Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 20

Wawaayo Omwana Wo Gw’Oyagala Ennyo

Wawaayo Omwana Wo Gw’Oyagala Ennyo

(1 Yokaana 4:9)

  1. 1. Yakuwa Kitaffe,

    Twali mu mbeera mbi

    N’otuwa essuubi

    ’Kkakafu ddala.

    Obulamu bwaffe

    Twabuwaayo gy’oli.

    Tuyamba ’balala

    Bakole kye kimu.

    (CHORUS)

    Wawaayo ’Mwana wo;

    Tukutendereza

    Era tunaakutenda

    emirembe n’emirembe.

  2. 2. Ekisa ky’olaga

    Kitukutteko nnyo.

    Teriiyo kirabo

    Kisinga kino.

    Wawaayo ’Mwana wo

    Gw’osing’o kwagala.

    Wamutuma ku nsi

    Okutufiirira.

    (CHORUS)

    Wawaayo ’Mwana wo;

    Tukutendereza

    Era tunaakutenda

    emirembe n’emirembe.

    (EBIFUNDIKIRA)

    Yakuwa Kitaffe, tusiima nnyo ddala.

    Wawaayo Omwana wo gw’oyagala ennyo.

(Laba ne Yok. 3:16; 15:13.)