Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 6

Okuzaala Kuleetawo Enkyukakyuka mu Bufumbo

Okuzaala Kuleetawo Enkyukakyuka mu Bufumbo

“Abaana bwe busika bwa mukama.”—Zabbuli 127:3

Okuzaala omwana kiyinza okuleetera abafumbo essanyu ate mu kiseera kye kimu ne kibaleetera okweraliikirira. Olw’okuba mwakafuuka abazadde, muyinza okukisanga nti amaanyi gammwe n’ebiseera byammwe ebisinga mubimalira mu kulabirira mwana wammwe. Okwebaka ekiseera ekitono kiyinza okubaleetera okuwulira nga muli bakoowu era muyinza obutafuna kiseera kimala kubeerako wamu. Okusobola okulabirira omwana wammwe era n’okukuuma obufumbo bwammwe, mwembi kijja kubeetaagisa okubaako enkyukakyuka ze mukola. Amagezi agali mu Bayibuli gayinza gatya okubayamba?

1 MUMANYE NTI WAJJA KUBAAWO ENKYUKAKYUKA

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa.” Ate era, okwagala ‘tekwenoonyeza byakwo era tekunyiiga.’ (1 Abakkolinso 13:4, 5) Ng’omukyala, kya bulijjo okwagala ennyo omwana wo gwe waakazaala n’okumufaako buli kiseera. Kyokka, kijjukire nti omwami wo ayinza okuwulira nga takyafiibwako, n’olwekyo naye mufissizzeewo akadde. Bw’oyoleka obugumiikiriza n’ekisa, ayinza okukiraba nti afiibwako era nti mukolera wamu okulabirira omwana wammwe.

“Nammwe abaami, mubeerenga n’abakazi bammwe nga mubategeera bulungi.” (1 Peetero 3:7) Kimanye nti mukyala wo ebiseera ebisinga ajja kubimala ng’alabirira omwana wammwe. Olw’okuba aba n’eby’okukola bingi ayinza okukoowa ennyo era n’okweraliikirira. Ebiseera ebimu, ayinza n’okukukambuwalira, naye sigala ng’oli mukkakkamu kubanga omuntu “alwawo okusunguwala asinga ab’amaanyi.” (Engero 16:32) Tobeera mukakanyavu, muyambeko ku mirimu. —Engero 14:29.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Omwami: Yambako mukyala wo okulabirira omwana wammwe, ne mu budde obw’ekiro. Kendeeza ku biseera by’omala ng’okola ebintu ebirala osobole okufuna obudde okubeerako ne mukyala wo awamu n’omwana wammwe

  • Omukyala: Omwami wo bw’akusaba okukuyambako okulabirira omwana wammwe, kkiriza. Bw’aba nga ky’akola takikola bulungi tomunenya, wabula mu ngeri ey’obukkakkamu mulage engeri gy’ayinza okukikolamu

2 MUNYWEZE ENKOLAGANA YAMMWE

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Banaabanga omubiri gumu.” (Olubereberye 2:24) Ne bwe mufuna, omwana bulijjo mukijjukire nti mukyali “omubiri gumu.” Mufube okulaba nti munyweza enkolagana yammwe.

Abakyala musaanidde okusiima abaami bammwe olw’engeri gye babayambamu. Ebigambo bye mukozesa biyinza okubazzaamu amaanyi. (Engero 12:18) Abaami mukakase bakyala bammwe nti mubaagala nnyo era nti ba muwendo. Mubasiime olw’ebyo bye bakola okulabirira amaka gammwe.—Engero 31:10, 28.

“Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye ebigasa abalala.” (1 Abakkolinso 10:24) Bulijjo kolera munno ekisingayo obulungi. Nyumyako naye, musiime olw’ebyo by’akola, era muwulirize bulungi bw’abaako ky’akugamba. Bwe kituuka ku nsonga z’okwegatta teweefaako wekka. Faayo ku nneewulira ya munno. Bayibuli egamba: “Buli omu tammanga munne, okuggyako nga waliwo ekiseera kye mulagaanye.” (1 Abakkolinso 7:3-5) N’olwekyo, temutya kwogera ku nsonga eyo. Buli omu abe mugumiikiriza era mwesimbu eri munne. Bwe munaakola bwe mutyo mujja kunyweza obufumbo bwammwe.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Munno mufissizeewo akadde

  • Baako obuntu obutonotono bw’okola obuleetera munno okuwulira nti omwagala nnyo, gamba ng’okumuwa akalabo oba okumuweereza ka mesegi

3 OKUTENDEKA OMWANA WAMMWE

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Okuva mu buwere wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu ebisobola okukufuula omugezi n’ofuna obulokozi.” (2 Timoseewo 3:15) Mukole enteekateeka ey’okutendeka omwana wammwe. Omwana asobola okuyiga ne bw’aba nga tannazaalibwa. Bw’oba oli lubuto omwana wo asobola okutegeera eddoboozi lyo era ebintu ebimu by’okola birina engeri gye bimukwatako. Mumusomere ebitabo ne bw’aba ng’akyali muwere. Wadde ng’ayinza obutategeera bye mumusomera, ayinza okunyumirwa okusoma ng’akuze.

Ate era omwana asobola n’okuyiga ebikwata ku Katonda wadde ng’akyali muwere. Bwe muba musaba Yakuwa, musabe mu ddoboozi eriwulikika asobole okubawulira. (Ekyamateeka 11:19) Bwe muba muzannya n’omwana wammwe, mwogere ku bintu Katonda bye yatonda. (Zabbuli 78:3, 4) Omwana wammwe bw’anaagenda akula, ajja kukiraba nti mwagala Yakuwa era naye ajja kumwagala.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Musabe Yakuwa abawe amagezi ge mwetaaga okusobola okutendeka omwana wammwe

  • Bwe muba muyigiriza omwana wammwe omuwere, muddiŋŋane ebigambo asobole okubiyiga amangu