Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 105

“Katonda Kwagala”

“Katonda Kwagala”

(1 Yokaana 4:7, 8)

  1. 1. Katonda waffe kwagala,

    Naffe tukwolekenga.

    Bwe twoleka okwagala

    Era tuba ba kisa.

    Olwo ’bulamu ne buba

    Nga ddala bweyagaza.

    Okwagala ng’okwa Kristo

    Tuba tukwolesezza.

  2. 2. Katonda bwe tumwagala,

    Twagala n’abalala.

    Afaayo okutuyamba

    Mw’ebyo ebitulema.

    Okwagala kulongoofu;

    Kwa kisa; si kwa buggya.

    Bwe twagala ’b’oluganda

    Ffe tujj’o kuganyulwa.

  3. 3. Okusiba ekiruyi

    Kwewalirenga ddala.

    Katonda gw’oba weesiga,

    Era ’jja kukuyamba

    Okuyiga okwagala

    Era n’okukwoleka.

    Ka twagalenga ’balala

    Nga tukoppa Katonda.