Buuka ogende ku bubaka obulimu

Amagombe Kye Ki? Ddala Kifo Abantu Gye Babonyaabonyezebwa Emirembe Gyonna?

Amagombe Kye Ki? Ddala Kifo Abantu Gye Babonyaabonyezebwa Emirembe Gyonna?

Bayibuli ky’egamba

 Enkyusa za Bayibuli ezimu zivvuunula ekigambo “Sheol” eky’Olwebbulaniya n’ekigambo “Hades” eky’Oluyonaani okutegeeza “omuliro,” naye ebigambo ebyo byombi bitegeeza amagombe. (Zabbuli 16:10; Ebikolwa 2:​27) Abantu bangi bakkiriza nti waliyo omuliro ogutazikira abantu gye babonyaabonyezebwa nga bwe kiragibwa mu kifaananyi ekiri mu kitundu kino. Kyokka, Bayibuli teyigiriza bw’etyo.

  1.   Abo abali emagombe tebaliiko kye bamanyi era tebasobola kuwulira bulumi. “Emagombe . . . teriiyo mulimu, wadde okukola enteekateeka, wadde okumanya, wadde amagezi.”​—⁠Omubuulizi 9:​10.

  2.   N’abantu abalungi nabo bagenda e magombe. Yakobo ne Yobu abaali abasajja abeesigwa baali bakimanyi nti bwe bandifudde bandigenze emagombe.​—Olubereberye 37:35; Yobu 14:13.

  3.   Okufa kye kibonerezo ekiweebwa omuntu olw’ekibi, so si kubonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira. “Oyo afudde aba takyaliko musango gwa kibi.”​—⁠Abaruumi 6:7.

  4.   Katonda omwenkanya tasobola kwokya bantu mu muliro ogutazikira. (Ekyamateeka 32:4) Adamu omuntu eyasooka bwe yayonoona, Katonda yamugamba nti ekibonerezo kye yandifunye kwe kufa aleme kuddamu kubaawo. Yamugamba nti: “Oli nfuufu era mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:​19) Katonda yandibadde mulimba singa yali agenda kwokya Adamu mu muliro ogutazikira.

  5.   Eky’okwokya abantu mu muliro ogutazikira, Katonda takirowoozanga nako. Enjigiriza ey’okubonyaabonya abantu mu muliro ogutazikira ekontana n’enjigiriza ya Bayibuli egamba nti “Katonda kwagala.”​—⁠1 Yokaana 4:8; Yeremiya 7:​31.