Buuka ogende ku bubaka obulimu

Kiki Ekiyinza Okunnyamba Okufuna Essanyu? Ddiini, Katonda, oba Bayibuli?

Kiki Ekiyinza Okunnyamba Okufuna Essanyu? Ddiini, Katonda, oba Bayibuli?

Bayibuli ky’egamba

 Byonna bisobola okukuyamba. Wadde nga Bayibuli yawandiikibwa dda nnyo, esobola okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebisinga obukulu mu bulamu, ekyo ne kikuyamba okufuna essanyu. Lowooza ku bibuuzo bino Bayibuli by’eddamu.

  1.   Ddala Katonda gyali? Bayibuli egamba nti Katonda ye ‘yatonda ebintu byonna.’ (Okubikkulirwa 4:11) Olw’okuba Katonda ye yatutonda, amanyi bye twetaaga okusobola okubeera abasanyufu.

  2.   Katonda anfaako? Bayibuli egamba nti: “[Katonda] tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Katonda akufaako era ayagala okukuyamba okufuna essanyu mu bulamu.—Isaaya 48:17, 18; 1 Peetero 5:7.

  3.   Okumanya Katonda kiyinza kitya okunnyamba okuba omusanyufu? Katonda yatutonda nga tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo. Twetaaga okumanya ensonga lwaki yatutonda n’okumanya ekigendererwa ky’obulamu. (Matayo 5:3) Ate era twetaaga okumanya ebikwata ku Mutonzi waffe era n’okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye. Bw’ofuba okuyiga ebikwata ku Katonda, ajja kukuyamba okumumanya kubanga Bayibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”—Yakobo 4:8.

 Abantu bangi nnyo bakizudde nti okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda kibayambye okufuna essanyu. Wadde ng’okumanya ebikwata ku Katonda tekitegeeza nti tojja kufuna bizibu, amagezi agali mu Kigambo kye Bayibuli gajja kukuyamba

 Amadiini mangi agakozesa Bayibuli tegakolera ku ebyo by’eyigiriza. Naye eddiini ey’amazima ekolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli, ejja kukuyamba okumanya Katonda.