Buuka ogende ku bubaka obulimu

Kyajjawo Kyokka?

Ebisolo eby'Oku Lukalu

Obwoya bw’Eŋŋonge ez’Omu Nnyanja

Ensolo ezimu ezibeera mu mazzi ziba n’amasavu mangi wansi w’oluliba lwazo agaziyamba okusigala nga zibuguma. Naye yo eŋŋonge ey’omu nnyanja erina kintu kirala ekigiyamba okusigala ng’ebuguma.

Ebiramu eby'Omu Mazzi

Obuguwa bwa Mussel

Mussel ekozesa obuguwa bwayo okwekwata ku bintu ebitali bimu. Okumanya enkula y’obuguwa obwo esobola okutuyamba mu kukwasa ebintu ku bizimbe ne mu kuyunga amagumba.

Enkula y’Amasonko g’Amakovu ag’Omu Nnyanja

Enkula y’amasonko eyamba okukuuma amakovu agagabeeramu.

Ebiwuka

Engeri Enjuki gy’Ebuukamu Obulungi Wadde ng’Eriyo Embuyaga​—Kyajjawo Kyokka?

Enjuki esobola etya okubuuka obulungi okusinga ennyonyi evugibwa abantu abalina obumanyirivu?

Engeri Enjuki gy’Egwa ku Kintu

Okukoppa engeri enjuki gy’egwa ku kintu kisobola kitya okuyamba bannassaayansi okulongoosa mu tekinologiya wa loboti ezibuuka?

Ebiwuka Byewala Bitya Okuba n’Akalippagano?

Ebiwuka byewala akalippagano. Ekyo bikisobola bitya?

Ensingo y’Ekiwuka

Ekiwuka kisobola kitya okusitula ekintu ekizitowa okukisinga?

Ekikakampa ky’Ekiwuka Ekiyitibwa Silver Ant eky’Omu Ddungu Sahara

Ekiwuka ekyo kye kimu ku biramu ebisinga okugumira ebbugumu eringi. Kiki ekiyamba ekiwuka ekyo okugumira ebbugumu eringi?

Obulamu bw’Ekika Ekimu eky’Ennyanyaagize

Ennyanyaagize eziyitibwa periodical cicada zimala emyaka egiri wakati wa 13 ne 17 mu ttaka oluvannyuma ne zirabika.

Ebimera

Ekibala Ekya Bbulu Ekiyitibwa Pollia

Ekibala ekiyitibwa Pollia tekiriimu nsaano ya bbulu, naye kirina langi ya bbulu esingayo obukwafu mu bimera byonna. Langi ya bbulu eyo eva wa?