Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Bayibuli Kitabo Ekirimu Amagezi g’Abantu?

Ddala Bayibuli Kitabo Ekirimu Amagezi g’Abantu?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli era emanyiddwa ng’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Erimu ebigambo bingi eby’amagezi. Bayibuli yeeyogerako bw’eti: “Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Waliwo obukakafu bungi obulaga nti ekyo kituufu. Lowooza ku bino wammanga:

  •   Tewali muntu n’omu yali aleese bukakafu bulaga nti ebyafaayo ebiri mu Bayibuli si bituufu.

  •   Abantu abaakozesebwa mu kuwandiika Bayibuli baali beesimbu. Ekyo kiraga nti ebyo bye baawandiika byesigika.

  •   Bayibuli erina ensonga enkulu emu gy’eyogerako: eraga nti Katonda y’agwanidde okufuga abantu era nti okuyitira mu Bwakabaka obw’omu ggulu ajja kutuukiriza ekigendererwa kye.

  •   Wadde nga yawandiikibwa emyaka mingi emabega, Bayibuli teriimu ndowooza nkyamu bannassaayansi abaaliwo mu kiseera ekyo ze baalina.

  •   Ebyafaayo biraga nti obunnabbi obuli mu Bayibuli buzze butuukirira.