Katonda?

ESSUULA 20

“Kyeyongera Okubuna era n’Okuba eky’Amaanyi” Wadde nga Waaliwo Okuyigganyizibwa

Ebyo Apolo ne Pawulo bye baakola ebyaviirako amawulire amalungi okweyongera okubuna.

ESSUULA 21

“Sivunaanibwa Musaayi gwa Muntu Yenna”

Pawulo abuulira n’obunyiikivu era abuulirira abakadde.

ESSUULA 22

“Yakuwa ky’Ayagala Kye Kiba Kikolebwa”

Olw’okuba Pawulo mumalirivu okukola Katonda ky’ayagala, agenda e Yerusaalemi.

ESSUULA 23

“Muwulirize nga Mbannyonnyola”

Pawulo alwanirira amazima nga yeewozaako mu maaso g’ekibiina ky’abantu abasunguwavu ne mu maaso g’abalamuzi b’Olukiiko Olukulu.

ESSUULA 24

“Beera Mugumu!”

Pawulo awona okuttibwa era yeewozaako mu maaso ga Gavana Ferikisi.

ESSUULA 25

“Njulira Kayisaali!”

Pawulo assaawo ekyokulabirako ekirungi ng’alwanirira amawulire amalungi.

ESSUULA 26

“Tewali n’Omu ku Mmwe Ajja Kufiirwa Bulamu Bwe”

Ekyombo Pawulo mwe yali bwe kyamenyekamenyeka, yalaga okukkiriza okw’amaanyi era yalaga abantu okwagala.

ESSUULA 27

‘Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu’

Pawulo yeeyongera okubuulira ng’asibiddwa mu Rooma.

ESSUULA 28

“Okutuuka mu Bitundu by’Ensi Ebisingayo Okuba eby’Ewala”

Omulimu abagoberezi ba Kristo ab’omu kyasa ekyasooka gwe baatandikako gukyagenda mu maaso, era gukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino.

Ebifaananyi n’Ennamba y’Olupapula Kwe Biri

Olukalala lw’ebifaananyi ebiri mu kitabo kino.