Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 129

Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

(Matayo 24:13)

  1. 1. Yesu yayita

    Mu kugezesebwa kungi;

    Naffe tuyinza

    ’Kugumiikiriza nga ye.

    Teyaggwaamu maanyi;

    Yagumiikiriza.

    (CHORUS)

    Okugumiikiriza

    Kikulu nnyo ddala.

    Katonda atwagala;

    Tujja kumunywererako ddala.

  2. 2. Wadde nga tuli

    Mu bulumi bungi kati;

    ’Maaso waliyo

    ’Bulamu obweyagaza.

    Tugumiikirize;

    Tujja kubufuna.

    (CHORUS)

    Okugumiikiriza

    Kikulu nnyo ddala.

    Katonda atwagala;

    Tujja kumunywererako ddala.

  3. 3. Tetujja kutya

    Wadde okubuusabuusa.

    Tumaliridde

    Okubeera abeesigwa.

    Yo enkomerero

    Eri kumpi ddala.

    (CHORUS)

    Okugumiikiriza

    Kikulu nnyo ddala.

    Katonda atwagala;

    Tujja kumunywererako ddala.