Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 60

Obwakabaka Obulibeerawo Emirembe n’Emirembe

Obwakabaka Obulibeerawo Emirembe n’Emirembe

Lumu ekiro, Kabaka Nebukadduneeza yaloota ekirooto eky’entiisa. Ekirooto ekyo kyamweraliikiriza nnyo n’abulwa otulo. Yayita abasajja be abaakolanga eby’obufumu n’abagamba nti: ‘Mumbuulire amakulu g’ekirooto kye nnaloose.’ Baamugamba nti: ‘Ai kabaka, tubuulire kye waloose.’ Naye Nebukadduneeza yabagamba nti: ‘Nedda! Mmwe mumbuulire kye nnaloose, era bwe mutambuulira ŋŋenda kubatta.’ Baddamu okumugamba nti: ‘Tubuulire ekirooto kye waloose, tukubuulire amakulu gaakyo.’ Yabagamba nti: ‘Mulabika mwagala kunnimbalimba. Mumbuulire kye nnaloose!’ Baagamba kabaka nti: ‘Tewali muntu n’omu ku nsi asobola kukola ekyo ky’osaba. Ky’otugamba okukola tekisoboka.’

Nebukadduneeza yasunguwala nnyo n’alagira nti abasajja bonna abagezigezi battibwe. Mu abo abaali bagenda okuttibwa mwalimu Danyeri, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. Danyeri yasaba kabaka abaweeyo ekiseera. Danyeri ne banne baasaba Yakuwa abayambe. Yakuwa yabayamba atya?

Okuyitira mu kwolesebwa, Yakuwa yalaga Danyeri ekirooto kya Nebukadduneeza era n’amuyamba okutegeera amakulu gaakyo. Ku lunaku olwaddako Danyeri yagenda eri omuweereza wa kabaka n’amugamba nti: ‘Totta basajja abagezigezi. Nsobola okunnyonnyola amakulu g’ekirooto kabaka kye yaloose.’ Omuweereza wa kabaka yatwala Danyeri eri Nebukadduneeza. Danyeri yagamba kabaka nti: ‘Katonda akulaze ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso. Kino kye kirooto kye waloose: Walabye ekibumbe ekinene; omutwe gwakyo gwabadde gwa zzaabu, ekifuba kyakyo n’emikono gyakyo nga bya ffeeza, olubuto lwakyo n’ebisambi byakyo nga bya kikomo, amagulu gaakyo nga ga kyuma, ate ebigere byakyo awamu byabadde bya kyuma ate ng’awalala bya bbumba. Ejjinja lyatemeddwa ku lusozi, ne likuba ebigere by’ekibumbe. Ekibumbe kyabetenteddwa ne kifuuka ng’ebisusunku era empewo n’ebifuuwa n’ebitwala. Ejjinja eryo lyafuuse olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.’

Oluvannyuma Danyeri yagamba nti: ‘Amakulu g’ekirooto kyo ge gano: Omutwe ogwa zzaabu gukiikirira obwakabaka bwo. Ffeeza akiikirira obwakabaka obujja okuddirira obubwo. Era wajja kubaawo obwakabaka obulala obulinga ekikomo, obujja okufuga ensi yonna. Obwakabaka obulibuddirira buliba bwa maanyi ng’ekyuma. N’oluvannyuma wajja kubaawo obwakabaka obujja okuba nga bweyawuddeyawuddemu, ng’ebitundu byabwo ebimu bya maanyi ng’ekyuma ate ng’ebirala binafu ng’ebbumba. Ejjinja eryafuuka olusozi olunene likiikirira Obwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka bwa Katonda bujja kubetenta obwakabaka obwo bwonna, era bwo bujja kubeerawo emirembe n’emirembe.’

Nebukadduneeza yavunnama mu maaso ga Danyeri n’amugamba nti: ‘Katonda wo ye yakubikkulidde ekirooto kino. Tewali katonda alinga Katonda wo.’ Mu kifo ky’okutta Danyeri, Nebukadduneeza yamufuula omukulu w’abasajja bonna abagezigezi era n’amuwa okufuga essaza lyonna erya Babulooni. Olabye engeri Yakuwa gye yaddamu essaala ya Danyeri?

“Ne bibakuŋŋaanya wamu mu kifo ekiyitibwa Amagedoni mu Lwebbulaniya.”​—Okubikkulirwa 16:16