Buuka ogende ku bubaka obulimu

Enteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’Okuyigiriza Abantu Bayibuli Ebeera Etya?

Enteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’Okuyigiriza Abantu Bayibuli Ebeera Etya?

 Omuntu ayigirizibwa atya Bayibuli?

 Omusomesa ajja kukuyamba okuyiga Bayibuli ky’eyogera ku nsonga ezitali zimu. Nga mukozesa ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! ojja kugenda oyiga Bayibuli ky’eyigiriza n’engeri gy’eyinza okukuyambamu. Okumanya ebisingawo, laba vidiyo eno.

 Kinneetaagisa okusasula ssente okusobola okuyigirizibwa?

 Nedda. Tugoberera obulagirizi Yesu bwe yawa abayigirizwa be. Yagamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” (Matayo 10:8) Abasomesa baffe tebasasulwa, era tekikwetaagisa kusasula ssente okufuna Bayibuli oba ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

 Enteekateeka y’okuyigirizibwa Bayibuli emala bbanga ki?

 Enteekateeka y’okuyigirizibwa Bayibuli erimu amasomo 60. Gwe osalawo masomo ameka g’onooyiga buli wiiki, naye abayizi bangi bayiga essomo limu oba n’okusingawo buli wiiki.

 Ntandika ntya?

  1.  1. Jjuzaamu foomu eri ku mukutu. By’onojjuzaamu tujja kubikozesa okukola enteekateeka wabeewo akukubira essimu.

  2.  2. Omusomesa ajja kukubira essimu. Ajja kukunnyonnyola ebizingirwa mu kuyigirizibwa Bayibuli era addemu n’ebibuuzo by’oyinza okuba nabyo.

  3.  3. Gwe n’omusomesa wo mujja kukola enteekateeka ey’okuyiga. Musobola okuyiga maaso ku maaso, nga mukozesa essimu, video call, amabaluwa, oba email. Okuyiga kutera okutwala essaawa emu, naye kuyinza okutwala ekiseera ekimpiko oba ekiwavuko, okusinziira ku budde bwo.

 Nnyinza okusooka okulaba engeri gye mukikolamu nga sinnatandika kuyigirizibwa?

 Yee. Bw’oba oyagala okusooka okulaba engeri gye kikolebwamu, jjuzaamu foomu eri ku mukutu. Omusomesa bw’akukubira essimu, mutegeeza nti oyagala kusooka kulaba ngeri gye kikolebwamu olabe oba binaakunyumira. Ajja kukozesa brocuwa Nyumirwa obulamu emirembe gyonna! erimu amasomo agatandikirwako, olabe oba onoonyumirwa by’oyiga.

 Bwe nzikiriza okuyigirizibwa, nnaawalirizibwa okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa?

 Nedda. Abajulirwa ba Yakuwa twagala nnyo okuyigiriza abantu Bayibuli, naye tetuwaliriza muntu yenna kwegatta ku ddiini yaffe. Tulaga omuntu Bayibuli ky’egamba, nga tukimanyi nti buli muntu alina eddembe okwesalirawo ky’anakkiriza.​—1 Peetero 3:15.

 Nsobola okukozesa Bayibuli eyange?

 Yee, oyinza okukozesa enkyusa ya Bayibuli yonna gy’oyagala. Wadde nga twandyagadde okukozesa Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu evvuunuddwa mu ngeri entuufu era etegeerekeka obulungi, tukimanyi nti abantu bangi baagala okukozesa enkyusa ya Bayibuli gye baba bamanyidde.

 Nnyinza okuyita abalala ne banneegattako nga njigirizibwa?

 Yee. Oyinza okuyita ab’omu maka go bonna oba mikwano gyo ne bakwegattako.

 Watya ng’emabega nnayigako Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa? Nnyinza okuddamu okuyiga nabo?

 Yee. Mu butuufu, ojja kunyumirwa nnyo okuyiga Bayibuli okusinga bwe kyali emabega, kubanga enteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli erongooseddwamu okusobola okutuukana n’embeera z’abantu mu kiseera kino. Erimu vidiyo nnyingi, era muba mukubaganya birowoozo.

 Mulina enteekateeka ey’omuntu okuyiga Bayibuli nga tewaliiwo amuyigiriza?

 Yee. Wadde ng’abayizi bangi baganyulwa nnyo bwe bayambibwako omusomesa, abamu mu kusooka baba baagala okuyiga nga bali bokka. Mu kitundu Eby’Okukozesa mu Kuyiga Bayibuli, waliwo ebintu ebitali bimu ebisobola okukuyamba okuyiga Bayibuli. Bino bye bimu ku byo:

  •   Online Bible Study Lessons. Amasomo gano gaddamu ebibuuzo ebikulu, gamba nga: Katonda y’Ani? Lwaki waliwo ebintu ebibi n’okubonaabona? Katonda aliggyawo okubonaabona?

  •   Vidiyo Ezeesigamiziddwa ku Bayibuli. Vidiyo zino ennyimpimpi zinnyonnyola enjigiriza za Bayibuli enkulu.

  •   Ebibuuzo Bayibuli by’Eddamu. Ekitundu kino kirimu eby’okuddamu mu bibuuzo bingi ebyesigamiziddwa ku Bayibuli.

  •   Bible Verses Explained. Ekitundu kino kiyamba omuntu okumanya amakulu g’ebyawandiikibwa bingi ebimanyiddwa ennyo.