Matayo 13:1-58

  • ENGERO EZIKWATA KU BWAKABAKA (1-52)

    • Omusizi (1-9)

    • Ensonga lwaki Yesu yakozesanga engero (10-17)

    • Olugero lw’omusizi lunnyonnyolwa (18-23)

    • Eŋŋaano n’omuddo (24-30)

    • Akasigo ka kalidaali n’ekizimbulukusa (31-33)

    • Okukozesa engero kituukiriza bunnabbi (34, 35)

    • Olugero lw’eŋŋaano n’omuddo lunnyonnyolwa (36-43)

    • Eky’obugagga ekyakwekebwa ne luulu ennungi (44-46)

    • Akatimba (47-50)

    • Ebintu eby’omuwendo ebipya n’ebikadde (51, 52)

  • Ab’omu kitundu ky’ewaabwe bagaana okumukkiriza (53-58)

13  Ku lunaku olwo Yesu yava mu nju, n’agenda n’atuula ku lubalama lw’ennyanja.  Awo ekibiina ky’abantu ne kijja w’ali, n’alinnya eryato n’atuula omwo; ekibiina kyonna kyali kiyimiridde ku lubalama.+  Awo n’ababuulira ebintu bingi ng’akozesa engero+ ng’agamba nti: “Laba! Omusizi yagenda okusiga,+  era bwe yali asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ebinyonyi ne bijja ne bizirya.+  Endala ne zigwa awali enjazi awataali ttaka lingi, amangu ago ne zimera kubanga ettaka lyali ttono.+  Naye enjuba bwe yavaayo, yazookya ne zikala olw’okuba zaali tezirina mirandira.  Endala ne zigwa mu maggwa, amaggwa ne gakula ne gazitta.+  Ate endala ne zigwa ku ttaka eddungi ne zitandika okubala ebibala, emu n’ebala n’ekubisaamu emirundi 100, endala emirundi 60, ate endala emirundi 30.+  Oyo alina amatu awulire.”+ 10  Awo abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti: “Lwaki oyogera nabo ng’okozesa engero?”+ 11  N’abaddamu nti: “Mmwe muweereddwa okutegeera ebyama ebitukuvu+ eby’Obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tekibaweereddwa. 12  Kubanga oyo alina ajja kwongerwako abe na bingi, naye oyo atalina, n’ekyo ky’alina kijja kumuggibwako.+ 13  Eyo ye nsonga lwaki njogera nabo nga nkozesa engero, kubanga batunula naye tebalaba, bawuliriza naye tebawulira, era tebategeera makulu gaabyo.+ 14  Obunnabbi bwa Isaaya butuukiridde ku bo. Bugamba nti: ‘Okuwulira muliwulira naye temulitegeera makulu, n’okutunula mulitunula naye temuliraba.+ 15  Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye; bawulidde n’amatu gaabwe naye tewali kye bakolawo; bazibirizza amaaso gaabwe baleme okulaba n’amaaso gaabwe era n’okuwulira n’amatu gaabwe bafune amakulu mu mitima gyabwe bakyuke mbawonye.’+ 16  “Naye mulina essanyu kubanga amaaso gammwe galaba, n’amatu gammwe gawulira.+ 17  Mazima mbagamba nti bannabbi bangi n’abantu abatuukirivu beegomba okulaba ebintu bye mulaba naye ne batabiraba,+ era n’okuwulira ebintu bye muwulira naye ne batabiwulira. 18  “Kale mmwe, muwulire olugero olw’omuntu eyasiga ensigo.+ 19  Omuntu awulira ekigambo ky’Obwakabaka naye n’atategeera makulu gaakyo, omubi+ ajja n’anyakula ekisigiddwa mu mutima gwe; oyo ye nsigo eyasigibwa ku mabbali g’ekkubo.+ 20  Ate eyo eyasigibwa awali enjazi, y’oyo awulira ekigambo amangu ago n’akikkiriza n’essanyu.+ 21  Naye taba na mirandira era abaawo akaseera katono; bwe wabaawo okubonaabona oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo, amangu ago yeesittala. 22  Ate eyo eyasigibwa mu maggwa, y’oyo awulira ekigambo, naye okweraliikirira okw’omu kiseera kino*+ n’obulimba bw’obugagga bizisa ekigambo ne kitabala.+ 23  Eyo eyasigibwa mu ttaka eddungi, y’oyo awulira ekigambo n’ategeera amakulu gaakyo, n’abalira ddala ebibala bingi; omu abala n’akubisaamu emirundi 100, omulala emirundi 60, ate omulala emirundi 30.”+ 24  N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa ku muntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye. 25  Abantu bwe baali beebase, omulabe we n’ajja n’asiga omuddo* mu ŋŋaano n’agenda. 26  Bwe byakula ne bibala, omuddo ne gulabika. 27  Abaddu ba nnannyini nnimiro ne bajja ne bamugamba nti, ‘Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Kati olwo ejja etya okubaamu omuddo?’ 28  N’abagamba nti, ‘Ekyo omulabe ye yakikola.’+ Ne bamuddamu nti, ‘Oyagala tugende tugukuulemu?’ 29  N’abagamba nti, ‘Nedda; kubanga bwe munaaba mugukuulamu muyinza okukuuliramu eŋŋaano. 30  Mubireke bikulire wamu okutuusa ku makungula, era mu kiseera eky’amakungula ndigamba abakunguzi nti: Musooke mukuŋŋaanye omuddo, mugusibe mu binywa gwokebwe, oluvannyuma mulyoke mukuŋŋaanyize eŋŋaano mu tterekero lyange.’”+ 31  N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga akasigo ka kalidaali omuntu ke yasimba mu nnimiro ye;+ 32  kano ke kasigo akasingayo obutono mu nsigo zonna, naye bwe kakula kaba kanene okusinga ebimera byonna ebiriibwa enva, era kafuuka omuti ebinyonyi eby’omu bbanga kwe bijja ne bibeera mu matabi gaagwo.” 33  N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga ekizimbulukusa omukazi kye yatabula mu bipimo bisatu eby’obuwunga, okutuusa ekitole kyonna lwe kyazimbulukuka.”+ 34  Ebintu bino byonna Yesu yabibuulira abantu mu ngero. Mu butuufu, teyayogeranga nabo nga takozesezza ngero,+ 35  ebyo nnabbi bye yayogera ne bituukirira, ebigamba nti: “Ndyogera nga nkozesa ngero; ndimanyisa ebintu ebyakwekebwa okuva ku ntandikwa.”*+ 36  Bwe yamala okusiibula ebibiina, n’agenda mu nnyumba. Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti: “Tunnyonnyole olugero lw’omuddo mu nnimiro.” 37  N’abaddamu nti: “Eyasiga ensigo ennungi ye Mwana w’omuntu; 38  ennimiro ye nsi.+ Ensigo ennungi be baana b’Obwakabaka, naye omuddo be baana b’omubi,+ 39  era omulabe eyagusiga ye Mulyolyomi. Amakungula ge mafundikira g’enteekateeka y’ebintu,* era abakunguzi be bamalayika. 40  Ng’omuddo bwe gukuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa, bwe kityo bwe kijja okuba mu mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.*+ 41  Omwana w’omuntu alituma bamalayika be ne baggya mu Bwakabaka bwe ebintu byonna ebyesittaza n’abantu abakola eby’obujeemu, 42  era balibasuula mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja.+ Eyo gye balikaabira era ne baluma obugigi. 43  Mu kiseera ekyo, abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba+ mu Bwakabaka bwa Kitaabwe. Oyo alina amatu awulire. 44  “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga eky’obugagga ekyakwekebwa mu kibanja, omuntu kye yazuula n’addamu n’akikweka; era olw’essanyu lye yalina yagenda n’atunda ebintu bye byonna n’agula ekibanja ekyo.+ 45  “Era Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga omusuubuzi eyali anoonya luulu ennungi. 46  Bwe yazuula luulu ey’omuwendo omungi, n’agenda amangu ago n’atunda ebintu byonna bye yalina n’agigula.+ 47  “Ate era, Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga akatimba akaategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri. 48  Bwe kajjula ne bakasikayo ne bakassa ku lukalu, ne batuula ne baawulamu ebyennyanja ebirungi+ ne babiteeka mu bisero, naye ebibi+ ne babisuula. 49  Bwe kityo bwe kiriba mu mafundikira g’enteekateeka y’ebintu:* bamalayika balyawula abantu ababi okuva mu batuukirivu 50  era balibasuula mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja. Eyo gye balikaabira era ne baluma obugigi. 51  N’ababuuza nti: “Mutegedde amakulu g’ebintu bino byonna?” Ne bamugamba nti: “Tubitegedde.” 52  Awo n’abagamba nti: “Buli ayigiriza, bw’ayigirizibwa ebikwata ku Bwakabaka obw’omu ggulu, aba ng’omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebipya n’ebikadde.” 53  Yesu bwe yamala okubagerera engero ezo n’ava mu kitundu ekyo. 54  Bwe yatuuka mu kitundu ky’ewaabwe,+ n’atandika okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, ne bawuniikirira ne bagamba nti: “Omusajja ono yaggya wa amagezi gano n’obusobozi bw’okukola ebyamagero bino?+ 55  Ono si ye mwana w’omubazzi?+ Maama we si ye Maliyamu, era Yakobo, Yusufu, Simooni ne Yuda si be baganda be?+ 56  Ne bannyina bonna tebali naffe? Kati olwo yaggya wa ebintu bino byonna?”+ 57  Ne bagaana okumukkiririzaamu.+ Naye Yesu n’abagamba nti: “Nnabbi assibwamu ekitiibwa buli wamu, okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe ne mu b’omu nnyumba ye.”+ 58  Era teyakolerayo byamagero bingi kubanga tebaalina kukkiriza.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “nteekateeka y’ebintu eno.” Laba Awanny.
Kino kika kya muddo ogw’obutwa ogufaanana ng’eŋŋaano.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku ntandikwa y’ensi.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Laba Awanny.