Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 48

Okutambula ne Yakuwa Buli Lunaku

Okutambula ne Yakuwa Buli Lunaku

(Mikka 6:8)

  1. 1. Twekwatenga ku Yakuwa,

    Tube nga tutambula naye.

    Ekisa nga kya nsusso nnyo

    Ky’alaga ’batambula naye!

    Akoze enteekateeka

    Ezituganyula ffe,

    Era twewaddeyo gy’ali;

    Ye yekka kwe tunyweredde.

  2. 2. ’Nnaku zino ze tulimu,

    Ng’enkomerero esembera,

    Tulina ’batuziyiza;

    Bagezaako ’kutulemesa.

    Naye Yakuwa ’tukuuma;

    Twongere ’kumwesiga,

    Tube bawulize gy’ali.

    Tumunywerereko ddala.

  3. 3. Atuyamba ng’ayitira

    Mu mwoyo gwe n’Ekigambo kye.

    Ayitira mu kibiina;

    Addamu okusaba kwaffe;

    Era bw’atyo atuyamba

    Tukole ebirungi.

    Tubenga beesigwa gy’ali

    Era tube beetoowaze.