Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba Okuba n’Amaka Agalimu Essanyu?

Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba Okuba n’Amaka Agalimu Essanyu?

Bayibuli ky’egamba

 Yee. Gano ge gamu ku magezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli agayambye abasajja n’abakazi bukadde na bukadde okufuna essanyu mu maka gaabwe:

  1.   Muwandiise obufumbo bwammwe. Obufumbo obuwandiise mu mateeka bubaamu essanyu kubanga muba mweyamye okuba mwembi obulamu bwammwe bwonna.​—Matayo 19:4-6.

  2.   Mwagalane nnyo era muwaŋŋane ekitiibwa. Kino kizingiramu okuyisa omwami wo oba mukyala wo nga bwe wandyagadde akuyise.​—Matayo 7:12; Abeefeso 5:25, 33.

  3.   Mwewale ebigambo ebirumya. Munno ne bw’aba akoze ekintu ekikunyiiza, yogera mu ngeri ey’ekisa. (Abeefeso 4:31, 32) Mu Engero 15:1, Bayibuli egamba nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi, naye ekigambo eky’ekkayu kireeta obusungu.”

  4.   Buli omu abe mwesigwa eri munne. Weewale obwenzi era omukwano gwo gukuumire munno yekka. (Matayo 5:28) Bayibuli egamba nti: “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna, era ekitanda ky’abafumbo kibeerenga kirongoofu.”​—Abebbulaniya 13:4.

  5.   Mutendeke abaana bammwe nga mubalaga okwagala. Weewale okubakuza ekyejo, naye era toba mukambwe nnyo gye bali.​—Engero 29:15; Abakkolosaayi 3:21.