Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 96

Ekitabo kya Katonda​—Kya Bugagga

Ekitabo kya Katonda​—Kya Bugagga

(Engero 2:1)

  1. 1. Waliwo ekitabo ekireeta

    Eri bonna essuubi n’essanyu.

    Kirimu obubaka obw’amaanyi;

    Buzibula ’maaso; bwa bulamu.

    Ekitabo ekyo ye Bayibuli.

    Katonda yaluŋŋamya ’bantu be

    Abamwagala ne bakiwandiika.

    Yabawa amaanyi g’omwoyo gwe.

  2. 2. Baawandiika ebintu ebituufu;

    Obutonde ’ngeri gye bwajjawo.

    Boogera ne ku muntu eyasooka

    Ng’olusuku bwe lwamuggibwako.

    Boogera ne ku malayika omu

    Oyo eyasoomooza Katonda.

    Kyavaako ekibi n’ennaku nnyingi,

    Naye Yakuwa anaabikomya.

  3. 3. Leero tuli mu kiseera kya ssanyu;

    Mukama waffe Kristo afuga.

    Tubuulira ’bantu ku Bwakabaka

    Bwa Katonda ne bye bunaakola.

    Ekitabo kya Katonda makula;

    Tuganyulwa nnyo bwe tukisoma.

    Kiwa ’bantu emirembe gya nsusso;

    Ka kisomebwenga buli muntu.