Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OKUNA

“Gy’Onoogendanga, Gye Nnaagendanga”

“Gy’Onoogendanga, Gye Nnaagendanga”

1, 2. (a) Olugendo lwa Luusi ne Nawomi lwali lutya, era baalina nnaku ki? (b) Wadde nga baali bagenda mu kifo kye kimu, njawulo ki eyaliwo wakati waabwe?

LUUSI ne Nawomi batambula mu luguudo oluyita mu nsenyi za Mowaabu. Mu kiseera kino basigadde bwa babiri. Kuba akafaananyi ng’enjuba eneetera okugwa, era nga Luusi atunuulira nnyazaala we nga muli yeebuuza obanga ekiseera kituuse batandike okunoonya aw’okusula. Luusi yali ayagala nnyo Nawomi, era yali mwetegefu okukola kyonna ky’asobola okumulabirira.

2 Abakazi abo bombi baalina ennaku ey’amaanyi ku mutima. Nawomi yali amaze emyaka egiwerako nga nnamwandu, kyokka ate kati yali agasseeko n’ennaku y’okufiirwa batabani be ababiri—Kiriyoni ne Maloni. Luusi naye yali nnamwandu, kubanga Maloni ye yali bbaawe. Ye ne Nawomi baali bagenda mu kabuga k’e Besirekemu ak’omu Isiraeri. Kyokka wadde nga baali bagenda mu kifo kye kimu, waaliwo enjawulo wakati waabwe. Nawomi yali addayo waabwe, ate ye Luusi yali avudde mu nsi ye ng’agenda mu kifo kipya, era ng’alese ab’eŋŋanda ze, era ne bakatonda b’ewaabwe.Soma Luusi 1:3-6.

3. Biki bye tugenda okwekenneenya ebinaatuyamba okuba n’okukkiriza okulinga okwa Luusi?

3 Kiki ekyaleetera Luusi okuva mu nsi ye? Yandisobodde atya okweyimirizaawo eyo gye yali agenda, era n’okulabirira Nawomi? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kutuyamba okulaba engeri gye tusobola okuba n’okukkiriza okulinga okwa Luusi Omumowaabu. (Laba n’akabokisi “ Katabo Katono Naye nga Makula.”) Naye ka tusooke tulabe ekyaviirako abakazi bano ababiri okutindigga olugendo luno olwabatuusa e Besirekemu.

Baafiirwa Abantu Baabwe

4, 5. (a) Kiki ekyaleetera Erimereki ne Nawomi ne batabani baabwe okusenga mu Mowaabu? (b) Buzibu ki Nawomi bwe yayolekagana nabwo ng’ali mu Mowaabu?

4 Luusi yakulira mu Mowaabu, ensi eyali esangibwa ebugwanjuba w’Ennyanja Enfu. Ekitundu ekisinga obunene eky’ensi eyo kyali kya museetwe, nga mulimu enkonko nnyingi n’emiti mitonotono. ‘Ensi ya Mowaabu’ yali ngimu nnyo, era enjala ne bwe yagwanga mu Isiraeri, yo yabangamu emmere. Luusi okutuuka okulabagana ne Maloni kyava ku njala eyali egudde mu Isiraeri.Luus. 1:1.

5 Enjala eyagwa mu Isiraeri yaleetera Erimereki bba wa Nawomi n’ab’omu maka ge okugenda mu Mowaabu. Kino kirina okuba nga kyabateeka mu buzibu mu by’omwoyo, kubanga Abaisiraeri baalinanga okugenda mu kifo ekitukuvu Yakuwa kye yali alagidde okumusinzizaamu. (Ma. 16:16, 17) Wadde ng’okukkiriza kwa Nawomi kwali kukyali kunywevu, okufa kwa bba kwamunakuwaza nnyo.Luus. 1:2, 3.

6, 7. (a) Lwaki Nawomi ayinza okuba nga yawulira ennaku batabani be bwe baawasa abakazi Abamowaabu? (b) Lwaki engeri Nawomi gye yayisaamu bakaabaana be yeewuunyisa?

6 Ate era Nawomi ayinza okuba nga yanakuwala nnyo nga batabani be bawasizza abakazi Abamowaabu. (Luus. 1:4) Yali akimanyi nti Ibulayimu jjajja w’Abaisiraeri yafuba nnyo okulaba nti afunira mutabani we Isaaka omukazi mu bantu be abaali basinza Yakuwa. (Lub. 24:3, 4) Ne mu Mateeka ga Musa Abaisiraeri baali baagaanibwa okukkiriza batabani baabwe ne bawala baabwe okuwasa oba okufumbirwa abagwira, kubanga ekyo kyandiviiriddeko abantu ba Katonda okusinza ebifaananyi.Ma. 7:3, 4.

7 Kyokka Maloni ne Kiriyoni baasalawo okuwasa abakazi Abamowaabu. Wadde ng’ekyo kiyinza okuba nga tekyasanyusa Nawomi, yafuba okulaga bakaabaana be ekisa n’okwagala. Oboolyawo yalina essuubi nti ekiseera kyandituuse nabo ne batandika okusinza Yakuwa. Luusi ne Olupa baali baagala nnyo Nawomi. Enkolagana ennungi gye baalina ne Nawomi yabayamba nnyo bwe baafiirwa babbaabwe nga buli omu ku bo tannazaala mwana.Luus. 1:5.

8. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Luusi okwagala Yakuwa?

8 Luusi eddiini ye yali erina bw’esobola okumuyamba okugumira ennaku gye yalimu? Kirabika nedda. Abamowaabu baasinzanga bakatonda bangi, era katonda waabwe omukulu yali ayitibwa Kemosi. (Kubal. 21:29) Okufaananako amadiini amalala ag’omu kiseera ekyo, kirabika n’eddiini y’Abamowaabu yalimu ebikolwa eby’obukambwe, gamba ng’okusaddaaka abaana. Ebyo Maloni oba Nawomi bye baayogeranga ku Katonda wa Isiraeri omusaasizi era ow’okwagala biteekwa okuba nga byayamba Luusi okukiraba nti Yakuwa yali wa njawulo nnyo ku bakatonda abalala. Yakitegeera nti Yakuwa ayagala abantu bamuweereze olw’okuba bamwagala, so si lwa kutya. (Soma Ekyamateeka 6:5.) Nga Luusi amaze okufiirwa bba, enkolagana ye ne Nawomi eyinza okuba nga yeeyongera okuba ey’oku lusegere, era ayinza okuba nga yassangayo nnyo omwoyo nga nnyazaala we ayogera ku Yakuwa Katonda omuyinza w’ebintu byonna, ne ku bikolwa bye eby’ekitalo, era ne ku ngeri gye yalagangamu abantu be ekisa n’okwagala.

Enkolagana ya Luusi ne Nawomi yeeyongera okuba ey’oku lusegere mu biseera ebizibu

9-11. (a) Nawomi, Luusi, ne Olupa baasalawo kukola ki? (b) Kiki kye tuyigira ku bizibu Nawomi, Luusi, ne Olupa bye baafuna?

9 Nawomi yali ayagala nnyo okumanya ebifa ewaabwe. Lumu yafuna amawulire, oboolyawo ku basuubuzi, nti mu Isiraeri waali tewakyaliyo njala. Yakuwa yali ajjukidde abantu be. Ekibuga Besirekemu kyali kizzeemu okutuukana n’erinnya lyakyo eritegeeza nti, “Awali Emmere.” Bwe kityo Nawomi yasalawo okuddayo ewaabwe.Luus. 1:6.

10 Luusi ne Olupa bandikoze ki? (Luus. 1:7) Ebizibu eby’amaanyi bye baali bafunye byali bibaleetedde okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Nawomi. Naye kirabika nti ekisa kya Nawomi n’okukkiriza okunywevu kwe yalina mu Yakuwa bye byaleetera Luusi okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ennyo ne Nawomi. Bannamwandu abo abasatu baasitula okugenda mu Yuda.

11 Bye tusoma mu kitabo kya Luusi bitujjukiza nti abantu abalungi n’ababi bafuna ebizibu eby’amaanyi. (Mub. 9:2, 11) Ate era bitulaga nti bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi, kiba kirungi okwekwata ku balala tusobole okubudaabudibwa, nnaddala abo abeesiga Yakuwa, Katonda Nawomi gwe yasinzanga.Nge. 17:17.

Luusi Yalina Okwagala Okutajjulukuka

12, 13. Lwaki Nawomi yagamba Luusi ne Olupa baddeyo ewaabwe mu kifo ky’okugenda naye, naye baamuddamu batya?

12 Nga batambuddeko akagendo akawera, Nawomi yatandika okulowooza ku bakaabaana be abo abaali bamwagala ennyo. Yali tayagala bulamu bwabwe bweyongere kukaluba. Bwe bandivudde mu nsi yaabwe ne bagenda naye e Besirekemu, kiki kye yandisobodde okubakolera?

13 Nawomi yalwaddaaki n’abagamba nti: ‘Muddeyo buli omu ku mmwe mu nnyumba ya nnyina: Mukama abakolere eby’ekisa nga mmwe bye mwakolera abafu era nange.’ Nawomi era yakiraga nti yalina essuubi nti Yakuwa yandibawadde abaami abalala ne batandika obulamu obuggya. Bayibuli egamba nti: “[N’abanywegera]; ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga.” Tekyewuunyisa nti Luusi ne Olupa baali baagala nnyo omukazi ono eyali ow’ekisa era ng’afaayo nnyo ku balala. Bombi baamuddamu nti: “Nedda; naye tuliddayo naawe eri abantu bo.”Luus. 1:8-10.

14, 15. (a) Olupa yaddayo eri baani? (b) Kiki Nawomi kye yagamba Luusi ng’agezaako okumumatiza okuddayo?

14 Wadde nga baayogera bwe batyo, Nawomi teyamatira. Yabagamba nti yali talina kya kubakolera mu Isiraeri, kubanga yali tasuubira kuddamu kufumbirwa, wadde okuzaala abaana be bandibadde bafumbirwa. Bye yayogera byakyoleka nti kyali kimuluma nnyo okuba nti yali tasobola kubalabirira. Olupa yakiraba nga Nawomi bye yali abagambye byalimu eggumba. Mu Mowaabu we waali ab’eŋŋanda ze, we waali nnyina, era yali alinayo n’aw’okubeera. Kyalabika ng’eky’amagezi okusigala mu Mowaabu. Bw’atyo mu nnaku ey’amaanyi yanywegera Nawomi okumusiibula era n’akyuka n’addayo.Luus. 1:11-14.

15 Ate ye Luusi ebigambo bya Nawomi yabitwala atya? Bayibuli egamba nti: ‘Naye Luusi n’amunywererako.’ Oboolyawo Nawomi yali atambuddeko akabanga n’alyoka alaba nti Luusi yali amugoberera. Awo Nawomi kwe kugamba Luusi nti: “Laba, muggya wo azzeeyo eri abantu be n’eri [bakatonda be]: naawe ddayo ogoberere muggya wo.” (Luus. 1:15) Ebigambo bya Nawomi bitulaga nti Olupa yali tazzeeyo eri bantu be bokka, wabula n’eri “bakatonda be.” Yali talaba buzibu bwonna mu kusigala ng’asinza Kemosi ne bakatonda abalala. Ne Luusi bw’atyo bwe yali akiraba?

16-18. (a) Luusi yayoleka atya okwagala okutajjulukuka? (b) Ekyokulabirako kya Luusi kituyigiriza ki ku kwagala okutajjulukuka? (Laba n’ebifaananyi by’abakazi abo ababiri.)

16 Nga bali awo ku luguudo, Luusi yatunuulira Nawomi n’obumalirivu. Yali ayagala nnyo Nawomi era yali ayagala nnyo ne Yakuwa, Katonda Nawomi gwe yali asinza; yagamba Nawomi nti: “Tonneegayirira kukuleka, n’okuddayo obutakugoberera: kubanga gy’onoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy’onoosulanga, gye nnaasulanga nze: abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange: gy’onoofiira, nze gye ndifiira, era gye balinziika: Mukama ankole bw’atyo era n’okusingawo, oba ng’ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa.”Luus. 1:16, 17.

“Abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange”

17 Ebigambo bya Luusi byali bya makulu nnyo, ne kiba nti wadde nga wayise emyaka nga 3,000 bukya afa, abantu bakyabijjukira. Byoleka okwagala okutajjulukuka. Okwagala Luusi kwe yalina eri Nawomi kwali kwa maanyi nnyo era nga kunywevu nnyo, ne kiba nti yali mumalirivu okumunywererako buli wonna we yandigenze. Kufa kwokka kwe kwandibaawukanyizza. Abantu ba Nawomi be bandifuuse abantu be, kubanga Luusi yali amaliridde okuleka buli kimu kye yali amanyi mu Mowaabu, nga mw’otwalidde ne bakatonda baayo. Luusi teyalinga Olupa. Ye yali ayagala Yakuwa Katonda wa Nawomi y’aba abeera Katonda we. *

18 Nga basigadde babiri, beeyongerayo ku lugendo lwabwe olwali lubatwala e Besirekemu. Abamu bagamba nti olugendo olwo luyinza okuba nga lwabatwalira wiiki nnamba. Awatali kubuusabuusa buli omu ku bakazi abo yayamba munne okugumira ennaku gye yalimu.

19. Okwagala okutajjulukuka ng’okwo Luusi kwe yayoleka tuyinza tutya okukwoleka mu maka, mu nkolagana yaffe ne mikwano gyaffe, era ne mu kibiina?

19 Mu nsi mulimu ebireeta ennaku bingi. Mu kiseera kino Bayibuli ky’eyita “ebiseera ebizibu,” twolekagana n’ebizibu bingi nga mw’otwalidde n’eky’okufiirwa abaagalwa baffe. (2 Tim. 3:1) Okwagala ng’okwo Luusi kwe yayoleka tukwetaaga nnyo mu kiseera kino. Okwagala okwo okutajjulukuka—okwagala okunywerera ddala ku kintu obutakita—kwetaagibwa nnyo mu nsi eno embi ennyo bw’eti. Tukwetaaga mu bufumbo, tukwetaaga mu nkolagana yaffe n’ab’eŋŋanda zaffe awamu ne mikwano gyaffe, era tukwetaaga ne mu kibiina Ekikristaayo. (Soma 1 Yokaana 4:7, 8, 20.) Bwe tufuba okwoleka okwagala ng’okwo, tuba tukoppa Luusi.

Luusi ne Nawomi mu Besirekemu

20-22. (a) Ebizibu Nawomi bye yafuna ng’ali mu Mowaabu byamuyisa bitya? (b) Ndowooza ki enkyamu Nawomi gye yalina? (Laba ne Yakobo 1:13.)

20 Kyangu omuntu okusuubiza omulala nti ajja kumulaga okwagala okutajjulukuka, naye n’alemwa okukituukiriza. Luusi kati yali agenda kukiraga obanga ddala yalina okwagala okutajjulukuka eri Nawomi n’eri Yakuwa, Katonda gwe yali asazeewo okuweereza.

21 Abakazi abo ababiri baalwaddaaki ne batuuka e Besirekemu, akabuga akaali mayiro nga mukaaga ebukiikaddyo wa Yerusaalemi. Kirabika Nawomi n’omwami we baali bamanyiddwa nnyo mu kabuga ako, kubanga bwe yatuuka, buli wamu baali boogera ku ye. Abakazi baamutunuuliranga ne bagamba nti, ‘Ono ye Nawomi?’ Kirabika endabika ye yali ekyuse nnyo olw’ebizibu ebingi ebyamutuukako ng’ali mu Mowaabu.Luus. 1:19.

22 Nawomi yalombojjera ab’eŋŋanda ze ne baliraanwa be ebizibu bye yali ayiseemu. Era yabagamba balekere awo n’okumuyita Nawomi ekitegeeza “Okusanyuka Kwange,” wabula bamuyite Mala ekitegeeza “Okulumwa.” Mukazi wattu! Okufaananako Yobu, Nawomi naye yali alowooza nti ebizibu eby’amaanyi ebyamutuukako, Yakuwa Katonda ye yali abimuleetedde.Luus. 1:20, 21; Yob. 2:10; 13:24-26.

23. Kiki Luusi kye yatandika okulowoozaako, era mu Mateeka ga Musa mwalimu nteekateeka ki ey’okuyamba abaavu? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

23 Nga bamaze ekiseera kitono mu Besirekemu, Luusi yatandika okulowooza ku ngeri gye yandisobodde okweyimirizaawo awamu ne Nawomi. Yakitegeerako nti mu mateeka Yakuwa ge yawa Abaisiraeri mwalimu etteeka eryogera ku nteekateeka ey’okuyamba abaavu. Mu kiseera eky’amakungula abaavu bakkirizibwanga okugenda mu nnimiro z’abalala ne balonderera ebyo abakunguzi bye baabanga balese emabega, n’ebyo ebyabanga ku nsalosalo ne ku nsonda z’ennimiro. *Leev. 19:9, 10; Ma. 24:19-21.

24, 25. Luusi yakola ki ng’atuuse mu nnimiro ya Bowaazi, era omulimu gw’okulonderera gwabanga gutya?

24 Awo nga mu Apuli ku kalenda gye tugoberera, ekiseera mwe baakunguliranga sayiri, Luusi yagenda mu malimiro alabe obanga wandibaddewo amukkirizza okulonderera mu nnimiro ye. Yeesanga ng’ennimiro gye yagendamu yali ya Bowaazi, omusajja omugagga eyalina oluganda ku Erimereki eyali bba wa Nawomi. Wadde ng’etteeka lyali limukkiriza okulonderera, yasooka kusaba lukusa okuva eri omusajja eyali akulira abakozi. Yamukkiriza, era bw’atyo n’atandikirawo okulonderera.Luus. 1:22–2:3, 7.

25 Kuba akafaananyi ng’abakunguzi basala sayiri, nga Luusi abavaako ennyuma ng’agenda alonderera gwe balese emabega. Amukuŋŋaanya n’amusiba mu binywa n’amutwala w’anaamuwuulira. Omulimu gw’okulonderera tegwabanga mwangu, era gweyongeranga okukaluba ng’omusana gukaalaamye. Kyokka Luusi yalonderera awatali kuyimiriramu oba kuwummulamu okuggyako nga yeesiimuula ntuuyo, oba ng’agenda kufuna kya kulya “mu nnyumba”—oboolyawo ng’omwo abakozi mwe baawummulirangako.

Luusi yali mwetegefu okukola emirimu egya wansi okusobola okwebeesaawo ye n’okulabirira Nawomi

26, 27. Bowaazi yali musajja wa ngeri ki, era yayisa atya Luusi?

26 Oboolyawo Luusi yali tasuubira nti waaliwo omuntu yenna eyali ayinza okumussaako ebirowoozo. Naye Bowaazi yamussaako ebirowoozo era n’abuuza omusajja eyali akulira abakozi amubuulire ebimukwatako. Bowaazi yalamusa abakozi be, (ng’oboolyawo abamu baali bapakasi abaakoleranga empeera ey’olunaku sinakindi nga bagwira,) ng’abagamba nti: ‘Yakuwa abeere nammwe.’ Nabo ne bamuddamu nti: ‘Yakuwa akuwe omukisa.’ Omusajja ono eyali ayagala ennyo Yakuwa, yafaayo ku Luusi.Luus. 2:4-7.

27 Bowaazi yayogera ne Luusi ng’omuzadde bw’ayogera ne muwala we, era n’amugamba nti yali wa ddembe okujjanga okulonderera mu nnimiro ze. Yamuwa amagezi abeerenga kumpi n’abawala ab’omu nnyumba ye, waleme kubaawo mukozi n’omu amuteganya, era yamuwa n’eky’emisana. (Soma Luusi 2:8, 9, 14.) Ate era yamulaga nti yali asiima by’akola era n’amuzzaamu amaanyi. Atya?

28, 29. (a) Luusi yeekolera linnya lya ngeri ki? (b) Okufaananako Luusi, oyinza otya okufuula Yakuwa ekiddukiro kyo?

28 Luusi bwe yabuuza Bowaazi ensonga lwaki yamufaako bw’atyo wadde nga yali mugwira, Bowaazi yamuddamu nti yali awulidde ebirungi bye yali akoledde nnyazaala we Nawomi. Kirabika Nawomi yatenderanga abakazi b’omu Besirekemu ebirungi Luusi bye yali amukolera, era ebigambo ebyo ne bituuka ne ku Bowaazi. Ate era Bowaazi yali akitegeddeko nti Luusi yali asazeewo okusinza Yakuwa, kubanga yagamba nti: “Yakuwa akusasule olw’ebyo by’okola, era Yakuwa Katonda wa Isiraeri gwe weeyuna okukukuuma akuwe empeera enzijuvu.”Luus. 2:12, NW.

29 Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Luusi amaanyi! Yali addukidde eri Yakuwa Katonda afune obukuumi ng’obukoko bwe buyingira mu biwaawaatiro bya maama waabwo bufune obukuumi. Yeebaza Bowaazi olw’okumugamba ebigambo ebyamuzzaamu amaanyi, era yeeyongera okulonderera okutuukira ddala akawungeezi.Luus. 2:13, 17.

30, 31. Luusi atuteerawo kyakulabirako ki ku ngeri y’okukolamu emirimu, okuba n’omutima ogusiima, n’okwoleka okwagala okutajjulukuka?

30 Ebyo Luusi bye yakola bituyigiriza bingi, naddala mu kiseera kino ng’eby’enfuna bizibuwadde nnyo. Teyalina ndowooza nti abalala baalina okumuyamba olw’okuba yali nnamwandu, era yasiimanga ebyo byonna abantu abalala bye baamukoleranga. Wadde ng’emirimu gye yakolanga gyali gya wansi, tekyamukwasanga nsonyi kukola nnyo okusobola okulabirira Nawomi. Bwe yaweebwa amagezi agandimuyambye okwewala okugwa mu buzibu, yagasiima era n’agakolerako. N’ekisinga obukulu, teyakyerabira nti Kitaawe, Yakuwa Katonda, ye yali ekiddukiro kye.

31 Bwe twoleka okwagala okutajjulukuka nga Luusi, ne tuba beetoowaze, ne tuba bakozi, era ne tuba nga tusiima enkizo ey’okuweereza Yakuwa, tujja kuba n’okukkiriza okunywevu, era tujja kuba kyakulabirako kirungi eri abalala. Naye tuyinza okwebuuza nti, Yakuwa yalabirira atya Luusi ne Nawomi? Ensonga eyo egenda kwogerwako mu ssuula eddako.

^ lup. 17 Weetegereze nti Luusi bwe yali ayogera teyagamba bugambi nti “Katonda” ng’abagwira bangi bwe bandikoze, wabula yakozesa n’erinnya lya Katonda, Yakuwa. Ekitabo ekiyitibwa The Interpreter’s Bible kigamba nti: ‘Omuwandiisi yali akiggumiza nti omugwira ono yali asinza Katonda ow’amazima.’

^ lup. 23 Etteeka eryo lyali ddungi nnyo, era awatali kubuusabuusa mu Mowaabu tewaaliyo tteeka lirifaanana. Mu nsi ezaali ziriraanye Isiraeri, bannamwandu tebaayisibwanga bulungi. Ekitabo ekimu kigamba nti: “Omukazi bwe yafiirwanga bba, essuubi lye lyabanga mu baana be ab’obulenzi; bw’ataabanga nabo, yafuukanga muddu oba malaaya, oba yabanga asigalidde kufa.”